< Iohannem 7 >
1 post haec ambulabat Iesus in Galilaeam non enim volebat in Iudaeam ambulare quia quaerebant eum Iudaei interficere
Oluvannyuma lw’ebyo, Yesu n’alaga e Ggaliraaya, kubanga teyayagala kubeera mu Buyudaaya, kubanga Abayudaaya baali bamunoonya okumutta.
2 erat autem in proximo dies festus Iudaeorum scenopegia
Naye embaga y’Abayudaaya eyitibwa ey’Ensiisira yali eneetera okutuuka.
3 dixerunt autem ad eum fratres eius transi hinc et vade in Iudaeam ut et discipuli tui videant opera tua quae facis
Baganda ba Yesu ne bamugamba nti, “Vva wano, olage mu Buyudaaya, abayigirizwa bo balabe ebyamagero by’okola.
4 nemo quippe in occulto quid facit et quaerit ipse in palam esse si haec facis manifesta te ipsum mundo
Tosobola kwatiikirira nga weekwese. Kale obanga, okola ebintu ebyo, weerage eri ensi.”
5 neque enim fratres eius credebant in eum
Baganda be nabo tebaamukkiriza.
6 dicit ergo eis Iesus tempus meum nondum advenit tempus autem vestrum semper est paratum
Yesu n’abaddamu nti, “Ekiseera kyange eky’okugenda tekinnatuuka. Naye mmwe muyinza okugenda mu kiseera kyonna we mwagalira.
7 non potest mundus odisse vos me autem odit quia ego testimonium perhibeo de illo quia opera eius mala sunt
Mmwe ensi teyinza kubakyawa, naye Nze enkyawa kubanga ngitegeeza ebikolwa byayo ebibi.
8 vos ascendite ad diem festum hunc ego non ascendo ad diem festum istum quia meum tempus nondum impletum est
Mmwe mwambuke ku mbaga. Nze sijja kwambuka ku mbaga eno, kubanga ekiseera kyange tekinnatuuka.”
9 haec cum dixisset ipse mansit in Galilaea
Bwe yamala okubagamba ebyo n’asigala mu Ggaliraaya.
10 ut autem ascenderunt fratres eius tunc et ipse ascendit ad diem festum non manifeste sed quasi in occulto
Baganda be bwe bamala okwambuka ku mbaga naye n’ayambuka, mu kyama so si mu lwatu.
11 Iudaei ergo quaerebant eum in die festo et dicebant ubi est ille
Awo Abayudaaya ne bamunoonya ku mbaga nga beebuuza nti, “Omusajja oli, ali ludda wa?”
12 et murmur multus de eo erat in turba; quidam enim dicebant quia bonus est alii autem dicebant non sed seducit turbas
Ne wabaawo oluvuuvuumo lungi mu bantu. Abamu ne bagamba nti, “Mulungi.” Naye abalala nga bagamba nti, “Nedda, alimba abantu.”
13 nemo tamen palam loquebatur de illo propter metum Iudaeorum
Kyokka olw’okutya Abayudaaya, tewaaliwo amwogerako mu lwatu.
14 iam autem die festo mediante ascendit Iesus in templum et docebat
Awo mu makkati g’embaga Yesu n’ayambuka mu Yeekaalu n’ayigiriza.
15 et mirabantur Iudaei dicentes quomodo hic litteras scit cum non didicerit
Abakulembeze b’Abayudaaya ne beewuunya nga bagamba nti, “Omuntu ono ayinza atya okumanya okusoma so nga tasomangako?”
16 respondit eis Iesus et dixit mea doctrina non est mea sed eius qui misit me
Awo Yesu kwe kubaddamu nti, “Nze sibayigiriza byange ku bwange, wabula eby’oyo eyantuma.
17 si quis voluerit voluntatem eius facere cognoscet de doctrina utrum ex Deo sit an ego a me ipso loquar
Buli ayagala okukola Katonda by’ayagala, ategeera obanga bye njigiriza byange ku bwange oba bya Katonda.
18 qui a semet ipso loquitur gloriam propriam quaerit qui autem quaerit gloriam eius qui misit illum hic verax est et iniustitia in illo non est
Ayogera ku bubwe anoonya kitiibwa kye, naye oyo anoonya ekitiibwa ky’oyo eyantuma wa mazima so n’obutali butuukirivu tebuba mu ye. Musa teyabawa amateeka?
