< Lucam 1 >
1 quoniam quidem multi conati sunt ordinare narrationem quae in nobis conpletae sunt rerum
Abantu bangi bagezezzaako okuwandiika ebyafaayo ebyatuukirizibwa mu ffe,
2 sicut tradiderunt nobis qui ab initio ipsi viderunt et ministri fuerunt sermonis
ng’abo abaasooka edda bwe baabitubuulira, nga be baali abajulirwa era abaweereza b’Ekigambo okuviira ddala ku lubereberye.
3 visum est et mihi adsecuto a principio omnibus diligenter ex ordine tibi scribere optime Theophile
Bwe ntyo bwe mmaze okukakasiza ddala buli kintu n’obwegendereza okuva ku by’olubereberye okutuukira ddala ku byasembayo, ne ndaba nga kirungi okukuwandiikira ggwe Teefiro ow’ekitiibwa ennyo, ndyoke mbikuwandiikire nga bwe byaliraanagana.
4 ut cognoscas eorum verborum de quibus eruditus es veritatem
Olyoke omanye amazima g’ebyo bye wayigirizibwa.
5 fuit in diebus Herodis regis Iudaeae sacerdos quidam nomine Zaccharias de vice Abia et uxor illi de filiabus Aaron et nomen eius Elisabeth
Awo mu biro Kabaka Kerode we yafugira Obuyudaaya, waaliwo kabona erinnya lye Zaakaliya, nga wa mu kitongole kya Abiya, nga mukyala we naye yali wa mu kika kya Alooni, erinnya lye Erisabesi.
6 erant autem iusti ambo ante Deum incedentes in omnibus mandatis et iustificationibus Domini sine querella
Abantu abo bombi baali batuukirivu mu maaso ga Katonda, era nga batambulira mu mateeka ga Katonda gonna, ne mu biragiro bya Mukama, nga tebaliiko kya kunenyezebwa.
7 et non erat illis filius eo quod esset Elisabeth sterilis et ambo processissent in diebus suis
Bombi baali bakaddiye nnyo, era tebaalina mwana, kubanga Erisabesi yali mugumba.
8 factum est autem cum sacerdotio fungeretur in ordine vicis suae ante Deum
Awo lwali lumu, Zaakaliya bwe yali ng’ali ku mulimu gwe ogw’obwakabona mu maaso ga Katonda, kubanga kye kyali ekiseera eky’oluwalo lwe,
9 secundum consuetudinem sacerdotii sorte exiit ut incensum poneret ingressus in templum Domini
n’alondebwa okwoteza obubaane mu yeekaalu ya Mukama, ng’emirimu gy’obwakabona bwe gyabanga.
10 et omnis multitudo erat populi orans foris hora incensi
Mu ssaawa eyo ey’okwoteza obubaane ekibiina kyonna eky’abantu baali bakuŋŋaanidde mu luggya lwa Yeekaalu.
11 apparuit autem illi angelus Domini stans a dextris altaris incensi
Awo malayika wa Mukama n’alabikira Zaakaliya, n’ayimirira ku luuyi olwa ddyo olw’ekyoto okwoterezebwa obubaane!
12 et Zaccharias turbatus est videns et timor inruit super eum
Zaakaliya n’atya nnyo bwe yalaba malayika, entiisa n’emukwata.
13 ait autem ad illum angelus ne timeas Zaccharia quoniam exaudita est deprecatio tua et uxor tua Elisabeth pariet tibi filium et vocabis nomen eius Iohannem
Naye malayika n’amugamba nti, “Totya Zaakaliya! Kubanga okusaba kwo kuwuliddwa, era mukazi wo Erisabesi ajja kukuzaalira omwana wabulenzi. Olimutuuma erinnya Yokaana.
14 et erit gaudium tibi et exultatio et multi in nativitate eius gaudebunt
Mwembi mulisanyuka nnyo ne mujaguza. Era bangi abalibasanyukirako olw’okuzaalibwa kwe.
