< Lucam 5 >

1 factum est autem cum turbae inruerent in eum ut audirent verbum Dei et ipse stabat secus stagnum Gennesareth
Awo Yesu yali ayimiridde ku lubalama lw’ennyanja y’e Genesaleeti ng’ayigiriza, ebibiina nga bamunyigiriza nga bawuliriza ekigambo kya Katonda,
2 et vidit duas naves stantes secus stagnum piscatores autem descenderant et lavabant retia
n’alengera amaato abiri ameereere nga gali kumpi n’olukalu, nga bannannyinigo abavubi, bagalese awo, nga bayoza obutimba bwabwe.
3 ascendens autem in unam navem quae erat Simonis rogavit eum a terra reducere pusillum et sedens docebat de navicula turbas
Yesu n’alinnya mu lyato erimu eryali erya Simooni, n’amusaba alisembezeeko katono mu nnyanja, n’alituulamu, asinziire omwo okuyigiriza ebibiina.
4 ut cessavit autem loqui dixit ad Simonem duc in altum et laxate retia vestra in capturam
Bwe yamala okuyigiriza n’agamba Simooni nti, “Kale kaakano sembeza eryato lyo ebuziba, mu mazzi amangi, musuule obutimba bwammwe mu nnyanja, mujja kukwasa ebyennyanja bingi!”
5 et respondens Simon dixit illi praeceptor per totam noctem laborantes nihil cepimus in verbo autem tuo laxabo rete
Simooni n’addamu nti, “Mukama waffe, twateganye dda ekiro kyonna, naye ne tutakwasa kantu. Naye ggwe nga bw’otugambye, nzija kusuula obutimba.”
6 et cum hoc fecissent concluserunt piscium multitudinem copiosam rumpebatur autem rete eorum
Awo bwe baakola bwe batyo, obutimba bwabwe bwajjula ebyennyanja, ne butandika n’okukutuka.
7 et annuerunt sociis qui erant in alia navi ut venirent et adiuvarent eos et venerunt et impleverunt ambas naviculas ita ut mergerentur
Ne bawenya ku bannaabwe abaali mu lyato liri eddala bajje babayambe, ne bajja, amaato gombi ne gajjula ebyennyanja, ne gajula n’okusaanawo.
8 quod cum videret Simon Petrus procidit ad genua Iesu dicens exi a me quia homo peccator sum Domine
Awo Simooni Peetero bwe yakiraba, n’afukamira mu maaso ga Yesu n’amugamba nti, “Mukama wange, nkwegayiridde ndeka, kubanga ndi mwonoonyi nnyo.”
9 stupor enim circumdederat eum et omnes qui cum illo erant in captura piscium quam ceperant
Kubanga obungi bw’ebyennyanja bye baakwasa bwa muwuniikirizza nnyo awamu ne banne bwe baavubanga,
10 similiter autem Iacobum et Iohannem filios Zebedaei qui erant socii Simonis et ait ad Simonem Iesus noli timere ex hoc iam homines eris capiens
Yakobo ne Yokaana abaana ba Zebbedaayo. Yesu n’amuddamu nti, “Totya! Okuva kaakano ojjanga kuvuba myoyo gya bantu.”
11 et subductis ad terram navibus relictis omnibus secuti sunt illum
Amaato gaabwe olwagoba ku lubalama ne baleka awo byonna ne bagenda naye.
12 et factum est cum esset in una civitatum et ecce vir plenus lepra et videns Iesum et procidens in faciem rogavit eum dicens Domine si vis potes me mundare
Mu kibuga Yesu mwe yali akyadde mwalimu omusajja eyali alwadde ebigenge. Bwe yalaba Yesu n’avuunama mu maaso ge, n’amwegayirira nti, “Mukama wange, bw’oba ng’oyagala, oyinza okunnongoosa.”
13 et extendens manum tetigit illum dicens volo mundare et confestim lepra discessit ab illo
Yesu n’agolola omukono gwe n’amukwatako, ng’agamba nti, “Njagala, longooka.” Amangwago ebigenge by’omusajja ne bimuwonako.
