< Apocalypsis 14 >

1 et vidi et ecce agnus stabat supra montem Sion et cum illo centum quadraginta quattuor milia habentes nomen eius et nomen Patris eius scriptum in frontibus suis
Awo ne ndaba Omwana gw’Endiga ng’ayimiridde ku lusozi Sayuuni, ng’ali n’abantu emitwalo kkumi n’ena mu enkumi nnya, ng’erinnya lye n’erya Kitaawe gawandiikiddwa mu byenyi by’abantu abo.
2 et audivi vocem de caelo tamquam vocem aquarum multarum et tamquam vocem tonitrui magni et vocem quam audivi sicut citharoedorum citharizantium in citharis suis
Ne mpulira eddoboozi eryava mu ggulu nga liyira ng’ekiyiriro eky’amazzi amangi n’okubwatuka kw’eggulu kwali kw’amaanyi nnyo. Eddoboozi eryo lyali ng’okuyimba okw’abayimbi nga bakuba n’ennanga zaabwe.
3 et cantabant quasi canticum novum ante sedem et ante quattuor animalia et seniores et nemo poterat discere canticum nisi illa centum quadraginta quattuor milia qui empti sunt de terra
Ne bayimba oluyimba olwali ng’oluyimba oluggya olulungi ennyo mu maaso g’entebe ey’obwakabaka eya Katonda ne mu maaso g’ebiramu ebina n’abakadde. Ne wataba muntu n’omu eyasobola okuyiga oluyimba olwo okuggyako abo emitwalo ekkumi n’ena mu enkumi ennya, abaanunulibwa okuva mu nsi.
4 hii sunt qui cum mulieribus non sunt coinquinati virgines enim sunt hii qui sequuntur agnum quocumque abierit hii empti sunt ex hominibus primitiae Deo et agno
Abo be bantu abateeyonoonesanga eri abakazi; be bagoberera Omwana gw’Endiga buli gy’alaga. Baanunulibwa mu bantu ab’omu nsi ne beewaayo ng’ebibala ebibereberye eri Katonda n’eri Omwana gw’Endiga.
5 et in ore ipsorum non est inventum mendacium sine macula sunt
Si ba bulimba era tebaliiko kya kunenyezebwa.
6 et vidi alterum angelum volantem per medium caelum habentem evangelium aeternum ut evangelizaret sedentibus super terram et super omnem gentem et tribum et linguam et populum (aiōnios g166)
Awo ne ndaba malayika omulala ng’abuukira mu bbanga ng’alina Enjiri ey’emirembe n’emirembe ey’okubuulira abo abali mu nsi, na buli ggwanga, na buli kika, na buli lulimi n’abantu. (aiōnios g166)
7 dicens magna voce timete Deum et date illi honorem quia venit hora iudicii eius et adorate eum qui fecit caelum et terram et mare et fontes aquarum
N’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Mutye Katonda era mwolese obukulu bwe, kubanga ekiseera kituuse alamule. Mumusinze oyo eyakola eggulu n’ensi, n’ennyanja, n’ensulo z’amazzi zonna.”
8 et alius angelus secutus est dicens cecidit cecidit Babylon illa magna quae a vino irae fornicationis suae potionavit omnes gentes
Ate malayika omulala owookubiri n’amugoberera ng’agamba nti, “Babulooni kigudde! Kigudde, ekibuga ekikulu, kubanga kyasendasenda amawanga gonna okunywa ku nvinnyo y’obusungu obw’obwenzi bwakyo.”
9 et alius angelus tertius secutus est illos dicens voce magna si quis adoraverit bestiam et imaginem eius et acceperit caracterem in fronte sua aut in manu sua
Ne malayika omulala owookusatu n’abagoberera ng’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Omuntu yenna anaasinza ekisolo n’ekifaananyi kyakyo, era anakkiriza okuteeka akabonero kaakyo ku kyenyi kye oba ku mukono gwe ogwa ddyo,
10 et hic bibet de vino irae Dei qui mixtus est mero in calice irae ipsius et cruciabitur igne et sulphure in conspectu angelorum sanctorum et ante conspectum agni
oyo alinywa ku nvinnyo y’obusungu bwa Katonda, nga muka mu kikompe eky’obusungu bwe. Era alibonyaabonyezebwa n’omuliro ne salufa ebyaka mu maaso ga bamalayika abatukuvu ne mu maaso g’Omwana gw’Endiga.