15 erit enim magnus coram Domino et vinum et sicera non bibet et Spiritu Sancto replebitur adhuc ex utero matris suae
Kubanga aliba mukulu mu maaso ga Katonda. Talinywa mwenge wadde ekitamiiza kyonna. Era alijjuzibwa Mwoyo Mutukuvu ng’akyali mu lubuto lwa nnyina.
16 et multos filiorum Israhel convertet ad Dominum Deum ipsorum
Era alireetera abaana ba Isirayiri bangi okudda eri Mukama Katonda waabwe.
17 et ipse praecedet ante illum in spiritu et virtute Heliae ut convertat corda patrum in filios et incredibiles ad prudentiam iustorum parare Domino plebem perfectam
Aliweerereza mu mwoyo ne mu maanyi aga nnabbi Eriya, n’akyusa emitima gy’aba kitaabwe okudda eri abaana baabwe, n’okukyusa emitima gy’abajeemu okudda eri amagezi g’abatuukirivu alyoke ateeketeeke abantu okulindirira Mukama.”
18 et dixit Zaccharias ad angelum unde hoc sciam ego enim sum senex et uxor mea processit in diebus suis
Zaakaliya n’agamba malayika nti, “Ekyo nnaakimanya ntya? Kubanga nze ndi mukadde, ne mukazi wange naye akaddiya nnyo.”
19 et respondens angelus dixit ei ego sum Gabrihel qui adsto ante Deum et missus sum loqui ad te et haec tibi evangelizare
Malayika n’amugamba nti, “Nze Gabulyeri ayimirira mu maaso ga Katonda, era y’antumye okwogera naawe n’okukuleetera amawulire gano.
20 et ecce eris tacens et non poteris loqui usque in diem quo haec fiant pro eo quod non credidisti verbis meis quae implebuntur in tempore suo
Naye olw’okuba nga tokkirizza bigambo byange, ojja kuziba omumwa, era togenda kuddamu kwogera okutuusa ng’ebintu ebyo bimaze okubaawo. Kubanga ebigambo byange byonna birimala kutuukirira mu kiseera kyabyo.”
21 et erat plebs expectans Zacchariam et mirabantur quod tardaret ipse in templo
Abantu abaali balindirira ebweru wa Yeekaalu okulaba Zaakaliya ne beewuunya nnyo ekyamulwisaayo ennyo bw’atyo.
22 egressus autem non poterat loqui ad illos et cognoverunt quod visionem vidisset in templo et ipse erat innuens illis et permansit mutus
Oluvannyuma ennyo bwe yavaayo, yali tasobola kwogera nabo, ne bategeera nga mu Yeekaalu afuniddeyo okwolesebwa. N’asigala ng’azibye omumwa naye ng’abategeeza mu bubonero.
23 et factum est ut impleti sunt dies officii eius abiit in domum suam
N’abeera mu Yeekaalu okutuusa ennaku ze ez’oluwalo lwe zaggwaako n’alyoka addayo eka.
24 post hos autem dies concepit Elisabeth uxor eius et occultabat se mensibus quinque dicens
Ennaku ezo bwe zaayitawo, mukazi we Erisabesi n’aba olubuto, ne yeekwekera ebbanga lya myezi etaano.
25 quia sic mihi fecit Dominus in diebus quibus respexit auferre obprobrium meum inter homines
N’agamba nti, “Mukama nga wa kisa kingi, kubanga anziggyeeko ensonyi olw’obutaba na mwana.”
26 in mense autem sexto missus est angelus Gabrihel a Deo in civitatem Galilaeae cui nomen Nazareth
Awo mu mwezi ogw’omukaaga, Katonda n’atuma malayika Gabulyeri mu kibuga Nazaaleesi eky’omu Ggaliraaya
27 ad virginem desponsatam viro cui nomen erat Ioseph de domo David et nomen virginis Maria
eri omuwala erinnya lye Maliyamu, nga tamanyi musajja, eyali ayogerezebwa omusajja erinnya lye Yusufu, ow’omu lulyo lwa Dawudi.
