< Psalmorum 140 >
1 in finem psalmus David eripe me Domine ab homine malo a viro iniquo eripe me
Ya mukulu w’okuyimba. Zabbuli ya Dawudi. Omponye abakola ebibi, Ayi Mukama, omponye abantu abakambwe;
2 qui cogitaverunt iniquitates in corde tota die constituebant proelia
abateesa mu mitima gyabwe okukola ebibi; abanoonya entalo buli kiseera.
3 acuerunt linguam suam sicut serpentis venenum aspidum sub labiis eorum diapsalma
Ebigambo byabwe byogi ng’ennimi z’emisota; ebiva mu kamwa kaabwe busagwa ng’obw’essalambwa.
4 custodi me Domine de manu peccatoris ab hominibus iniquis eripe me qui cogitaverunt subplantare gressus meos
Onkuume abakola ebibi baleme okunkwatako, Ayi Mukama; omponye abantu abakambwe abateesa okunkyamya.
5 absconderunt superbi laqueum mihi et funes extenderunt in laqueum iuxta iter scandalum posuerunt mihi diapsalma
Abantu ab’amalala banteze omutego; banjuluzza ekitimba kyabwe; ne batega emitego mu kkubo lyange.
6 dixi Domino Deus meus es tu exaudi Domine vocem deprecationis meae
Nagamba Mukama nti, “Ggwe oli Katonda wange.” Wulira okwegayirira kwange, onsaasire, Ayi Mukama!
7 Domine Domine virtus salutis meae obumbrasti super caput meum in die belli
Ayi Mukama, Mukama wange, ggw’omponya n’amaanyi go, ggwe engabo yange mu lutalo.
8 non tradas Domine desiderio meo peccatori cogitaverunt contra me ne derelinquas me ne forte exaltentur diapsalma
Ayi Mukama, abakola ebibi tobawa bye beetaaga, era tokkiriza ntekateeka zaabwe kutuukirira; baleme kuba na malala wadde okwenyumiriza.
9 caput circuitus eorum labor labiorum ipsorum operiet eos
Abanneetoolodde baleke enkwe zaabwe zibeekyusizeeko baboneebone.
10 cadent super eos carbones in igne deicies eos in miseriis non subsistent
Amanda agaaka omuliro gabagwire; basuulibwe mu muliro, bakasukibwe mu bunnya obutakoma mwe bataliva emirembe gyonna.
11 vir linguosus non dirigetur in terra virum iniustum mala capient in interitu
Tokkiriza balimba kweyongera bungi; abakambwe bayigganyizibwe bazikirire.
12 cognovi quia faciet Dominus iudicium inopis et vindictam pauperum
Mmanyi nga Mukama ayamba abo ababonaabona, y’ayamba abanaku okuyisibwa mu bwenkanya.
13 verumtamen iusti confitebuntur nomini tuo habitabunt recti cum vultu tuo
Abatuukirivu banaakutenderezanga, era w’oli we banaabeeranga.