< Apocalypsis 13 >

1 et stetit super harenam maris et vidi de mare bestiam ascendentem habentem capita septem et cornua decem et super cornua eius decem diademata et super capita eius nomina blasphemiae
Ne guyimirira ku lubalama lw’ennyanja. Awo ne ndaba ekisolo ekikambwe nga kiva mu nnyanja, nga kirina emitwe musanvu n’amayembe kkumi era nga kirina engule kkumi ku mayembe gaakyo, era ku buli mutwe nga kuwandiikiddwako amannya agavvoola Katonda.
2 et bestiam quam vidi similis erat pardo et pedes eius sicut ursi et os eius sicut os leonis et dedit illi draco virtutem suam et potestatem magnam
Ekisolo ekyo kye nalaba kyali kifaanana ng’engo naye ng’ebigere byakyo biri ng’eby’eddubu, kyokka ng’akamwa kaakyo kali ng’ak’empologoma. Ogusota ne guwa ekisolo ekyo amaanyi gaagwo awamu n’entebe yaakyo ey’obufuzi era n’obuyinza bungi.
3 et unum de capitibus suis quasi occisum in mortem et plaga mortis eius curata est et admirata est universa terra post bestiam
Awo ogumu ku mitwe gyagwo gwali gufumitiddwa nga gufunye ekiwundu ekyali kigenda okugutta, naye ekiwundu ekyali kigenda okugutta ne kiwona. Ensi yonna ne yeewuunya era abantu ne bagoberera ekisolo ekyo.
4 et adoraverunt draconem quia dedit potestatem bestiae et adoraverunt bestiam dicentes quis similis bestiae et quis poterit pugnare cum ea
Ne basinza ogusota olw’okuwa ekisolo ekikambwe obuyinza obwenkaniddaawo, era n’ekisolo ne bakisinza, nga bagamba nti, “Ani akisinga amaanyi era ani ayinza okulwana nakyo?”
5 et datum est ei os loquens magna et blasphemiae et data est illi potestas facere menses quadraginta duo
Awo ekisolo ne kikkirizibwa okwogera ebintu eby’okwegulumiza n’eby’obuvvoozi era ne kiweebwa n’obuyinza okumala emyezi amakumi ana mu ebiri.
6 et aperuit os suum in blasphemias ad Deum blasphemare nomen eius et tabernaculum eius et eos qui in caelo habitant
Ekisolo ne kitandika okuvvoola Katonda n’obutayogera birungi ku linnya lye, ne ku kifo kye mw’abeera, ne kivuma n’abo ababeera mu ggulu.
7 et datum est illi bellum facere cum sanctis et vincere illos et data est ei potestas in omnem tribum et populum et linguam et gentem
Ne kiweebwa obuyinza okulwanyisa abatukuvu n’okubawangula era n’okufuga buli kika, na buli ggwanga, na buli lulimi, na buli nsi.
8 et adorabunt eum omnes qui inhabitant terram quorum non sunt scripta nomina in libro vitae agni qui occisus est ab origine mundi
Era abantu bonna abaaliwo okuva ku kutondebwa kw’ensi, abatawandiikiddwa mu kitabo eky’Obulamu eky’Omwana gw’Endiga eyattibwa balisinza ekisolo ekyo.
9 si quis habet aurem audiat
Alina amatu awulire.
10 qui in captivitatem in captivitatem vadit qui in gladio occiderit oportet eum gladio occidi hic est patientia et fides sanctorum
Buli ow’okutwalibwa mu busibe wa kusiba. Era buli ow’okuttibwa n’ekitala, wa kuttibwa na kitala. Kubanga awo okugumiikiriza n’okukkiriza kw’abatukuvu we kutegeererwa.
11 et vidi aliam bestiam ascendentem de terra et habebat cornua duo similia agni et loquebatur sicut draco
Awo ne ndyoka ndaba ekisolo ekikambwe ekirala nga kiva mu ttaka, nga kirina amayembe abiri agali ng’ag’akaliga akato naye ng’eddoboozi lyakyo liri ng’ery’ogusota.
12 et potestatem prioris bestiae omnem faciebat in conspectu eius et facit terram et inhabitantes in eam adorare bestiam primam cuius curata est plaga mortis
Ekisolo ekyo ne kikozesa obuyinza obwa kiri ekyasooka ekyalina ekiwundu ekyawonyezebwa era ekyasinzibwa ensi yonna.
13 et fecit signa magna ut etiam ignem faceret de caelo descendere in terram in conspectu hominum
Ne kikola ebyamagero ebyewuunyisa, gamba ng’okuwandula ennimi ez’omuliro ku nsi nga ziva mu bbanga nga buli omu alaba.
14 et seducit habitantes terram propter signa quae data sunt illi facere in conspectu bestiae dicens habitantibus in terra ut faciant imaginem bestiae quae habet plagam gladii et vixit
Olw’okuweebwa obuyinza okukola ebyamagero ebyo mu linnya ly’ekisolo kiri ekyasooka, abantu bangi baalimbibwalimbibwa. Ekisolo ekyo ne kiragira abantu ab’oku nsi okukola ekifaananyi eky’ekisolo kiri ekyasooka ekyalina ekiwundu eky’ekitala ekyawona.
15 et datum est illi ut daret spiritum imagini bestiae ut et loquatur imago bestiae et faciat quicumque non adoraverint imaginem bestiae occidantur
Ekisolo ekyo ne kiweebwa okufuuwa omukka ogw’obulamu mu kifaananyi ky’ekisolo ekyo kyogere, era ekifaananyi ekyo ne kittisa abantu bangi abaagaana okukisinza.
16 et faciet omnes pusillos et magnos et divites et pauperes et liberos et servos habere caracter in dextera manu aut in frontibus suis
Awo ekisolo ne kiragira bonna, abakulu n’abato, abagagga n’abaavu, ab’eddembe n’abaddu, bateekebweko akabonero ku mukono ogwa ddyo oba mu kyenyi,
17 et ne quis possit emere aut vendere nisi qui habet caracter nomen bestiae aut numerum nominis eius
nga tewali n’omu akkirizibwa okugula oba okutunda ekintu kyonna, nga talina kabonero ak’erinnya ly’ekisolo ekyo oba ennamba yaakyo.
18 hic sapientia est qui habet intellectum conputet numerum bestiae numerus enim hominis est et numerus eius est sescenti sexaginta sex
Ekyo kyetaaga amagezi: abo abasobola okutegeera amakulu g’omuwendo guno babale ennamba eri ku kisolo kubanga gwe muwendo gw’omuntu. Omuwendo ogwo guli lukaaga mu nkaaga mu mukaaga.

< Apocalypsis 13 >