19 nonne Moses dedit vobis legem et nemo ex vobis facit legem
Ku mmwe tekuliiko n’omu akwata mateeka. Kale lwaki musala amagezi okunzita?”
20 quid me quaeritis interficere respondit turba et dixit daemonium habes quis te quaerit interficere
Ekibiina ky’abantu ne baddamu nti, “Oliko dayimooni! Ani asala amagezi okukutta?”
21 respondit Iesus et dixit eis unum opus feci et omnes miramini
Yesu n’addamu nti, “Nakola ekikolwa kimu ku Ssabbiiti buli muntu ne yeewuunya.
22 propterea Moses dedit vobis circumcisionem non quia ex Mose est sed ex patribus et in sabbato circumciditis hominem
Musa kyeyava abalagira okukomolebwa, okukomolebwa tekwatandikira ku Musa wabula kwatandikira ku bajjajjammwe; ne ku Ssabbiiti mukomola omuntu.
23 si circumcisionem accipit homo in sabbato ut non solvatur lex Mosi mihi indignamini quia totum hominem sanum feci in sabbato
Obanga mukomola ku Ssabbiiti etteeka lya Musa lireme okumenyebwa, kale lwaki Nze munsunguwalira olw’okuwonya omuntu ku Ssabbiiti, n’aba mulamu ddala?
24 nolite iudicare secundum faciem sed iustum iudicium iudicate
Temusalanga musango okusinziira ku ndabika, naye musalenga omusango ogw’ensonga.”
25 dicebant ergo quidam ex Hierosolymis nonne hic est quem quaerunt interficere
Awo abantu abamu ab’omu Yerusaalemi ne beebuuzaganya nga bagamba nti, “Ono si ye muntu gwe banoonya okutta?
26 et ecce palam loquitur et nihil ei dicunt numquid vere cognoverunt principes quia hic est Christus
Kale wuuno ayigiriza lwatu, ate tebaliiko kye bamugambako. Osanga abakulembeze bategedde nti omuntu ono ye Kristo!
27 sed hunc scimus unde sit Christus autem cum venerit nemo scit unde sit
Naye tumanyi omuntu ono gy’ava; so nga Kristo bw’alijja tewaliba n’omu amanya gy’ava.”
28 clamabat ergo docens in templo Iesus et dicens et me scitis et unde sim scitis et a me ipso non veni sed est verus qui misit me quem vos non scitis
Awo Yesu bwe yali ng’akyayigiriza mu Yeekaalu n’akangula ku ddoboozi n’agamba nti, “Ddala mummanyi ne gye nva mumanyiiyo. Sajja ku bwange wabula ekituufu nti oyo eyantuma gwe mutamanyi.
29 ego scio eum quia ab ipso sum et ipse me misit
Nze mmumanyi, kubanga nava gy’ali, era ye yantuma.”
30 quaerebant ergo eum adprehendere et nemo misit in illum manus quia nondum venerat hora eius
Awo ne basala amagezi okumukwata, kyokka tewaali amukwatako, kubanga ekiseera kye kyali tekinnaba kutuuka.
31 de turba autem multi crediderunt in eum et dicebant Christus cum venerit numquid plura signa faciet quam quae hic facit
Naye bangi mu bibiina by’abantu ne bamukkiriza, ne bagamba nti, “Kale Kristo bw’alijja, alikola eby’amagero ebisinga eby’ono byakoze?”
32 audierunt Pharisaei turbam murmurantem de illo haec et miserunt principes et Pharisaei ministros ut adprehenderent eum
Awo Abafalisaayo ne bawulira abantu nga boogera ku Yesu mu bwama. Awo bakabona abakulu n’Abafalisaayo ne batuma abaweereza baabwe okumukwata.
33 dixit ergo Iesus adhuc modicum tempus vobiscum sum et vado ad eum qui misit me
Awo Yesu n’agamba nti, “Nzija kumala nammwe ebbanga ttono, ndyoke nzireyo eri oyo eyantuma.
34 quaeretis me et non invenietis et ubi sum ego vos non potestis venire
Mulinnoonya, naye temugenda kundaba, nga gye ndi, mmwe temuyinza kutuukayo.”
35 dixerunt ergo Iudaei ad se ipsos quo hic iturus est quia non inveniemus eum numquid in dispersionem gentium iturus est et docturus gentes
Awo Abayudaaya ne beebuuzaganya nti, “Omuntu ono alaga wa gye tutalimulabira? Ayagala kugenda eri abo abaasaasaanira mu Buyonaani, ayigirize Abayonaani?
