< Liber Numeri 33 >
1 hae sunt mansiones filiorum Israhel qui egressi sunt de Aegypto per turmas suas in manu Mosi et Aaron
Bino bye bitundu by’olugendo lw’abaana ba Isirayiri olwabaggya mu nsi y’e Misiri mu bibinja byabwe, nga bakulemberwa Musa ne Alooni.
2 quas descripsit Moses iuxta castrorum loca quae Domini iussione mutabant
Musa yawandiika buli kitundu ky’olugendo we kyatandikiranga, nga Mukama Katonda bwe yamulagira. Bino bye bitundu ebyo:
3 profecti igitur de Ramesse mense primo quintadecima die mensis primi altera die phase filii Israhel in manu excelsa videntibus cunctis Aegyptiis
Abaana ba Isirayiri baasitula okuva e Lamesesi ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano olw’omwezi ogw’olubereberye, nga lwe lunaku oluddirira Embaga ey’Okuyitako. Baasitula n’obuvumu awatali kutya, nga beeyagala, ng’Abamisiri bonna babalaba bulungi;
4 et sepelientibus primogenitos quos percusserat Dominus nam et in diis eorum exercuerat ultionem
ng’Abamisiri bwe baziika abaana baabwe ababereberye Mukama be yali abasseemu; kubanga Mukama Katonda yali asalidde bakatonda b’Abamisiri omusango okubasinga.
5 castrametati sunt in Soccoth
Abaana ba Isirayiri ne basitula okuva e Lamesesi ne basiisira e Sukkosi.
6 et de Soccoth venerunt in Aetham quae est in extremis finibus solitudinis
Ne bava e Sukkosi ne basiisira e Yesamu, eddungu we litandikira.
7 inde egressi venerunt contra Phiahiroth quae respicit Beelsephon et castrametati sunt ante Magdolum
Bwe baava mu Yesamu ne baddako emabega ne batuuka e Pikakirosi ekiri ku buvanjuba bwa Baali Zefoni, ne basiisira okuliraana Migudooli.
8 profectique de Phiahiroth transierunt per medium mare in solitudinem et ambulantes tribus diebus per desertum Aetham castrametati sunt in Mara
Ne basitula okuva mu Pikakirosi ne bayita wakati mu Nnyanja Emyufu ne bagguka mu ddungu lya Yesamu; ne balitambuliramu ennaku ssatu ne basiisira e Mala.
9 profectique de Mara venerunt in Helim ubi erant duodecim fontes aquarum et palmae septuaginta ibique castrametati sunt
Ne bava e Mala ne batuuka mu Erimu, awaali ensulo z’amazzi ekkumi n’ebbiri n’emiti emikindu nsanvu, ne basiisira awo.
10 sed et inde egressi fixere tentoria super mare Rubrum profectique de mari Rubro
Bwe baava mu Erimu ne basiisira okumpi n’Ennyanja Emyufu.
11 castrametati sunt in deserto Sin
Ne bava ku Nnyanja Emyufu ne basiisira mu Ddungu Sini.
12 unde egressi venerunt in Dephca
Bwe bava mu Ddungu Sini ne basiisira e Dofuka.
13 profectique de Dephca castrametati sunt in Alus
Ne bava e Dofuka ne basiisira e Yalusi.
14 egressi de Alus Raphidim fixere tentoria ubi aqua populo defuit ad bibendum
Bwe bava e Yalusi ne basiisira e Lefidimu, awataali mazzi abantu okunywako.
15 profectique de Raphidim castrametati sunt in deserto Sinai
Ne bava e Lefidimu ne basiisira mu Ddungu lya Sinaayi.
16 sed et de solitudine Sinai egressi venerunt ad sepulchra Concupiscentiae
Ne bava mu Ddungu lya Sinaayi ne basiisira e Kiberosu Katava.
17 profectique de sepulchris Concupiscentiae castrametati sunt in Aseroth
Bwe bava e Kiberosu Katava ne basiisira e Kazerosi.
18 et de Aseroth venerunt in Rethma
Bwe bava e Kazerosi ne basiisira e Lisuma.
19 profectique de Rethma castrametati sunt in Remmonphares
Ne bava e Lisuma ne basiisira e Limoni Perezi.
20 unde egressi venerunt in Lebna
Bwe bava e Limoni Perezi ne basiisira e Libuna.
21 et de Lebna castrametati sunt in Ressa
Ne bava e Libuna ne basiisira e Lisa.
22 egressi de Ressa venerunt in Ceelatha
Ne bava e Lisa ne basiisira e Kekerasa.
23 unde profecti castrametati sunt in monte Sepher
Bwe bava e Kekerasa ne basiisira ku Lusozi Seferi.
24 egressi de monte Sepher venerunt in Arada
Bwe bava ku Lusozi Seferi ne basiisira e Kalada.
25 inde proficiscentes castrametati sunt in Maceloth
Ne bava e Kalada ne basiisira e Makerosi.
26 profectique de Maceloth venerunt in Thaath
Ne bava e Makerosi ne basiisira e Takasi.
27 de Thaath castrametati sunt in Thare
Bwe bava e Takasi ne basiisira e Tera.
28 unde egressi fixerunt tentoria in Methca
Bwe bava e Tera ne basiisira e Misuka.
29 et de Methca castrametati sunt in Esmona
Ne bava e Misuka ne basiisira e Kasumona.
30 profectique de Esmona venerunt in Moseroth
Ne bava e Kasumona ne basiisira e Moserosi.
31 et de Moseroth castrametati sunt in Baneiacan
Bwe bava e Moserosi ne basiisira e Beneyakani.
32 egressique de Baneiacan venerunt in montem Gadgad
Ne bava e Beneyakani ne basiisira e Kolu Kagidugada.
