< Iohannem 9 >

1 et praeteriens vidit hominem caecum a nativitate
Awo Yesu bwe yali ng’atambula, n’alaba omusajja eyazaalibwa nga muzibe w’amaaso.
2 et interrogaverunt eum discipuli sui rabbi quis peccavit hic aut parentes eius ut caecus nasceretur
Abayigirizwa be ne bamubuuza nti, “Labbi, ani eyayonoona, ono oba bazadde be alyoke azaalibwe nga muzibe w’amaaso?”
3 respondit Iesus neque hic peccavit neque parentes eius sed ut manifestetur opera Dei in illo
Yesu n’addamu nti, “Ku bonna omusajja ono newaakubadde bazadde be tekuliiko yayonoona, wabula kino kyabaawo emirimu gya Katonda girabikire ku ye.
4 me oportet operari opera eius qui misit me donec dies est venit nox quando nemo potest operari
Kale kitugwanidde okukola emirimu gy’oyo eyantuma, obudde nga bukyali misana. Ekiro kijja omuntu mw’atasobolera kukola.
5 quamdiu in mundo sum lux sum mundi
Kyokka Nze bwe mbeera mu nsi mba musana gwa nsi.”
6 haec cum dixisset expuit in terram et fecit lutum ex sputo et linuit lutum super oculos eius
Yesu bwe yamala okwogera bw’atyo, n’awanda amalusu ku ttaka n’atabula, n’alisiiga ku maaso g’omusajja oyo.
7 et dixit ei vade lava in natatoria Siloae quod interpretatur Missus abiit ergo et lavit et venit videns
N’amugamba nti, “Genda onaabe mu kidiba kya Sirowamu,” amakulu nti, “Eyatumibwa”. Awo omusajja n’agenda, n’anaaba, n’adda ng’alaba.
8 itaque vicini et qui videbant eum prius quia mendicus erat dicebant nonne hic est qui sedebat et mendicabat alii dicebant quia hic est
Baliraanwa b’oyo eyawonyezebwa era n’abalala abaali bamumanyi nga muzibe w’amaaso, asabiriza, ne beebuuzaganya nti, “Ono si ye musajja oli eyatuulanga wali ng’asabiriza?”
9 alii autem nequaquam sed similis est eius ille dicebat quia ego sum
Abamu ne bagamba nti, “Ye ye,” abalala ne bagamba nti, “Nedda, anaamufaanana bufaananyi.” Kyokka ye n’abagamba nti, “Ye nze ddala.”
10 dicebant ergo ei quomodo aperti sunt oculi tibi
Bo kwe ku mubuuza nti, “Kale amaaso go gaazibuse gatya?”
11 respondit ille homo qui dicitur Iesus lutum fecit et unxit oculos meos et dixit mihi vade ad natatoriam Siloae et lava et abii et lavi et vidi
N’abategeeza nti, “Omuntu ayitibwa Yesu, yatabula ettaka n’alinsiiga ku maaso, n’andagira nti, ‘Genda e Sirowamu onaabe.’ Ne ŋŋenda ne naaba, ne nsobola okulaba.”
12 dixerunt ei ubi est ille ait nescio
Ne bamubuuza nti, “Ali ludda wa?” N’addamu nti, “Simanyi.”
13 adducunt eum ad Pharisaeos qui caecus fuerat
Awo ne batwala omusajja eyali omuzibe w’amaaso eri Abafalisaayo.
14 erat autem sabbatum quando lutum fecit Iesus et aperuit oculos eius
Olunaku olwo Yesu lwe yatabulirako ettaka n’azibula omusajja oyo amaaso, lwali lwa Ssabbiiti.
15 iterum ergo interrogabant eum Pharisaei quomodo vidisset ille autem dixit eis lutum posuit mihi super oculos et lavi et video
Abafalisaayo nabo ne babuuza omuntu oyo engeri gye yazibuka amaaso. Awo n’ababuulira ng’agamba nti, “Yesu yatabula ettaka n’alinsiiga ku maaso, ne naaba, kaakano ndaba.”
16 dicebant ergo ex Pharisaeis quidam non est hic homo a Deo quia sabbatum non custodit alii dicebant quomodo potest homo peccator haec signa facere et scisma erat in eis
Abamu ku bo ne bagamba nti, “Omusajja oyo Yesu teyava wa Katonda kubanga takwata Ssabbiiti.” Kyokka abalala ne bagamba nti, “Omuntu omwonoonyi ayinza atya okukola eby’amagero ebifaanana bwe bityo?” Ne wabaawo okwawukana kunene mu bo.
17 dicunt ergo caeco iterum tu quid dicis de eo qui aperuit oculos tuos ille autem dixit quia propheta est
Awo Abafalisaayo ne bakyukira omusajja eyali omuzibe w’amaaso ne bamubuuza nti, “Omuntu oyo eyakuzibula amaaso olowooza wa ngeri ki?” Omusajja n’addamu nti, “Ndowooza nnabbi.”
18 non crediderunt ergo Iudaei de illo quia caecus fuisset et vidisset donec vocaverunt parentes eius qui viderat
Ne batakkiriza nti omusajja oyo yali muzibe, okutuusa lwe baayita abazadde be,
19 et interrogaverunt eos dicentes hic est filius vester quem vos dicitis quia caecus natus est quomodo ergo nunc videt
ne bababuuza nti, “Ono mutabani wammwe? Era yazaalibwa nga muzibe wa maaso? Kale obanga bwe kiri kaakano asobola atya okulaba?”
