< Proverbiorum 24 >
1 ne aemuleris viros malos nec desideres esse cum eis
Teweegombanga bakozi ba bibi era tobeesemberezanga.
2 quia rapinas meditatur mens eorum et fraudes labia eorum loquuntur
Kubanga emitima gyabwe giteesa kukola bya butemu, era akamwa kaabwe koogera ku kukola bya ffujjo.
3 sapientia aedificabitur domus et prudentia roborabitur
Amagezi ge gazimba ennyumba, n’okutegeera kwe kugiggumiza.
4 in doctrina replebuntur cellaria universa substantia pretiosa et pulcherrima
Olw’amagezi ebisenge by’ayo bijjula ebintu ebirungi, eby’obugagga ebitalabikalabika eby’omuwendo omungi.
5 vir sapiens et fortis est et vir doctus robustus et validus
Omuntu ow’amagezi aba n’obuyinza, n’omuntu alina okumanya yeeyongera amaanyi.
6 quia cum dispositione initur bellum et erit salus ubi multa consilia sunt
Kubanga okulwana olutalo weetaaga okuluŋŋamizibwa, n’okuluwangula, weetaaga abawi b’amagezi bangi.
7 excelsa stulto sapientia in porta non aperiet os suum
Amagezi gasukkirira nnyo omusirusiru, talina ky’asobola kwogera mu lukuŋŋaana olw’oku wankaaki.
8 qui cogitat malefacere stultus vocabitur
Oyo asala enkwe ez’okukola ebibi, aliyitibwa mukujjukujju.
9 cogitatio stulti peccatum est et abominatio hominum detractor
Entegeka ez’obusirusiru muvaamu kwonoona, abantu beetamwa omukudaazi.
10 si desperaveris lassus in die angustiae inminuetur fortitudo tua
Bw’oyongobera mu kiseera eky’ebizibu, olwo ng’olina amaanyi matono!
11 erue eos qui ducuntur ad mortem et qui trahuntur ad interitum liberare ne cesses
Odduukiriranga n’owonya abo abatwalibwa okuttibwa, n’abo abali ku njegoyego z’okuttibwa, obawonye okuttirwa obwemage.
12 si dixeris vires non suppetunt qui inspector est cordis ipse intellegit et servatorem animae tuae nihil fallit reddetque homini iuxta opera sua
Bw’ogambanga nti, “Laba kino twali tetukimanyi,” oyo akebera emitima aba talaba? Oyo akuuma obulamu bwo takimanyi? Talisasula buli muntu ng’omulimu gwe bwe guli?
13 comede fili mi mel quia bonum est et favum dulcissimum gutturi tuo
Mwana wange olyanga omubisi gw’enjuki kubanga mulungi, omubisi oguva mu bisenge byagwo guwoomerera.
14 sic et doctrina sapientiae animae tuae quam cum inveneris habebis in novissimis et spes tua non peribit
Era manya nti amagezi gawoomera emmeeme yo, bw’onoogafuna onoobeera n’essuubi mu bulamu obw’omu maaso, n’essuubi lyo teririkoma.
15 ne insidieris et quaeras impietatem in domo iusti neque vastes requiem eius
Toteeganga, ng’omunyazi bw’akola ku nnyumba y’omutuukirivu, tonyaganga maka ge.
16 septies enim cadet iustus et resurget impii autem corruent in malum
Omuntu omutuukirivu ne bw’agwa emirundi omusanvu, addamu n’ayimuka, naye abakozi b’ebibi basuulibwa mu mitawaana.
17 cum ceciderit inimicus tuus ne gaudeas et in ruina eius ne exultet cor tuum
Tosanyukanga ng’omulabe wo agudde, bwe yeesittalanga omutima gwo gulemenga okujaguza.
18 ne forte videat Dominus et displiceat ei et auferat ab eo iram suam
Si kulwa nga Mukama akiraba ne kitamusanyusa, n’amusunguwalira.
19 ne contendas cum pessimis nec aemuleris impios
Teweeraliikiriranga olw’abo abakola ebibi, so abakozi b’ebibi tobakwatirwanga buggya.
20 quoniam non habent futurorum spem mali et lucerna impiorum extinguetur
Kubanga omuntu omubi talina ssuubi mu maaso, ettabaaza y’abakozi b’ebibi erizikizibwa.
21 time Dominum fili mi et regem et cum detractoribus non commiscearis
Mwana wange otyanga Mukama, ne kabaka, era teweetabanga na bajeemu.
22 quoniam repente consurget perditio eorum et ruinam utriusque quis novit
Kubanga obusungu bwabwe bulibuubuukira ku bajeemu era ani amaanyi akabi akalibatuukako?
23 haec quoque sapientibus cognoscere personam in iudicio non est bonum
Bino nabyo era bigambo by’abalina amagezi. Okwekubiira ng’osala emisango si kirungi.
24 qui dicit impio iustus es maledicent ei populi et detestabuntur eum tribus
Kale oyo agamba azizza omusango nti, “Toliiko ky’ovunaanibwa,” abantu banaamukolimiranga, n’amawanga ganaamwetamwanga.
25 qui arguunt laudabuntur et super ipsos veniet benedictio
Naye abo abasalira omusobya omusango ne gumusinga banaabanga n’essanyu, n’omukisa omulungi gulibatuukako.
26 labia deosculabitur qui recta verba respondet
Eky’okuddamu eky’amazima, kiri ng’okunywegerwa.
27 praepara foris opus tuum et diligenter exerce agrum tuum ut postea aedifices domum tuam
Malirizanga omulimu gwo ogw’ebweru, oteeketeeke ennimiro zo, n’oluvannyuma olyoke weezimbire ennyumba yo.
28 ne sis testis frustra contra proximum tuum nec lactes quemquam labiis tuis
Towanga bujulizi bwa bulimba ku muliraanwa wo, so akamwa ko tekalimbanga.
29 ne dicas quomodo fecit mihi sic faciam ei reddam unicuique secundum opus suum
Toyogeranga nti, “Omuntu oyo ndimukola nga bw’ankoze, era ndimusasuza nga bw’ampisizza.”
30 per agrum hominis pigri transivi et per vineam viri stulti
Nayita ku nnimiro ey’omugayaavu, ne mpita ne ku nnimiro y’emizabbibu ey’oyo atalina kutegeera.
31 et ecce totum repleverant urticae operuerant superficiem eius spinae et maceria lapidum destructa erat
Kale laba, ng’ennimiro eyo ebunye amaggwa, wansi wonna nga wabikkiddwa omuddo, n’olukomera lwayo olw’amayinja nga lugudde.
32 quod cum vidissem posui in corde meo et exemplo didici disciplinam
Ne neekaliriza ne ntegeera ne nfuna ekyokuyiga mu bye nalaba.
33 parum inquam dormies modicum dormitabis pauxillum manus conseres ut quiescas
Otulo otutonotono, n’okusumagira akatono, n’okufunya emikono okuwummulako,
34 et veniet quasi cursor egestas tua et mendicitas quasi vir armatus
obwavu bulikutuukako ng’omutemu, era n’obwetaavu ng’omutemu.