< Psalmorum 26 >

1 psalmus David iudica me Domine quoniam ego in innocentia mea ingressus sum et in Domino sperans non infirmabor
Zabbuli ya Dawudi. Onnejjeereze, Ayi Mukama, kubanga obulamu bwange tebuliiko kya kunenyezebwa; nneesiga ggwe, Ayi Mukama, nga sibuusabuusa.
2 proba me Domine et tempta me ure renes meos et cor meum
Neetegereza, Ayi Mukama, ongezese; weekalirize ebiri mu mutima gwange ne mu mmeeme yange.
3 quoniam misericordia tua ante oculos meos est et conplacui in veritate tua
Kubanga okwagala kwo kwe kunkulembera, era mu mazima go mwe ntambulira.
4 non sedi cum concilio vanitatis et cum iniqua gerentibus non introibo
Situula na bantu balimba, so siteesaganya na bakuusa.
5 odivi ecclesiam malignantium et cum impiis non sedebo
Nkyawa ekibiina ky’aboonoonyi; so situula na bakozi ba bibi.
6 lavabo inter innocentes manus meas et circumdabo altare tuum Domine
Naaba mu ngalo zange okulaga nga bwe sirina misango; ne ndyoka nzija ku Kyoto kyo, Ayi Mukama;
7 ut audiam vocem laudis et enarrem universa mirabilia tua
ne nnyimba oluyimba olw’okwebaza, olwogera ku bikolwa byo ebyewuunyisa.
8 Domine dilexi decorem domus tuae et locum habitationis gloriae tuae
Ennyumba yo mw’obeera njagala, Ayi Mukama, kye kifo ekijjudde ekitiibwa kyo.
9 ne perdas cum impiis animam meam et cum viris sanguinum vitam meam
Tombalira mu boonoonyi, wadde mu batemu,
10 in quorum manibus iniquitates sunt dextera eorum repleta est muneribus
abakozesa emikono gyabwe okutegeka ebikolwa ebibi, era abali b’enguzi.
11 ego autem in innocentia mea ingressus sum redime me et miserere mei
Naye nze ntambula nga siriiko kye nnenyezebwa; nkwatirwa ekisa, Ayi Mukama, ondokole.
12 pes meus stetit in directo in ecclesiis benedicam te Domine
Nnyimiridde watereevu. Nnaatenderezanga Mukama mu kibiina ky’abantu ekinene.

< Psalmorum 26 >