33 unde profecti castrametati sunt in Hietebatha
Ne bava e Kolu Kagidugada ne basiisira e Yotubasa.
34 et de Hietebatha venerunt in Ebrona
Ne bava e Yotubasa ne basiisira e Yabulona.
35 egressique de Ebrona castrametati sunt in Asiongaber
Ne bava e Yabulona ne basisira mu Ezyoni Geba.
36 inde profecti venerunt in desertum Sin haec est Cades
Ne bava mu Ezyoni Geba ne basiisira e Kadesi mu Ddungu lya Zini.
37 egressique de Cades castrametati sunt in monte Hor in extremis finibus terrae Edom
Bwe baava e Kadesi ne basiisira ku Lusozi Koola, okuliraana n’ensi ya Edomu.
38 ascenditque Aaron sacerdos montem Hor iubente Domino et ibi mortuus est anno quadragesimo egressionis filiorum Israhel ex Aegypto mense quinto prima die mensis
Awo Alooni kabona n’alinnya ku Lusozi Koola, nga Mukama Katonda bwe yamulagira, n’afiira eyo, ku lunaku olw’olubereberye olw’omwezi ogwokutaano, ng’abaana ba Isirayiri baakamaze emyaka amakumi ana kasookedde bava mu nsi y’e Misiri.
39 cum esset annorum centum viginti trium
Alooni yali yakamaze emyaka egy’obukulu kikumi mu abiri mu esatu bwe yafiira ku Lusozi Koola.
40 audivitque Chananeus rex Arad qui habitabat ad meridiem in terra Chanaan venisse filios Israhel
Kabaka Omukanani ow’e Yaladi eyatuulanga mu bukiikaddyo obwa Kanani, n’awulira ng’abaana ba Isirayiri bajja.
41 et profecti de monte Hor castrametati sunt in Salmona
Abaana ba Isirayiri ne basitula okuva ku Lusozi Koola, ne basiisira e Zalumona.
42 unde egressi venerunt in Phinon
Bwe baava e Zalumona ne basiisira e Punoni.
43 profectique de Phinon castrametati sunt in Oboth
Ne bava e Punoni ne basiisira e Yebosi.
44 et de Oboth venerunt in Ieabarim quae est in finibus Moabitarum
Ne bava e Yebosi ne basiisira mu Lye Abalimu, okuliraana ne Mowaabu.
45 profectique de Ieabarim fixere tentoria in Dibongad
Ne bava mu Iyimu ne basiisira e Diboni Gadi.
46 unde egressi castrametati sunt in Elmondeblathaim
Ne bava e Diboni Gadi ne basiisira e Yalumonu Dibulasaimu.
47 egressi de Elmondeblathaim venerunt ad montes Abarim contra Nabo
Ne bava e Yalumonu Dibulasaimu ne basiisira mu nsozi za Abalimu, okuliraana Nebo.
48 profectique de montibus Abarim transierunt ad campestria Moab super Iordanem contra Hiericho
Bwe baava mu nsozi za Abalimu ne basiisira mu nsenyi za Mowaabu okuliraana n’omugga Yoludaani olwolekera Yeriko.
49 ibique castrametati sunt de Bethsimon usque ad Belsattim in planioribus locis Moabitarum
Ne basiisira mu nsenyi za Mowaabu nga bagendera ku mugga Yoludaani okuva e Besu Yesimosi okutuuka e Yaberi Sitimu.
50 ubi locutus est Dominus ad Mosen
Awo Mukama Katonda n’ayogera ne Musa mu nsenyi za Mowaabu ku mugga Yoludaani okwolekera Yeriko n’amugamba nti,
51 praecipe filiis Israhel et dic ad eos quando transieritis Iordanem intrantes terram Chanaan
“Yogera n’abaana ba Isirayiri obagambe nti, Bwe musomokanga omugga Yoludaani ne muyingira mu nsi ya Kanani;
52 disperdite cunctos habitatores regionis illius confringite titulos et statuas comminuite atque omnia excelsa vastate
mugobangamu abatuuze baamu bonna abagirimu kaakano. Muzikirizanga ebifaananyi byabwe byonna ebibajje n’ebiweese byonna; era musaanyangawo ebifo byabwe ebigulumivu mwe basinziza.
53 mundantes terram et habitantes in ea ego enim dedi vobis illam in possessionem
Ensi eyo muligyetwalira, ne mugituulamu, kubanga ensi eyo ngibawadde okubeera eyammwe ey’obwanannyini.
54 quam dividetis vobis sorte pluribus dabitis latiorem et paucis angustiorem singulis ut sors ceciderit ita tribuetur hereditas per tribus et familias possessio dividetur
Ensi mugigabananga nga mukuba akalulu ng’ebika byammwe bwe biri. Ekika ekinene kifunanga ekitundu eky’obutaka bwakyo kinene, n’ekika ekitono kinaafunanga ekitundu kitono. Buli kye banaafunanga ng’akalulu bwe kanaagambanga ng’ekyo kye kyabwe. Ensi mugigabananga ng’ebitundu by’ebika byammwe eby’ennono eby’obujjajja bwe biri.
55 sin autem nolueritis interficere habitatores terrae qui remanserint erunt vobis quasi clavi in oculis et lanceae in lateribus et adversabuntur vobis in terra habitationis vestrae
“Naye abatuuze ab’omu nsi omwo bwe mutalibagobamu bonna, kale, abo abalisigalamu bagenda kubafuukira enkato mu mmunye zammwe era babeere maggwa mu mbiriizi zammwe. Balibateganya mu nsi omwo mwe munaabeeranga.
56 et quicquid illis facere cogitaram vobis faciam
Olwo bye ntegeka okukola bali, ndibikola mmwe.”