< Lucam 6 >

1 factum est autem in sabbato secundoprimo cum transiret per sata vellebant discipuli eius spicas et manducabant confricantes manibus
Awo ku lunaku lumu olwa Ssabbiiti, Yesu n’abayigirizwa be bwe baali bayita mu nnimiro y’emmere ey’empeke, abayigirizwa be ne banoga ku birimba by’emmere ey’empeke ne babikunya mu ngalo zaabwe, ne balya.
2 quidam autem Pharisaeorum dicebant illis quid facitis quod non licet in sabbatis
Naye Abafalisaayo abamu ne bagamba nti, “Lwaki mukola ekitakkirizibwa ku Ssabbiiti?”
3 et respondens Iesus ad eos dixit nec hoc legistis quod fecit David cum esurisset ipse et qui cum eo erant
Yesu n’abaddamu nti, “Temusomanga ku Dawudi kye yakola, enjala bwe yamuluma n’abo be yali nabo?
4 quomodo intravit in domum Dei et panes propositionis sumpsit et manducavit et dedit his qui cum ipso erant quos non licet manducare nisi tantum sacerdotibus
Yayingira mu nnyumba ya Katonda, n’addira emigaati egy’okulaga, n’atoola n’alyako, n’awaako ne be yali nabo ne balya so ng’ekyo kyali tekikkirizibwa muntu yenna okuggyako bakabona.”
5 et dicebat illis quia dominus est Filius hominis etiam sabbati
N’abagamba nti, “Omwana w’Omuntu, ye Mukama wa Ssabbiiti.”
6 factum est autem et in alio sabbato ut intraret in synagogam et doceret et erat ibi homo et manus eius dextra erat arida
Ku lunaku lwa Ssabbiiti olulala Yesu yali ng’ayigiriza mu kkuŋŋaaniro nga mulimu n’omusajja eyalina omukono ogukaze.
7 observabant autem scribae et Pharisaei si in sabbato curaret ut invenirent accusare illum
Abannyonnyozi b’amateeka n’Abafalisaayo ne bamusimbako amaaso okulaba obanga anaawonya ku Ssabbiiti, babeeko n’ekintu kye baneekwasa bamuvunaane omusango.
8 ipse vero sciebat cogitationes eorum et ait homini qui habebat manum aridam surge et sta in medium et surgens stetit
Naye Yesu n’ategeera ebirowoozo byabwe. N’agamba omusajja eyalina omukono ogukaze nti, “Situka oyimirire wakati wano.” N’asituka n’ayimirira.
9 ait autem ad illos Iesus interrogo vos si licet sabbato bene facere an male animam salvam facere an perdere
Yesu n’alyoka agamba Abafalisaayo n’abannyonnyozi b’amateeka nti, “Muleke mbabuuze; Kirungi okukola ekirungi ku Ssabbiiti oba okukola ekibi? Kirungi okuwonya obulamu oba okubuzikiriza?”
10 et circumspectis omnibus dixit homini extende manum tuam et extendit et restituta est manus eius
N’abeetoolooza amaaso kinnoomu, n’alyoka agamba omusajja nti, “Golola omukono gwo.” Omusajja n’agolola omukono gwe ne guwona.
11 ipsi autem repleti sunt insipientia et conloquebantur ad invicem quidnam facerent Iesu
Naye ne bajjula obusungu, ne boogera bokka ne bokka kye banaakola Yesu.
12 factum est autem in illis diebus exiit in montem orare et erat pernoctans in oratione Dei
Awo olwatuuka mu nnaku ezo, Yesu n’alinnya waggulu ku lusozi okusaba, n’asaba ekiro kyonna eri Katonda.
13 et cum dies factus esset vocavit discipulos suos et elegit duodecim ex ipsis quos et apostolos nominavit
Obudde bwe bwakya, n’ayita abayigirizwa be n’abalondako kkumi n’ababiri, n’abafuula abatume. Amannya gaabwe ge gano:
14 Simonem quem cognominavit Petrum et Andream fratrem eius Iacobum et Iohannem Philippum et Bartholomeum
Simooni, gwe yatuuma Peetero, ne Andereya, muganda wa Simooni, ne Yakobo, ne Yokaana, ne Firipo, ne Battolomaayo,
15 Mattheum et Thomam Iacobum Alphei et Simonem qui vocatur Zelotes
ne Matayo, ne Tomasi, ne Yakobo, omwana wa Alufaayo, ne Simooni, ow’omu kibiina ky’obufuzi eky’Abazerote,
16 Iudam Iacobi et Iudam Scarioth qui fuit proditor
ne Yuda, omwana wa Yakobo, ne Yuda Isukalyoti, oluvannyuma eyamulyamu olukwe.
