< Mattheum 22 >

1 et respondens Iesus dixit iterum in parabolis eis dicens
Yesu n’addamu n’ayogera nabo mu ngero ng’agamba nti,
2 simile factum est regnum caelorum homini regi qui fecit nuptias filio suo
“Obwakabaka obw’omu ggulu bufaanana nga, kabaka eyategekera omwana we embaga ey’obugole.
3 et misit servos suos vocare invitatos ad nuptias et nolebant venire
N’atuma abaddu be okuyita abaayitibwa ku mbaga, ne batayagala kujja.
4 iterum misit alios servos dicens dicite invitatis ecce prandium meum paravi tauri mei et altilia occisa et omnia parata venite ad nuptias
“Kabaka n’abatumira abaddu abalala babategeeze nti, ‘Mutegeeze abayite nti nteeseteese, ekijjulo, zisseddume zange n’ente ensavuwazze zittiddwa, era buli kimu kitegekeddwa. Mujje ku mbaga.’
5 illi autem neglexerunt et abierunt alius in villam suam alius vero ad negotiationem suam
“Naye ne batassaayo mwoyo, omu n’alaga mu nnimiro ye, omulala n’alaga mu bya busuubuzi bye.
6 reliqui vero tenuerunt servos eius et contumelia adfectos occiderunt
Abalala ne babakwata ne bababonyaabonya ne babatta.
7 rex autem cum audisset iratus est et missis exercitibus suis perdidit homicidas illos et civitatem illorum succendit
Awo Kabaka n’asunguwala, n’ayungula ekibinja ky’abaserikale n’azikiriza abatemu abo, n’ayokya ekibuga kyabwe.
8 tunc ait servis suis nuptiae quidem paratae sunt sed qui invitati erant non fuerunt digni
“Awo kabaka n’agamba abaddu be nti, ‘Ekijjulo ky’embaga kiteekeddwateekeddwa, naye abaayitibwa ne batasaanira.
9 ite ergo ad exitus viarum et quoscumque inveneritis vocate ad nuptias
Noolwekyo mugende mu nguudo z’omu kibuga muyite abantu bonna be munaasangayo bajje ku mbaga.’
10 et egressi servi eius in vias congregaverunt omnes quos invenerunt malos et bonos et impletae sunt nuptiae discumbentium
Abaddu bwe baagenda mu nguudo, ne bakuŋŋaanya buli gwe baasanga, ababi n’abalungi, ekisenge ky’embaga ne kijjula abagenyi.
11 intravit autem rex ut videret discumbentes et vidit ibi hominem non vestitum veste nuptiali
“Kabaka bwe yayingira okulaba abaali batudde ku mmeeza, n’alaba omusajja eyali tayambadde kyambalo kya mbaga.
12 et ait illi amice quomodo huc intrasti non habens vestem nuptialem at ille obmutuit
Kabaka n’amubuuza nti, ‘Munnange, oyingidde otya wano nga toyambadde kyambalo kya mbaga?’ Omusajja nga talina ky’addamu.
13 tunc dixit rex ministris ligatis pedibus eius et manibus mittite eum in tenebras exteriores ibi erit fletus et stridor dentium
“Awo kabaka n’alagira basajja be nti, ‘Mumusibe emikono n’amagulu mumukasuke ebweru mu kizikiza ekikutte be zigizigi, eri okukaaba n’okuluma obujiji.’
14 multi autem sunt vocati pauci vero electi
“Abayitibwa bangi, naye abalondemu batono.”
15 tunc abeuntes Pharisaei consilium inierunt ut caperent eum in sermone
Awo Abafalisaayo ne bagenda ne bateesa engeri gye banaategamu Yesu bamukwase mu bigambo.
16 et mittunt ei discipulos suos cum Herodianis dicentes magister scimus quia verax es et viam Dei in veritate doces et non est tibi cura de aliquo non enim respicis personam hominum
Ne bamutumira abayigirizwa baabwe awamu n’Abakerodiyaani nga bagamba nti, “Omuyigiriza, tumanyi ng’oli mulungi, era oyigiriza mazima awatali kutya muntu yenna, kubanga tososola mu bantu.
17 dic ergo nobis quid tibi videatur licet censum dare Caesari an non
Kale tutegeeze, olowooza ekituufu kye kiri wa? Kituufu okuwa Kayisaali omusolo oba si kituufu?”
18 cognita autem Iesus nequitia eorum ait quid me temptatis hypocritae
Naye Yesu bwe yamanya obutali butuukirivu bwabwe, n’abagamba nti, “Bannanfuusi mmwe, Lwaki mungezesa?
19 ostendite mihi nomisma census at illi obtulerunt ei denarium
Kale, mundeetere wano ku nsimbi ze muweesa omusolo ndabe.” Ne bamuleetera eddinaali.
20 et ait illis Iesus cuius est imago haec et suprascriptio
N’ababuuza nti, “Kino ekifaananyi n’obuwandiike ebiriko by’ani?”
21 dicunt ei Caesaris tunc ait illis reddite ergo quae sunt Caesaris Caesari et quae sunt Dei Deo
Ne bamuddamu nti, “Bya Kayisaali.” N’abagamba nti, “Kale ebya Kayisaali mubiwenga Kayisaali, n’ebya Katonda mubiwenga Katonda.”
22 et audientes mirati sunt et relicto eo abierunt
Bwe baawulira ebigambo ebyo ne beewuunya ne bamuleka ne bagenda.
