< Lamentationes 5 >

1 recordare Domine quid acciderit nobis intuere et respice obprobrium nostrum
Jjukira Ayi Mukama ekitutuuseeko. Tunula olabe ennaku yaffe.
2 hereditas nostra versa est ad alienos domus nostrae ad extraneos
Omugabo gwaffe guweereddwa bannamawanga, n’amaka gaffe gatwaliddwa abatali ba mu nnyumba.
3 pupilli facti sumus absque patre matres nostrae quasi viduae
Tufuuse bamulekwa abatalina bakitaabwe, ne bannyaffe bafuuse bannamwandu.
4 aquam nostram pecunia bibimus ligna nostra pretio conparavimus
Tusasulira amazzi ge tunywa; n’enku tuteekwa okuzigula.
5 cervicibus minabamur lassis non dabatur requies
Abatucocca batugobaganya; tukooye ate nga tetulina wa kuwummulira.
6 Aegypto dedimus manum et Assyriis ut saturaremur pane
Twakola endagaano ne Misiri n’Abasuuli okutufuniranga ku mmere.
7 patres nostri peccaverunt et non sunt et nos iniquitates eorum portavimus
Bajjajjaffe baayonoona, ne bafa, naye tubonerezebwa olw’ebikolwa byabwe ebitaali bya butuukirivu.
8 servi dominati sunt nostri non fuit qui redimeret de manu eorum
Abaddu be batufuga, tewali n’omu ayinza okutulokola mu mukono gwabwe.
9 in animabus nostris adferebamus panem nobis a facie gladii in deserto
Tuba kumpi n’okuttibwa nga tunoonya emmere, olw’ekitala ekiri mu ddungu.
10 pellis nostra quasi clibanus exusta est a facie tempestatum famis
Olususu lwaffe luddugadde ng’enziro olw’enjala ennyingi.
11 mulieres in Sion humiliaverunt virgines in civitatibus Iuda
Abakyala ba Sayuuni, n’abawala embeerera ab’omu bibuga bya Yuda bakwatiddwa olw’amaanyi.
12 principes manu suspensi sunt facies senum non erubuerunt
Abalangira bawanikibbwa baleebeetera ku mikono gyabwe n’abakadde tewali abassaamu kitiibwa.
13 adulescentibus inpudice abusi sunt et pueri in ligno corruerunt
Abavubuka bawalirizibwa okusa emmere ku jjinja ne ku lubengo, n’abalenzi batagala nga beetisse entuumu z’enku.
14 senes de portis defecerunt iuvenes de choro psallentium
Abakadde tebakyatuula mu wankaaki w’ekibuga, n’abavubuka tebakyayimba.
15 defecit gaudium cordis nostri versus est in luctu chorus noster
Emitima gyaffe tegikyasanyuka, n’okuzina kwaffe kufuuse kukungubaga.
16 cecidit corona capitis nostri vae nobis quia peccavimus
Engule egudde okuva ku mitwe gyaffe. Zitusanze kubanga twonoonye!
17 propterea maestum factum est cor nostrum ideo contenebrati sunt oculi nostri
Emitima gyaffe kyegivudde gizirika, era n’amaaso gaffe kyegavudde gayimbaala.
18 propter montem Sion quia disperiit vulpes ambulaverunt in eo
Olw’okuba nga olusozi Sayuuni lulekeddwa nga lwereere, ebibe kyebivudde bitambulirako.
19 tu autem Domine in aeternum permanebis solium tuum in generatione et generatione
Ggwe, Ayi Mukama obeerera ennaku zonna; entebe yo ey’obwakabaka ya mirembe na mirembe.
20 quare in perpetuum oblivisceris nostri derelinques nos in longitudinem dierum
Lwaki otwelabiririra ddala okumala ennaku ezo zonna? Tuddiremu, Ayi Mukama, tudde gy’oli.
21 converte nos Domine ad te et convertemur innova dies nostros sicut a principio
Tukomyewo gy’oli Ayi Mukama, otuzze buggya ng’edda;
22 sed proiciens reppulisti nos iratus es contra nos vehementer
wabula ng’otusuulidde ddala, era ng’otusunguwalidde nnyo nnyini obutayagala na kutuddiramu.

< Lamentationes 5 >