17 et descendens cum illis stetit in loco campestri et turba discipulorum eius et multitudo copiosa plebis ab omni Iudaea et Hierusalem et maritimae Tyri et Sidonis
Awo Yesu bwe yava ku lusozi awamu nabo, n’ayimirira wansi w’olusozi mu lusenyi awatereevu, ekibiina kinene eky’abayigirizwa be, n’ekibiina kinene eky’abantu abaava mu Buyudaaya yonna ne Yerusaalemi n’ebitundu eby’oku lubalama lw’ennyanja olwa Ttuulo ne Sidoni,
18 qui venerunt ut audirent eum et sanarentur a languoribus suis et qui vexabantur ab spiritibus inmundis curabantur
ne bajja okumuwuliriza n’okuwonyezebwa endwadde zaabwe. Abo abaali batawaanyizibwa emyoyo emibi ne bawonyezebwa;
19 et omnis turba quaerebant eum tangere quia virtus de illo exiebat et sanabat omnes
era abantu bonna ne bafuba okumukwatako, kubanga amaanyi agawonya gaamuvangamu nga gawonya buli muntu.
20 et ipse elevatis oculis in discipulos suos dicebat beati pauperes quia vestrum est regnum Dei
Awo Yesu n’atunuulira abayigirizwa be enkaliriza n’agamba nti, “Mulina omukisa abaavu, kubanga obwakabaka bwa Katonda bwammwe.
21 beati qui nunc esuritis quia saturabimini beati qui nunc fletis quia ridebitis
Mulina omukisa abalumwa enjala kaakano, kubanga mulikkusibwa. Mulina omukisa abakaaba kaakano, kubanga muliseka.
22 beati eritis cum vos oderint homines et cum separaverint vos et exprobraverint et eiecerint nomen vestrum tamquam malum propter Filium hominis
Mulina omukisa bwe babakyawa, ne babeewala, ne babavuma, ne basiiga erinnya lyammwe enziro, olw’Omwana w’Omuntu.”
23 gaudete in illa die et exultate ecce enim merces vestra multa in caelo secundum haec enim faciebant prophetis patres eorum
“Musanyukanga ku lunaku olwo ne mujaguza, kubanga empeera yammwe nnene mu ggulu, kubanga ebintu ebyo bajjajjammwe baabikola bannabbi abaabasooka.
24 verumtamen vae vobis divitibus quia habetis consolationem vestram
“Naye zibasanze mmwe abagagga, kubanga mufunye essanyu lyammwe erijjuvu.
25 vae vobis qui saturati estis quia esurietis vae vobis qui ridetis nunc quia lugebitis et flebitis
Zibasanze mmwe abalya ne mukkuta kaakano, kubanga mulirumwa enjala. Zibasanze mmwe abaseka kaakano, kubanga mulikungubaga, ne mukaaba.
26 vae cum bene vobis dixerint omnes homines secundum haec faciebant prophetis patres eorum
Zibasanze mmwe abantu bonna bwe babawaana, kubanga bwe batyo bajjajjammwe bwe baayisa bannabbi aboobulimba.”
27 sed vobis dico qui auditis diligite inimicos vestros benefacite his qui vos oderunt
“Naye mmwe abampuliriza mbagamba nti: Mwagalenga abalabe bammwe, n’ababakyawa mubayisenga bulungi.
28 benedicite maledicentibus vobis orate pro calumniantibus vos
Ababakolimira mubasabirenga omukisa; ababayisa obubi mubasabirenga.
29 ei qui te percutit in maxillam praebe et alteram et ab eo qui aufert tibi vestimentum etiam tunicam noli prohibere
Omuntu bw’akukubanga oluyi ku luba olumu, omukyusizanga n’akukuba ne ku lwokubiri! Omuntu bw’akunyagangako ekkooti yo, n’essaati yo ogimulekeranga.
30 omni autem petenti te tribue et qui aufert quae tua sunt ne repetas
Omuntu yenna akusabanga omuwanga; era n’oyo akuggyangako ebintu byo tobimusabanga kubikuddizza.
31 et prout vultis ut faciant vobis homines et vos facite illis similiter
Kye mwagala abantu okubakoleranga, nammwe mubibakoleranga bwe mutyo.”
32 et si diligitis eos qui vos diligunt quae vobis est gratia nam et peccatores diligentes se diligunt
“Bwe munaayagalanga abo ababaagala bokka, munaagasibwa ki? Kubanga n’abakozi b’ebibi bwe beeyisa bwe batyo.
33 et si benefeceritis his qui vobis benefaciunt quae vobis est gratia siquidem et peccatores hoc faciunt
Bwe munaayisanga obulungi abo bokka ababayisa obulungi, munaagasibwa ki? Kubanga n’abakozi b’ebibi bwe bakola bwe batyo.
34 et si mutuum dederitis his a quibus speratis recipere quae gratia est vobis nam et peccatores peccatoribus fenerantur ut recipiant aequalia
Bwe munaawolanga abo bokka be musuubira okubasasula mmwe, munaagasibwangamu ki? Kubanga n’abakozi b’ebibi bawola bakozi ba bibi bannaabwe, basobole okusasulwa omuwendo gwe gumu.
