< Mattheum 1 >
1 liber generationis Iesu Christi filii David filii Abraham
Luno lwe lulyo lwa Yesu Kristo, omwana wa Dawudi omwana wa Ibulayimu:
2 Abraham genuit Isaac Isaac autem genuit Iacob Iacob autem genuit Iudam et fratres eius
Ibulayimu yazaala Isaaka, Isaaka n’azaala Yakobo, Yakobo n’azaala Yuda ne baganda be.
3 Iudas autem genuit Phares et Zara de Thamar Phares autem genuit Esrom Esrom autem genuit Aram
Yuda n’azaala Pereezi ne Zeera mu Tamali, Pereezi n’azaala Kezirooni, Kezirooni n’azaala Laamu.
4 Aram autem genuit Aminadab Aminadab autem genuit Naasson Naasson autem genuit Salmon
Laamu yazaala Aminadaabu, Aminadaabu n’azaala Nasoni, Nasoni n’azaala Salumooni.
5 Salmon autem genuit Booz de Rachab Booz autem genuit Obed ex Ruth Obed autem genuit Iesse Iesse autem genuit David regem
Salumooni yazaala Bowaazi mu Lakabu, Bowaazi n’azaala Obedi mu Luusi. Obedi n’azaala Yese.
6 David autem rex genuit Salomonem ex ea quae fuit Uriae
Yese yazaala Kabaka Dawudi. Dawudi n’azaala Sulemaani mu eyali muka Uliya.
7 Salomon autem genuit Roboam Roboam autem genuit Abiam Abia autem genuit Asa
Sulemaani yazaala Lekobowaamu, Lekobowaamu n’azaala Abiya, Abiya n’azaala Asa.
8 Asa autem genuit Iosaphat Iosaphat autem genuit Ioram Ioram autem genuit Oziam
Asa n’azaala Yekosafaati, Yekosafaati n’azaala Yolaamu, Yolaamu n’azaala Uzziya.
9 Ozias autem genuit Ioatham Ioatham autem genuit Achaz Achaz autem genuit Ezechiam
Uzziya n’azaala Yosamu, Yosamu n’azaala Akazi, Akazi n’azaala Keezeekiya.
10 Ezechias autem genuit Manassen Manasses autem genuit Amon Amon autem genuit Iosiam
Keezeekiya n’azaala Manaase, Manaase n’azaala Amosi, Amosi n’azaala Yosiya.
11 Iosias autem genuit Iechoniam et fratres eius in transmigratione Babylonis
Yosiya n’azaala Yekoniya ne baganda be mu kiseera eky’okutwalibwa e Babulooni.
12 et post transmigrationem Babylonis Iechonias genuit Salathihel Salathihel autem genuit Zorobabel
Nga bamaze okutwalibwa e Babulooni: Yekoniya n’azaala Seyalutyeri, Seyalutyeri n’azaala Zerubbaberi.
13 Zorobabel autem genuit Abiud Abiud autem genuit Eliachim Eliachim autem genuit Azor
Zerubbaberi n’azaala Abiwuudi, Abiwuudi n’azaala Eriyakimu, Eriyakimu n’azaala Azoli.
14 Azor autem genuit Saddoc Saddoc autem genuit Achim Achim autem genuit Eliud
Azoli n’azaala Zadooki, Zadooki n’azaala Akimu, Akimu n’azaala Eriwuudi.
15 Eliud autem genuit Eleazar Eleazar autem genuit Matthan Matthan autem genuit Iacob
Eriwuudi n’azaala Eriyazaali, Eriyazaali n’azaala Mataani, Mataani n’azaala Yakobo.
16 Iacob autem genuit Ioseph virum Mariae de qua natus est Iesus qui vocatur Christus
Yakobo n’azaala Yusufu, oyo ye bba wa Maliyamu eyazaala Yesu ayitibwa Kristo.
17 omnes ergo generationes ab Abraham usque ad David generationes quattuordecim et a David usque ad transmigrationem Babylonis generationes quattuordecim et a transmigratione Babylonis usque ad Christum generationes quattuordecim
Noolwekyo emirembe gyonna okuva ku Ibulayimu okutuuka ku Dawudi gyali kkumi n’ena, era okuva ku Dawudi okutuuka ku kuwaŋŋaangusibwa e Babulooni, emirembe kkumi n’ena, era okuva ku kuwaŋŋaangusibwa e Babulooni okutuuka ku Kristo, nagyo emirembe kkumi n’ena.
18 Christi autem generatio sic erat cum esset desponsata mater eius Maria Ioseph antequam convenirent inventa est in utero habens de Spiritu Sancto
Okuzaalibwa kwa Yesu Kristo kwali bwe kuti: Maliyamu nnyina bwe yali ng’akyayogerezebwa Yusufu, era nga tebanaba kufumbiriganwa n’alabika ng’ali lubuto ku bwa Mwoyo Omutukuvu.
19 Ioseph autem vir eius cum esset iustus et nollet eam traducere voluit occulte dimittere eam
Awo Yusufu eyali amwogereza, olwokubanga yali muntu mulungi n’asalawo mu mutima gwe okumuleka, naye ng’ayagala akikole mu kyama aleme kukwasa Maliyamu nsonyi.
20 haec autem eo cogitante ecce angelus Domini in somnis apparuit ei dicens Ioseph fili David noli timere accipere Mariam coniugem tuam quod enim in ea natum est de Spiritu Sancto est
Naye bwe yali ng’agalamidde ku kitanda kye ng’akyabirowoozaako, n’afuna ekirooto; n’alaba malayika wa Mukama ng’ayimiridde w’ali, n’amugamba nti, “Yusufu, omwana wa Dawudi, totya kutwala Maliyamu okuba mukazi wo! Kubanga olubuto lw’alina yalufuna ku bwa Mwoyo Mutukuvu.
21 pariet autem filium et vocabis nomen eius Iesum ipse enim salvum faciet populum suum a peccatis eorum
Era alizaala Omwana wabulenzi, olimutuuma erinnya Yesu, (amakulu nti, ‘Omulokozi’) kubanga y’alirokola abantu bonna mu bibi byabwe.”
22 hoc autem totum factum est ut adimpleretur id quod dictum est a Domino per prophetam dicentem
Bino byonna byabaawo kisobole okutuukirira ekyayogerwa Mukama ng’ayita mu nnabbi we ng’agamba nti,
23 ecce virgo in utero habebit et pariet filium et vocabunt nomen eius Emmanuhel quod est interpretatum Nobiscum Deus
“Laba omuwala atamanyi musajja aliba olubuto, alizaala omwana wabulenzi, era aliyitibwa Emmanweri.” Amakulu gaalyo nti, “Katonda ali naffe.”
24 exsurgens autem Ioseph a somno fecit sicut praecepit ei angelus Domini et accepit coniugem suam
Yusufu bwe yazuukuka, n’akola nga Malayika bwe yamulagira, n’atwala Maliyamu okuba mukazi we.
25 et non cognoscebat eam donec peperit filium suum primogenitum et vocavit nomen eius Iesum
Naye Yusufu n’atamumanya okutuusa lwe yamala okuzaala Omwana. Yusufu n’amutuuma erinnya Yesu.