14 et ipse praecepit illi ut nemini diceret sed vade ostende te sacerdoti et offer pro emundatione tua sicut praecepit Moses in testimonium illis
Yesu n’alagira omusajja nti, “Tobaako muntu n’omu gw’ogamba, naye genda weeyanjule eri kabona oweeyo ekiweebwayo olw’okulongosebwa nga Musa bwe yalagira, kibeere obujulirwa gye bali.”
15 perambulabat autem magis sermo de illo et conveniebant turbae multae ut audirent et curarentur ab infirmitatibus suis
Naye ne yeeyongera bweyongezi okubunya ettutumu ly’obuyinza bwa Yesu era ebibiina binene ne bikuŋŋaana okumuwulira n’okuwonyezebwa endwadde zaabwe.
16 ipse autem secedebat in deserto et orabat
Naye bwe yasalangawo akabanga, ne yeeyawula n’alagako mu bifo eteri bantu, okusaba.
17 et factum est in una dierum et ipse sedebat docens et erant Pharisaei sedentes et legis doctores qui venerant ex omni castello Galilaeae et Iudaeae et Hierusalem et virtus erat Domini ad sanandum eos
Lwali lumu Yesu yali ayigiriza abakulembeze b’Abayudaaya, n’abannyonnyozi b’amateeka nabo nga batudde awo, abaali bavudde mu buli kyalo eky’e Ggaliraaya ne Buyudaaya era n’e Yerusaalemi. Amaanyi ga Mukama gaali ku ye okuwonya.
18 et ecce viri portantes in lecto hominem qui erat paralyticus et quaerebant eum inferre et ponere ante eum
Awo abasajja ne bajja nga basitudde omusajja ku katanda eyali akoozimbye. Ne bagezaako okumuyingiza okumuleeta Yesu we yali.
19 et non invenientes qua parte illum inferrent prae turba ascenderunt supra tectum per tegulas submiserunt illum cum lecto in medium ante Iesum
Naye bwe bataasobola kumuyingiza olw’ekibiina ekinene ne balinnya waggulu ku kasolya, ne baggyawo ku mategula ne bayisaamu omulwadde ne bamussa ng’agalamidde ku katanda ke ne baamutereereza ddala mu maaso ga Yesu.
20 quorum fidem ut vidit dixit homo remittuntur tibi peccata tua
Awo Yesu bwe yalaba okukkiriza kwabwe, n’agamba omusajja akoozimbye nti, “Omusajja, ebibi byo bikusonyiyiddwa.”
21 et coeperunt cogitare scribae et Pharisaei dicentes quis est hic qui loquitur blasphemias quis potest dimittere peccata nisi solus Deus
Abafalisaayo n’abannyonnyozi b’amateeka ne beebuuzaganya nti, “Ono ye ani avvoola! Ani ayinza okusonyiwa ebibi wabula Katonda yekka?”
22 ut cognovit autem Iesus cogitationes eorum respondens dixit ad illos quid cogitatis in cordibus vestris
Nate Yesu bwe yamanya ebirowoozo byabwe, n’ababuuza nti, “Lwaki mulowooza bwe mutyo mu mutima gwammwe?
23 quid est facilius dicere dimittuntur tibi peccata an dicere surge et ambula
Ekyangu kye kiri wa? Okwogera nti ebibi byo bikusonyiyiddwa oba nti situka otambule?
24 ut autem sciatis quia Filius hominis potestatem habet in terra dimittere peccata ait paralytico tibi dico surge tolle lectum tuum et vade in domum tuam
Naye mulyoke mutegeere nti, Omwana w’Omuntu alina obuyinza ku nsi okusonyiwa ebibi.” N’agamba eyali akozimbye nti, “Situka, ositule akatanda ko, weddireyo ewuwo.”
25 et confestim surgens coram illis tulit in quo iacebat et abiit in domum suam magnificans Deum
Amangwago omusajja n’asituka n’asitula akatanda kwe yali agalamidde, n’addayo ewuwe ng’agulumiza Katonda.