20 responderunt eis parentes eius et dixerunt scimus quia hic est filius noster et quia caecus natus est
Bakadde be ne baddamu nti, “Tumanyi ng’oyo ye mutabani waffe era nga yazaalibwa muzibe wa maaso.
21 quomodo autem nunc videat nescimus aut quis eius aperuit oculos nos nescimus ipsum interrogate aetatem habet ipse de se loquatur
Naye engeri gye yazibukamu amaaso tetugimanyi, era n’eyamuzibula amaaso tetumumanyi. Wuuyo musajja mukulu mumwebuulize ajja kweyogerera.”
22 haec dixerunt parentes eius quia timebant Iudaeos iam enim conspiraverant Iudaei ut si quis eum confiteretur Christum extra synagogam fieret
Ekyaboogeza batyo lwa kutya Bayudaaya. Kubanga Abayudaaya baali bamaze okuteesa nti buli ayatula nti Yesu ye Kristo agobebwe mu kuŋŋaaniro.
23 propterea parentes eius dixerunt quia aetatem habet ipsum interrogate
Ekyo kye kyaboogeza nti, “Wuuyo musajja mukulu mumwebuulize.”
24 vocaverunt ergo rursum hominem qui fuerat caecus et dixerunt ei da gloriam Deo nos scimus quia hic homo peccator est
Awo ate ne bongera okuyita omusajja eyali omuzibe w’amaaso ne bamugamba nti, “Gulumiza Katonda, kubanga tumanyi omusajja oyo mwonoonyi.”
25 dixit ergo ille si peccator est nescio unum scio quia caecus cum essem modo video
Omusajja n’addamu nti, “Oba mwonoonyi oba si mwonoonyi simanyi, wabula kye mmanyi kiri kimu nti nnali muzibe w’amaaso, naye kaakano ndaba.”
26 dixerunt ergo illi quid fecit tibi quomodo aperuit tibi oculos
Kyebaava bamubuuza nti, “Kiki kye yakola? Amaaso yagazibula atya?”
27 respondit eis dixi vobis iam et audistis quid iterum vultis audire numquid et vos vultis discipuli eius fieri
Omusajja n’addamu nti, “Nabategeezezza dda ne mutawuliriza. Lwaki ate mwagala mbaddiremu? Nammwe mwagala kufuuka bayigirizwa be?”
28 maledixerunt ei et dixerunt tu discipulus illius es nos autem Mosi discipuli sumus
Ne bamuvuma ne bamugamba nti, “Ggwe oli muyigirizwa we. Naye ffe tuli bayigirizwa ba Musa.
29 nos scimus quia Mosi locutus est Deus hunc autem nescimus unde sit
Ffe tumanyi nga Katonda yayogera ne Musa, naye oyo tetumanyi gy’ava.”
30 respondit ille homo et dixit eis in hoc enim mirabile est quia vos nescitis unde sit et aperuit meos oculos
Ye n’addamu nti, “Kino kitalo, mmwe obutamanya gye yava ate nga nze yanzibula amaaso.
31 scimus autem quia peccatores Deus non audit sed si quis Dei cultor est et voluntatem eius facit hunc exaudit
Tumanyi nti Katonda tawulira balina bibi, naye awulira abo abamutya era abakola by’ayagala.
32 a saeculo non est auditum quia aperuit quis oculos caeci nati (aiōn g165)
Ensi kasookedde ebaawo tewalabikangawo yali azibudde maaso ga muntu eyazaalibwa nga muzibe wa maaso. (aiōn g165)
33 nisi esset hic a Deo non poterat facere quicquam
Kale omuntu ono eyanzibula amaaso singa teyava wa Katonda ekyo teyandikisobodde.”
34 responderunt et dixerunt ei in peccatis natus es totus et tu doces nos et eiecerunt eum foras
Awo ne bamuboggolera nga bagamba nti, “Ggwe eyazaalirwa mu bibi, ggw’oyigiriza ffe?” Ne bamusindika ebweru.
35 audivit Iesus quia eiecerunt eum foras et cum invenisset eum dixit ei tu credis in Filium Dei
Yesu n’ategeera nga bamusindise ebweru. Bwe yamusanga n’amugamba nti, “Ggwe okkiriza Omwana w’Omuntu?”
36 respondit ille et dixit quis est Domine ut credam in eum
Omusajja n’amubuuza nti, “Ssebo, y’aluwa mmukkirize?”
37 et dixit ei Iesus et vidisti eum et qui loquitur tecum ipse est
Yesu n’amugamba nti, “Omulabye, ye wuuyo ayogera naawe.”
38 at ille ait credo Domine et procidens adoravit eum
Omusajja n’agamba nti, “Mukama wange, nzikiriza!” N’amusinza.
39 dixit ei Iesus in iudicium ego in hunc mundum veni ut qui non vident videant et qui vident caeci fiant
Awo Yesu n’agamba nti, “Najja mu nsi okusala omusango, abatalaba balabe, ate naabo abalaba babe bazibe ba maaso.”
40 et audierunt ex Pharisaeis qui cum ipso erant et dixerunt ei numquid et nos caeci sumus
Abamu ku Bafalisaayo abaali bayimiridde awo bwe baawulira ebigambo ebyo ne bamubuuza nti, “Ky’ogamba nti naffe tuli bazibe ba maaso?”
41 dixit eis Iesus si caeci essetis non haberetis peccatum nunc vero dicitis quia videmus peccatum vestrum manet
Yesu n’abaddamu nti, “Singa mubadde bazibe ba maaso, temwandibadde na kibi. Naye kubanga mugamba nti tulaba, ekibi kyammwe kyekiva kibasigalako.”

< Iohannem 9 >