< Psalmorum 9 >

1 in finem pro occultis filii psalmus David confitebor tibi Domine in toto corde meo narrabo omnia mirabilia tua
Ya Mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa okujjukira Okufa kw’Omwana. Zabbuli ya Dawudi. Nnaakutenderezanga, Ayi Mukama n’omutima gwange gwonna; nnaayolesanga ebikolwa byo eby’ekitalo byonna.
2 laetabor et exultabo in te psallam nomini tuo Altissime
Nnaasanyukanga era nnaajagulizanga mu ggwe. Nnaayimbanga nga ntendereza erinnya lyo, Ayi Mukama Ali Waggulu Ennyo.
3 in convertendo inimicum meum retrorsum infirmabuntur et peribunt a facie tua
Abalabe bange bazzeeyo emabega, beesittadde ne bazikiririra mu maaso go.
4 quoniam fecisti iudicium meum et causam meam sedisti super thronum qui iudicas iustitiam
Kubanga owagidde ebiŋŋwanira, n’ensonga zange; era otudde ku ntebe yo ey’obwakabaka n’osala omusango mu bwenkanya.
5 increpasti gentes et periit impius nomen eorum delisti in aeternum et in saeculum saeculi
Waboggolera amawanga, n’ozikiriza ababi; erinnya lyabwe n’olisangulirawo ddala emirembe n’emirembe.
6 inimici defecerunt frameae in finem et civitates destruxisti periit memoria eorum cum sonitu
Abalabe obamaliddewo ddala, n’ebibuga byabwe obizikirizza, era tewali aliddayo kubijjukira.
7 et Dominus in aeternum permanet paravit in iudicio thronum suum
Naye Mukama afuga emirembe gyonna; era ataddewo entebe ye ey’okusalirako emisango.
8 et ipse iudicabit orbem terrae in aequitate iudicabit populos in iustitia
Aliramula ensi mu butuukirivu, era alisalira abantu bonna emisango mu bwenkanya.
9 et factus est Dominus refugium pauperi adiutor in oportunitatibus in tribulatione
Mukama kye kiddukiro ky’abo abanyigirizibwa; era kye kigo kyabwe mu biseera eby’akabi.
10 et sperent in te qui noverunt nomen tuum quoniam non dereliquisti quaerentes te Domine
Abo abamanyi erinnya lyo, Ayi Mukama, banaakwesiganga; kubanga abakunoonya tobaleka bokka.
11 psallite Domino qui habitat in Sion adnuntiate inter gentes studia eius
Muyimbe okutendereza Mukama, atudde ku ntebe ey’obwakabaka mu Sayuuni; mutegeeze amawanga gonna by’akoze.
12 quoniam requirens sanguinem eorum recordatus est non est oblitus clamorem pauperum
Ajjukira n’awoolera eggwanga era assaayo omwoyo eri abo abanyigirizibwa.
13 miserere mei Domine vide humilitatem meam de inimicis meis
Onsaasire, Ayi Mukama; otunuulire abalabe bange abangigganya, onzigye ku miryango gy’okufa.
14 qui exaltas me de portis mortis ut adnuntiem omnes laudationes tuas in portis filiae Sion
Ndyoke nkutenderezenga mu lwatu mu miryango gy’omuwala wa Sayuuni: era njagulizenga mu bulokozi bwo.
15 exultabo in salutari tuo infixae sunt gentes in interitu quem fecerunt in laqueo isto quem absconderunt conprehensus est pes eorum
Abantu mu mawanga bagudde mu binnya bye baasima; era n’emitego gyabwe gimasuse ne gibakwasa.
16 cognoscitur Dominus iudicia faciens in operibus manuum suarum conprehensus est peccator canticum diapsalmatis
Mukama yeeraze nga bw’asala emisango egy’ensonga. Omubi akwatiddwa mu mutego gw’emikono gye.
17 convertantur peccatores in infernum omnes gentes quae obliviscuntur Deum (Sheol h7585)
Ababi balisuulibwa emagombe; ebyo bye bituuka ku mawanga gonna ageerabira Katonda. (Sheol h7585)
18 quoniam non in finem oblivio erit pauperis patientia pauperum non peribit in finem
Kubanga abali mu kwetaaga tebalyerabirwa ennaku zonna, era n’ababonyaabonyezebwa tebaliggwaamu ssuubi emirembe gyonna.
19 exsurge Domine non confortetur homo iudicentur gentes in conspectu tuo
Ogolokoke, Ayi Mukama, tokkiriza muntu kuwangula; leka amawanga gasalirwe omusango mu maaso go.
20 constitue Domine legislatorem super eos sciant gentes quoniam homines sunt diapsalma
Bakankanye n’okutya, Ayi Mukama; amawanga gonna galyoke gategeere nti bantu buntu.

< Psalmorum 9 >