28 et ingressus angelus ad eam dixit have gratia plena Dominus tecum benedicta tu in mulieribus
Awo Gabulyeri n’alabikira Maliyamu n’amulamusa nti, “Mirembe! Ggwe aweereddwa omukisa! Mukama ali naawe!”
29 quae cum vidisset turbata est in sermone eius et cogitabat qualis esset ista salutatio
Maliyamu n’atya, n’abulwa n’ekyokwogera, ng’okulamusa okwo kumutabudde, nga n’amakulu gaakwo tagategeera.
30 et ait angelus ei ne timeas Maria invenisti enim gratiam apud Deum
Awo malayika n’amugamba nti, “Totya, Maliyamu, kubanga olabye ekisa mu maaso ga Katonda.
31 ecce concipies in utero et paries filium et vocabis nomen eius Iesum
Kubanga, laba, olibeera olubuto, olizaala omwana wabulenzi era olimutuuma erinnya, Yesu.
32 hic erit magnus et Filius Altissimi vocabitur et dabit illi Dominus Deus sedem David patris eius
Agenda kuba mukulu, wa kitiibwa, era aliyitibwa Omwana w’Oyo Ali Waggulu Ennyo, era Mukama Katonda alimuwa entebe ey’obwakabaka eya jjajjaawe Dawudi.
33 et regnabit in domo Iacob in aeternum et regni eius non erit finis (aiōn )
Alifuga ennyumba ya Yakobo emirembe gyonna, era n’obwakabaka bwe tebulikoma.” (aiōn )
34 dixit autem Maria ad angelum quomodo fiet istud quoniam virum non cognosco
Awo Maliyamu n’abuuza malayika nti, “Ekyo kiriba kitya? Kubanga simanyi musajja.”
35 et respondens angelus dixit ei Spiritus Sanctus superveniet in te et virtus Altissimi obumbrabit tibi ideoque et quod nascetur sanctum vocabitur Filius Dei
Malayika n’amuddamu nti, “Mwoyo Mutukuvu alikukkako, n’amaanyi g’Oyo Ali Waggulu Ennyo galikubuutikira, n’omwana alizaalibwa aliba mutukuvu, Omwana wa Katonda.
36 et ecce Elisabeth cognata tua et ipsa concepit filium in senecta sua et hic mensis est sextus illi quae vocatur sterilis
Laba, muganda wo Erisabesi eyayitibwanga omugumba, kati ali lubuto lwa myezi mukaaga mu bukadde bwe.
37 quia non erit inpossibile apud Deum omne verbum
Kubanga buli kigambo kiyinzika eri Katonda.”
38 dixit autem Maria ecce ancilla Domini fiat mihi secundum verbum tuum et discessit ab illa angelus
Maliyamu n’addamu nti, “Nze ndi muweereza wa Mukama, kibe ku nze nga bw’ogambye.” Malayika n’ava w’ali, n’agenda.
39 exsurgens autem Maria in diebus illis abiit in montana cum festinatione in civitatem Iuda
Awo mu biro ebyo, Maliyamu n’ayanguwa okugenda mu nsi ya Buyudaaya ey’ensozi, mu kibuga kyayo.
40 et intravit in domum Zacchariae et salutavit Elisabeth
N’ayingira mu nnyumba ya Zaakaliya n’alamusa Erisabesi.
41 et factum est ut audivit salutationem Mariae Elisabeth exultavit infans in utero eius et repleta est Spiritu Sancto Elisabeth
Naye Maliyamu bwe yalamusa Erisabesi, omwana eyali mu lubuto lwa Erisabesi n’abuukabuuka era n’ajjuzibwa Mwoyo Mutukuvu.
42 et exclamavit voce magna et dixit benedicta tu inter mulieres et benedictus fructus ventris tui
Erisabesi n’alyoka ayogerera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Oweereddwa omukisa, ggwe mu bakazi, era n’omwana ali mu lubuto lwo aweereddwa omukisa.
43 et unde hoc mihi ut veniat mater Domini mei ad me
Nga nfunye ekitiibwa kinene ggwe nnyina wa Mukama wange okujja okunkyalira!