36 quis est hic sermo quem dixit quaeretis me et non invenietis et ubi sum ego non potestis venire
Ategeeza ki bw’agamba nti, ‘Mulinnoonya, naye temulindaba?’ Era nti, ‘Gye ndaga temuyinza kutuukayo?’”
37 in novissimo autem die magno festivitatis stabat Iesus et clamabat dicens si quis sitit veniat ad me et bibat
Awo ku lunaku olw’embaga olusembayo, olusingira ddala obukulu, Yesu n’ayimirira n’ayogera n’eddoboozi ery’omwanguka n’agamba nti, “Buli alina ennyonta, ajje gye ndi anywe!
38 qui credit in me sicut dixit scriptura flumina de ventre eius fluent aquae vivae
Ng’Ekyawandiikibwa bwe kigamba nti buli akkiriza Nze emigga egy’amazzi amalamu girikulukuta nga gifuluma mu mutima gwe!”
39 hoc autem dixit de Spiritu quem accepturi erant credentes in eum non enim erat Spiritus quia Iesus nondum fuerat glorificatus
Yesu yali ayogera ku Mwoyo Mutukuvu, abamukkiriza gwe baali bagenda okufuna, kubanga Mwoyo oyo yali tannagabibwa, kubanga Yesu yali tannaba kugulumizibwa.
40 ex illa ergo turba cum audissent hos sermones eius dicebant hic est vere propheta
Abantu abamu mu kibiina bwe baawulira ng’ayogera bw’atyo, ne bagamba nti, “Ddala omuntu ono ye Nnabbi.”
41 alii dicebant hic est Christus quidam autem dicebant numquid a Galilaea Christus venit
Abalala ne bagamba nti, “Omuntu ono ye Kristo.” Naye abalala ne bagamba nti, “Nedda, Kristo tayinza kuba ng’ava mu Ggaliraaya.”
42 nonne scriptura dicit quia ex semine David et Bethleem castello ubi erat David venit Christus
Kubanga Ekyawandiikibwa kigamba nti: Kristo wa kuva mu zzadde lya Dawudi, era nga wa kuzaalibwa mu Besirekemu, ekibuga kya Dawudi mwe yali.
43 dissensio itaque facta est in turba propter eum
Awo ekibiina ne kyesalamu olwa Yesu.
44 quidam autem ex ipsis volebant adprehendere eum sed nemo misit super illum manus
Abamu ne baagala okumukwata, kyokka ne wabulawo amukwatako.
45 venerunt ergo ministri ad pontifices et Pharisaeos et dixerunt eis illi quare non adduxistis eum
Awo abaweereza b’abakabona abakulu n’Abafalisaayo ne baddayo eri bakabona abakulu n’Abafalisaayo. Abakulembeze Ne bababuuza nti, “Lwaki temumuleese?”
46 responderunt ministri numquam sic locutus est homo sicut hic homo
Abaweereza ne baddamu nti, “Ebigambo by’ayogera bya kitalo, tetubiwulirangako.”
47 responderunt ergo eis Pharisaei numquid et vos seducti estis
Abafalisaayo ne babagamba nti, “Era nammwe abakyamizza?
48 numquid aliquis ex principibus credidit in eum aut ex Pharisaeis
Waliwo n’omu ku bakulembeze wadde ku Bafalisaayo eyali akkiririzza mu muntu oyo?
49 sed turba haec quae non novit legem maledicti sunt
Naye ekibiina ky’abantu bano abatamanyi mateeka, bakolimiddwa!”
50 dicit Nicodemus ad eos ille qui venit ad eum nocte qui unus erat ex ipsis
Awo Nikodemo, omu ku bo eddako eyagenda eri Yesu, n’abuuza nti,
51 numquid lex nostra iudicat hominem nisi audierit ab ipso prius et cognoverit quid faciat
“Amateeka gaffe gakkiriza okusalira omuntu omusango nga tannaba kuwozesebwa okutegeera ky’akoze?”
52 responderunt et dixerunt ei numquid et tu Galilaeus es scrutare et vide quia propheta a Galilaea non surgit
Ne bamuddamu nti, “Naawe wava Ggaliraaya? Nnoonyereza, ojja kulaba nti e Ggaliraaya teva nnabbi.”
53 et reversi sunt unusquisque in domum suam
Awo ne baabuka, buli omu n’addayo eka.