11 et fumus tormentorum eorum in saecula saeculorum ascendit nec habent requiem die ac nocte qui adoraverunt bestiam et imaginem eius et si quis acceperit caracterem nominis eius (aiōn g165)
Omukka gw’okubonaabona kwabwe gunyooka emirembe n’emirembe, so tebaliiko we bawummulira emisana n’ekiro abo abaasinza ekisolo n’ekifaananyi kyakyo, ne bakkiriza n’okuteekebwako akabonero ak’erinnya lyakyo. (aiōn g165)
12 hic patientia sanctorum est qui custodiunt mandata Dei et fidem Iesu
Kino kisaanye okulaga abatukuvu abakwata ebiragiro bya Katonda ne bakkiririza mu Yesu ne bagumiikiriza okugezesebwa.”
13 et audivi vocem de caelo dicentem scribe beati mortui qui in Domino moriuntur amodo iam dicit Spiritus ut requiescant a laboribus suis opera enim illorum sequuntur illos
Awo ne mpulira eddoboozi nga liva mu ggulu nga ligamba nti, “Wandiika kino nti okuva kaakano, balina omukisa abafu, abafiira mu Mukama waffe.” “Balina omukisa ddala,” bw’ayogera Omwoyo. “Banaawummula okutegana kwabwe, kubanga ebikolwa byabwe bibagoberera.”
14 et vidi et ecce nubem candidam et supra nubem sedentem similem Filio hominis habentem in capite suo coronam auream et in manu sua falcem acutam
Ne ndaba, era laba, ekire ekyeru era nga kiriko akituddeko eyali afaanana ng’Omwana w’Omuntu eyalina engule eya zaabu ku mutwe gwe era ng’akutte ekiwabyo ekyogi mu mukono gwe.
15 et alter angelus exivit de templo clamans voce magna ad sedentem super nubem mitte falcem tuam et mete quia venit hora ut metatur quoniam aruit messis terrae
Awo malayika omulala n’ava mu Yeekaalu, n’amugamba mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Tandika okukozesa ekiwabyo kyo okukungula, kubanga ekiseera kituuse era n’ebyokukungula ku nsi byengedde.”
16 et misit qui sedebat supra nubem falcem suam in terram et messa est terra
Bw’atyo eyali atudde ku kire n’awuuba ekiwabyo kye era n’akungula ensi.
17 et alius angelus exivit de templo quod est in caelo habens et ipse falcem acutam
Awo malayika omulala n’ava mu Yeekaalu ey’omu ggulu era naye ng’alina ekiwabyo ekyogi.
18 et alius angelus de altari qui habet potestatem supra ignem et clamavit voce magna qui habebat falcem acutam dicens mitte falcem tuam acutam et vindemia botros vineae terrae quoniam maturae sunt uvae eius
Malayika omulala eyalina obuyinza ku muliro, n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba eyalina ekiwabyo ekyogi nti, “Kozesa ekiwabyo kyo osale ebirimba by’emizabbibu egy’oku nsi, kubanga gyengedde.”
19 et misit angelus falcem suam in terram et vindemiavit vineam terrae et misit in lacum irae Dei magnum
Bw’atyo malayika n’awuuba ekiwabyo ekyogi ku nsi, n’akuŋŋaanyiza ebibala ebyo mu ssogolero ly’obusungu bwa Katonda.
20 et calcatus est lacus extra civitatem et exivit sanguis de lacu usque ad frenos equorum per stadia mille sescenta
Emizabbibu egyo ne gisogolerwa ebweru w’ekibuga era omugga gw’omusaayi ne gukulukuta okuva mu ssogolero, obugulumivu bwagwo ne buba ng’okutuuka ku kyuma ky’omu kamwa k’embalaasi, ate obuwanvu bwagwo ne guweza nga kilomita ebikumi bisatu.

< Apocalypsis 14 >