44 ecce enim ut facta est vox salutationis tuae in auribus meis exultavit in gaudio infans in utero meo
Kubanga bw’oyingidde n’onnamusa, omwana ali mu lubuto lwange oluwulidde ku ddoboozi lyo ne yeekyusakyusa olw’essanyu!
45 et beata quae credidit quoniam perficientur ea quae dicta sunt ei a Domino
Oweereddwa omukisa bw’okkirizza nti ebintu ebyo Mukama bya kwogeddeko birituukirizibwa.”
46 et ait Maria magnificat anima mea Dominum
Maliyamu n’agamba nti,
47 et exultavit spiritus meus in Deo salutari meo
“Emmeeme yange etendereza Mukama. N’omwoyo gwange gusanyukidde Katonda omulokozi wange,
48 quia respexit humilitatem ancillae suae ecce enim ex hoc beatam me dicent omnes generationes
Kubanga alabye obuwombeefu bw’omuweereza we. Kubanga laba, okuva kaakano, ab’emirembe gyonna banaampitanga eyaweebwa omukisa.
49 quia fecit mihi magna qui potens est et sanctum nomen eius
Kubanga Owaamaanyi ankoledde ebikulu; N’erinnya lye ttukuvu.
50 et misericordia eius in progenies et progenies timentibus eum
N’okusaasira kwe kwa mirembe na mirembe eri abo abamutya.
51 fecit potentiam in brachio suo dispersit superbos mente cordis sui
Akoze eby’amaanyi n’omukono gwe. Asaasaanyizza ab’emitima egy’amalala.
52 deposuit potentes de sede et exaltavit humiles
Awanudde abafuzi ku ntebe zaabwe ez’obwakabaka n’agulumiza abawombeefu.
53 esurientes implevit bonis et divites dimisit inanes
Abali mu kwetaaga abakkusizza ebirungi. Naye abagagga n’abagoba nga tabawaddeeyo kantu.
54 suscepit Israhel puerum suum memorari misericordiae
Adduukiridde omuweereza we Isirayiri, n’ajjukira okusaasira,
55 sicut locutus est ad patres nostros Abraham et semini eius in saecula (aiōn )
nga bwe yayogera ne bajjajjaffe, eri Ibulayimu n’ezzadde lye emirembe gyonna.” (aiōn )
56 mansit autem Maria cum illa quasi mensibus tribus et reversa est in domum suam
Maliyamu n’amala ewa Erisabesi muganda we, ng’emyezi esatu, n’alyoka addayo ewuwe.
57 Elisabeth autem impletum est tempus pariendi et peperit filium
Awo ekiseera kya Erisabesi eky’okuzaala ne kituuka, n’azaala omwana wabulenzi.
58 et audierunt vicini et cognati eius quia magnificavit Dominus misericordiam suam cum illa et congratulabantur ei
Baliraanwa ba Erisabesi n’ab’ekika kye ne bawulira nga Mukama bw’amulaze ekisa, ne basanyukira wamu naye.
59 et factum est in die octavo venerunt circumcidere puerum et vocabant eum nomine patris eius Zacchariam
Awo omwana bwe yaweza ennaku omunaana, ne bajja okumukomola, bonna nga balowooza nti ajja kutuumibwa erinnya lya kitaawe Zaakaliya.
60 et respondens mater eius dixit nequaquam sed vocabitur Iohannes
Naye Erisabesi n’abagamba nti, “Nedda, ajja kutuumibwa Yokaana.”
61 et dixerunt ad illam quia nemo est in cognatione tua qui vocetur hoc nomine
Ne bamuwakanya nga bagamba nti, “Mu kika kyo kyonna tetuwulirangayo yatuumibwa linnya eryo.”
62 innuebant autem patri eius quem vellet vocari eum
Ne babuuza kitaawe w’omwana erinnya ly’ayagala atuumibwe.
63 et postulans pugillarem scripsit dicens Iohannes est nomen eius et mirati sunt universi
N’abasaba eky’okuwandiikako, n’awandiikako nti, “Erinnya lye ye Yokaana!” Bonna ne beewuunya nnyo!