23 in illo die accesserunt ad eum Sadducaei qui dicunt non esse resurrectionem et interrogaverunt eum
Ku lunaku olwo lwe lumu, Abasaddukaayo, abagamba nti, “Tewali kuzuukira,” ne bajja eri Yesu, ne bamubuuza nti,
24 dicentes magister Moses dixit si quis mortuus fuerit non habens filium ut ducat frater eius uxorem illius et suscitet semen fratri suo
“Omuyigiriza Musa yagamba nti, ‘Singa omusajja afa nga tazadde mwana, muganda w’omufu awase nnamwandu oyo azaalire muganda we abaana.’
25 erant autem apud nos septem fratres et primus uxore ducta defunctus est et non habens semen reliquit uxorem suam fratri suo
Twalina abooluganda musanvu. Owooluganda ow’olubereberye n’awasa, kyokka n’afa nga tazadde mwana, bw’atyo mukazi we n’afumbirwa muganda we.
26 similiter secundus et tertius usque ad septimum
Ekintu kye kimu ne kituuka ku wookubiri ne ku wookusatu, okutuusa ku w’omusanvu.
27 novissime autem omnium et mulier defuncta est
Oluvannyuma n’omukazi oyo naye n’afa.
28 in resurrectione ergo cuius erit de septem uxor omnes enim habuerunt eam
Kale okuzuukira nga kutuuse omukazi oyo aliba muka ani ku abo omusanvu? Kubanga bonna abooluganda omusanvu yabafumbirwako.”
29 respondens autem Iesus ait illis erratis nescientes scripturas neque virtutem Dei
Naye Yesu n’abagamba nti, “Olw’obutamanya byawandiikibwa n’obutategeera maanyi ga Katonda kyemuvudde mukyama.
30 in resurrectione enim neque nubent neque nubentur sed sunt sicut angeli Dei in caelo
Kubanga mu kuzuukira teriiyo kuwasa wadde okufumbirwa, naye abantu bonna baba nga bamalayika mu ggulu.
31 de resurrectione autem mortuorum non legistis quod dictum est a Deo dicente vobis
Naye ebikwata ku kuzuukira kw’abafu, temusomanga ku kigambo ekyayogerwa Katonda ng’agamba nti,
32 ego sum Deus Abraham et Deus Isaac et Deus Iacob non est Deus mortuorum sed viventium
‘Nze, ndi Katonda wa Ibulayimu era ndi Katonda wa Isaaka era ndi Katonda wa Yakobo?’ Noolwekyo Katonda si Katonda wa bafu wabula Katonda wa balamu.”
33 et audientes turbae mirabantur in doctrina eius
Ebibiina ne biwuniikirira bwe baawulira okuyigiriza kwe.
34 Pharisaei autem audientes quod silentium inposuisset Sadducaeis convenerunt in unum
Abafalisaayo bwe baawulira nga Yesu Abasaddukaayo abamazeeko eby’okwogera, ne bakuŋŋaana.
35 et interrogavit eum unus ex eis legis doctor temptans eum
Omu ku bo eyali munnamateeka n’amubuuza ekibuuzo ng’amugezesa nti,
36 magister quod est mandatum magnum in lege
“Omuyigiriza, tteeka ki erisinga obukulu mu mateeka.”
37 ait illi Iesus diliges Dominum Deum tuum ex toto corde tuo et in tota anima tua et in tota mente tua
Yesu n’addamu nti, “‘Yagalanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amagezi go gonna.’
38 hoc est maximum et primum mandatum
Eryo ly’etteeka ery’olubereberye era lye Iisingira ddala obukulu.
39 secundum autem simile est huic diliges proximum tuum sicut te ipsum
N’eryokubiri eririfaananako lye lino nti, ‘Yagalanga muliraanwa wo nga gwe bwe weeyagala wekka.’
40 in his duobus mandatis universa lex pendet et prophetae
Amateeka amalala gonna gasinziira mu mateeka ago gombi ne bya bannabbi.”
41 congregatis autem Pharisaeis interrogavit eos Iesus
Awo mu kiseera ekyo Abafalisaayo nga bakuŋŋaanye, Yesu n’ababuuza nti,
42 dicens quid vobis videtur de Christo cuius filius est dicunt ei David
“Kristo mumulowoozako mutya? Mwana waani?” Ne baddamu nti, “Mwana wa Dawudi.”
43 ait illis quomodo ergo David in spiritu vocat eum Dominum dicens
Yesu kyeyava ababuuza nti, “Dawudi ng’ajjudde Omwoyo bw’ayogera ku Kristo, lwaki ate amuyita ‘Mukama we’, ng’agamba nti,
44 dixit Dominus Domino meo sede a dextris meis donec ponam inimicos tuos scabillum pedum tuorum
“‘Mukama yagamba Mukama wange nti: “Tuulira wano ku mukono gwange ogwa ddyo, okutuusa lwe ndifufuggaza abalabe bo ne mbassa wansi w’ebigere byo?”’
45 si ergo David vocat eum Dominum quomodo filius eius est
Noolwekyo obanga Dawudi amuyita ‘Mukama we,’ kale, ate abeera atya omwana we?”
46 et nemo poterat respondere ei verbum neque ausus fuit quisquam ex illa die eum amplius interrogare
Ne wataba n’omu amuddamu, era okuva olwo ne watabaawo ayaŋŋanga kwongera kumubuuza bibuuzo birala.

< Mattheum 22 >