35 verumtamen diligite inimicos vestros et benefacite et mutuum date nihil desperantes et erit merces vestra multa et eritis filii Altissimi quia ipse benignus est super ingratos et malos
Naye mmwe mwagalenga abalabe bammwe! Mubayisenga bulungi! Muwolenga nga temusuubira kusasulwa magoba. Bw’etyo empeera yammwe eriba nnene era muliba baana b’oyo Ali Waggulu Ennyo. Kubanga wa kisa eri abatasiima n’abakozi b’ebibi.
36 estote ergo misericordes sicut et Pater vester misericors est
Mubeerenga ba kisa nga Kitammwe bw’ali ow’ekisa.”
37 nolite iudicare et non iudicabimini nolite condemnare et non condemnabimini dimittite et dimittemini
“Temusalanga musango, nammwe muleme okusalirwa omusango. Temusingisanga musango, nammwe muleme okusingibwa. Musonyiwenga era nammwe mulisonyiyibwa.
38 date et dabitur vobis mensuram bonam confersam et coagitatam et supereffluentem dabunt in sinum vestrum eadem quippe mensura qua mensi fueritis remetietur vobis
Mugabenga nammwe muliweebwa. Ekigera ekirungi ekikattiddwa, ekisuukundiddwa, eky’omuyiika kiribakwasibwa. Kubanga ekigera kye mugereramu nammwe mwe muligererwa.”
39 dicebat autem illis et similitudinem numquid potest caecus caecum ducere nonne ambo in foveam cadent
Awo Yesu n’abagerera olugero luno nti, “Ddala ddala omuzibe w’amaaso ayinza okukulembera muzibe munne? Bombi tebajja kugwa mu kinnya?
40 non est discipulus super magistrum perfectus autem omnis erit sicut magister eius
Omuyizi tasaana kusinga amuyigiriza, kyokka bw’aba ng’atendekeddwa bulungi, buli muntu aliba ng’omusomesa we.”
41 quid autem vides festucam in oculo fratris tui trabem autem quae in oculo tuo est non consideras
“Lwaki otunuulira akasasiro akali ku liiso lya muganda wo, naye n’otolaba kisiki kiri ku liiso lyo?
42 et quomodo potes dicere fratri tuo frater sine eiciam festucam de oculo tuo ipse in oculo tuo trabem non videns hypocrita eice primum trabem de oculo tuo et tunc perspicies ut educas festucam de oculo fratris tui
Oyinza otya okugamba muganda wo nti, ‘Muganda wange, leka nkuggyeko akasasiro akakuli ku liiso,’ naye nga ekisiki ekiri ku liryo tokiraba? Munnanfuusi ggwe! Sooka oggyeko ekisiki ku liiso lyo, olyoke olabe bulungi olwo oggyeko akasasiro akali ku liiso lya muganda wo.”
43 non est enim arbor bona quae facit fructus malos neque arbor mala faciens fructum bonum
“Omuti omulungi tegubala bibala bibi, so n’omuti omubi tegubala bibala birungi.
44 unaquaeque enim arbor de fructu suo cognoscitur neque enim de spinis colligunt ficus neque de rubo vindemiant uvam
Buli muti gutegeererwa ku bibala byagwo. Abantu tebanoga ttiini ku busaana so tebanoga mizabbibu ku mweramannyo.
45 bonus homo de bono thesauro cordis sui profert bonum et malus homo de malo profert malum ex abundantia enim cordis os loquitur
Omuntu omulungi afulumya ebirungi okuva mu mutima gwe omulungi, n’omuntu omubi afulumya ebibi okuva mu mutima gwe omubi. Kubanga akamwa koogera ku biba bijjudde mu mutima.”
46 quid autem vocatis me Domine Domine et non facitis quae dico
“Lwaki mumpita nti, ‘Mukama waffe, Mukama waffe,’ so nga bye mbagamba si bye mukola?
47 omnis qui venit ad me et audit sermones meos et facit eos ostendam vobis cui similis est
Buli ajja gye ndi n’awulira ebigambo byange, n’abikola, ka mbalage bw’afaanana.
48 similis est homini aedificanti domum qui fodit in altum et posuit fundamenta supra petram inundatione autem facta inlisum est flumen domui illi et non potuit eam movere fundata enim erat supra petram
Afaanana ng’omuntu eyazimba ennyumba, eyasima omusingi wansi ennyo n’atuuka ku lwazi. Amataba bwe gajja, ne gajjuza omugga tegaasobola kunyeenya nnyumba eyo kubanga yazimbibwa bulungi.
49 qui autem audivit et non fecit similis est homini aedificanti domum suam supra terram sine fundamento in quam inlisus est fluvius et continuo concidit et facta est ruina domus illius magna
Naye omuntu awuliriza ebigambo byange n’atabikola, afaanana n’omusajja eyazimba ennyumba ku ttaka nga tasimye musingi. Omugga bwe gwajjula, ne gwanjaala, ne gukuba ennyumba n’egwa, era n’okugwa kw’ennyumba eyo kwali kunene nnyo.”

< Lucam 6 >