64 apertum est autem ilico os eius et lingua eius et loquebatur benedicens Deum
Amangwago akamwa ka Zaakaliya ne kagguka, n’olulimi lwe ne lusumulukuka, n’atandika okwogera n’okutendereza Katonda.
65 et factus est timor super omnes vicinos eorum et super omnia montana Iudaeae divulgabantur omnia verba haec
Abantu bonna ab’omu kitundu ekyo ne batya nnyo, era ebigambo ebyo ne bibuna mu nsi yonna ey’e Buyudaaya ey’ensozi.
66 et posuerunt omnes qui audierant in corde suo dicentes quid putas puer iste erit etenim manus Domini erat cum illo
Buli eyawulira ebigambo ebyo n’abirowoozaako nnyo mu mutima gwe, ne yeebuuza nti, “Naye omwana ono bw’alikula aliba atya?” Kubanga awatali kubuusabuusa, omukono gwa Mukama gwali wamu naye.
67 et Zaccharias pater eius impletus est Spiritu Sancto et prophetavit dicens
Awo Zaakaliya kitaawe, n’ajjula Mwoyo Mutukuvu n’awa obunnabbi nti,
68 benedictus Deus Israhel quia visitavit et fecit redemptionem plebi suae
“Atenderezebwe Mukama Katonda wa Isirayiri, kubanga akyalidde abantu be, era abanunudde.
69 et erexit cornu salutis nobis in domo David pueri sui
Yatuyimusiriza obuyinza obw’obulokozi, mu nnyumba y’omuddu we Dawudi.
70 sicut locutus est per os sanctorum qui a saeculo sunt prophetarum eius (aiōn )
Nga bwe yasuubiriza mu bigambo bya bannabbi be abatukuvu ab’edda ennyo, (aiōn )
71 salutem ex inimicis nostris et de manu omnium qui oderunt nos
Okulokolebwa mu balabe baffe, n’okuva mu mukono gw’abo bonna abatukyawa,
72 ad faciendam misericordiam cum patribus nostris et memorari testamenti sui sancti
okulaga bajjajjaffe ekisa, n’ajjukira n’endagaano ye entukuvu,
73 iusiurandum quod iuravit ad Abraham patrem nostrum
ekirayiro kye yalayirira jjajjaffe Ibulayimu,
74 daturum se nobis ut sine timore de manu inimicorum nostrorum liberati serviamus illi
okukituukiriza, n’okulokolebwa okuva mu mukono gw’abalabe baffe awatali kutya, tulyoke tuweereze mu maaso ge,
75 in sanctitate et iustitia coram ipso omnibus diebus nostris
mu butukuvu ne mu butuukirivu ennaku zonna ez’obulamu bwaffe.
76 et tu puer propheta Altissimi vocaberis praeibis enim ante faciem Domini parare vias eius
“Naawe, mwana wange, oliyitibwa nnabbi w’Oyo Ali Waggulu Ennyo; kubanga gw’olikulembera Mukama okumuteekerateekera amakubo ge.
77 ad dandam scientiam salutis plebi eius in remissionem peccatorum eorum
Okumanyisa abantu be obulokozi, obw’okusonyiyibwa ebibi byabwe.
78 per viscera misericordiae Dei nostri in quibus visitavit nos oriens ex alto
Byonna birituukirira olw’ekisa kya Katonda waffe ekingi. Emmambya esala eritukyalira okuva mu ggulu,
79 inluminare his qui in tenebris et in umbra mortis sedent ad dirigendos pedes nostros in viam pacis
okwakira abo abatudde mu kizikiza ne mu kisiikirize eky’okufa, okuluŋŋamya ebigere byaffe mu kkubo ery’emirembe.”
80 puer autem crescebat et confortabatur spiritu et erat in deserto usque in diem ostensionis suae ad Israhel
Omwana n’akula n’ayongerwako amaanyi mu mwoyo, n’abeera mu malungu okutuusa ku lunaku lwe yayolesebwa eri Isirayiri.