26 et stupor adprehendit omnes et magnificabant Deum et repleti sunt timore dicentes quia vidimus mirabilia hodie
Abantu bonna ne bajjula encukwe. Ne bagulumiza Katonda nga bajjudde entiisa nga boogera nti, “Tulabye ebyewuunyisa leero.”
27 et post haec exiit et vidit publicanum nomine Levi sedentem ad teloneum et ait illi sequere me
Oluvannyuma lw’ebyo Yesu n’avaayo n’alaba omusolooza w’omusolo, erinnya lye Leevi ng’atudde omusolo we gukuŋŋaanyizibwa, n’amugamba nti, “Ngoberera.”
28 et relictis omnibus surgens secutus est eum
Leevi n’aleka awo byonna, n’asitukiramu n’amugoberera.
29 et fecit ei convivium magnum Levi in domo sua et erat turba multa publicanorum et aliorum qui cum illis erant discumbentes
Awo Leevi n’afumbira Yesu ekijjulo eky’amaanyi mu maka ge. Waaliwo abasolooza banne ab’omusolo bangi, n’abantu abalala bangi, abaali ku kijjulo ekyo.
30 et murmurabant Pharisaei et scribae eorum dicentes ad discipulos eius quare cum publicanis et peccatoribus manducatis et bibitis
Naye Abafalisaayo n’abannyonnyozi b’amateeka ne beemulugunya, olw’abayigirizwa be nga bagamba nti, “Lwaki mulya era ne munywa n’abasolooza b’omusolo n’abalina ebibi?”
31 et respondens Iesus dixit ad illos non egent qui sani sunt medico sed qui male habent
Yesu n’abaanukula nti, “Abalwadde be beetaaga omusawo, so si abo abatali balwadde.
32 non veni vocare iustos sed peccatores in paenitentiam
Sajja kuyita batuukirivu wabula abalina ebibi okwenenya.”
33 at illi dixerunt ad eum quare discipuli Iohannis ieiunant frequenter et obsecrationes faciunt similiter et Pharisaeorum tui autem edunt et bibunt
Kyokka ne bamugamba nti, “Abayigirizwa ba Yokaana batera okusiiba n’okusaba. N’abayigirizwa b’Abafalisaayo nabo bwe batyo. Naye ababo balya ne banywa.”
34 quibus ipse ait numquid potestis filios sponsi dum cum illis est sponsus facere ieiunare
Naye Yesu n’abagamba nti, “Abagenyi bayinza okusiiba ng’awasizza omugole akyali nabo?
35 venient autem dies et cum ablatus fuerit ab illis sponsus tunc ieiunabunt in illis diebus
Naye ekiseera kijja, awasizza omugole ng’abaggiddwako olwo ne balyoka basiiba.”
36 dicebat autem et similitudinem ad illos quia nemo commissuram a vestimento novo inmittit in vestimentum vetus alioquin et novum rumpit et veteri non convenit commissura a novo
Awo Yesu n’abagerera olugero nti, “Tewali ayuza kiwero mu lugoye oluggya alyoke azibise ekituli mu lugoye olukadde. Bw’akikola, ekiwero ekiggya kiyuza olukadde, n’ekiwero ekiggya tekijja kugendera wamu na lugoye olukadde.
37 et nemo mittit vinum novum in utres veteres alioquin rumpet vinum novum utres et ipsum effundetur et utres peribunt
Era tewali ateeka wayini omusu mu nsawo enkadde ez’amaliba ga wayini, kubanga wayini omusu ajja kuziyuza ayiike.
38 sed vinum novum in utres novos mittendum est et utraque conservantur
Naye wayini omusu ateekebwa mu nsawo za maliba empya.
39 et nemo bibens vetus statim vult novum dicit enim vetus melius est
Era tewali anywa ku wayini omukadde ate ayagala okunywa ku wayini omusu. Kubanga agamba nti, ‘Omukadde ye asinga omusu.’”

< Lucam 5 >