< Iohannem 13 >

1 ante diem autem festum paschae sciens Iesus quia venit eius hora ut transeat ex hoc mundo ad Patrem cum dilexisset suos qui erant in mundo in finem dilexit eos
Ku lunaku olukulembera Embaga ey’Okuyitako, Yesu yamanya ng’ekiseera kye kituuse ave mu nsi muno agende eri Kitaawe. Yesu bwe yayagala ababe mu nsi, yabalagira ddala okwagala kwe kwonna okutuusiza ddala ku kiseera ekisembayo.
2 et cena facta cum diabolus iam misisset in corde ut traderet eum Iudas Simonis Scariotis
Bwe baali balya ekyekiro, Setaani yali yamaze dda okuteeka mu mutima gwa Yuda Isukalyoti, omwana wa Simooni, ekirowoozo eky’okulya mu Yesu olukwe.
3 sciens quia omnia dedit ei Pater in manus et quia a Deo exivit et ad Deum vadit
Yesu bwe yamanya nti Kitaawe yateeka byonna mu mikono gye, era nga yava wa Katonda ate gy’adda,
4 surgit a cena et ponit vestimenta sua et cum accepisset linteum praecinxit se
n’asituka ku mmere, ne yeggyako omunagiro gwe, ne yeesiba ettawulo mu kiwato,
5 deinde mittit aquam in pelvem et coepit lavare pedes discipulorum et extergere linteo quo erat praecinctus
n’ateeka amazzi mu bensani, n’atandika okunaaza abayigirizwa be ebigere nga bw’abasiimuuza ettawulo gye yali yeesibye.
6 venit ergo ad Simonem Petrum et dicit ei Petrus Domine tu mihi lavas pedes
Bwe yatuuka ku Simooni Peetero, Peetero n’amugamba nti, “Mukama wange, ggwe onnaaze ebigere?”
7 respondit Iesus et dicit ei quod ego facio tu nescis modo scies autem postea
Yesu n’amuddamu nti, “Ensonga enkozesa kino togimanyi kaakano, wabula ekiseera kirituuka n’ogitegeera.”
8 dicit ei Petrus non lavabis mihi pedes in aeternum respondit Iesus ei si non lavero te non habes partem mecum (aiōn g165)
Peetero n’amuddamu nti, “Nedda, tolinnaaza bigere emirembe gyonna.” Yesu n’amugamba nti, “Bwe siikunaaze bigere, nga tossa kimu nange.” (aiōn g165)
9 dicit ei Simon Petrus Domine non tantum pedes meos sed et manus et caput
Simooni Peetero n’amugamba nti, “Mukama wange, tonnaaza bigere byokka, naye nnaaza n’emikono n’omutwe.”
10 dicit ei Iesus qui lotus est non indiget ut lavet sed est mundus totus et vos mundi estis sed non omnes
Yesu n’amuddamu nti, “Anaabye omubiri, aba teyeetaaga kunaaba okuggyako ebigere byokka, alyoke abe omulongoofu. Kaakano muli balongoofu, naye si mwenna.”
11 sciebat enim quisnam esset qui traderet eum propterea dixit non estis mundi omnes
Kubanga Yesu yamanya anaamulyamu olukwe. Kyeyava agamba nti, “Si mwenna abalongoofu.”
12 postquam ergo lavit pedes eorum et accepit vestimenta sua cum recubuisset iterum dixit eis scitis quid fecerim vobis
Yesu bwe yamala okubanaaza ebigere n’ayambala omunagiro gwe, n’addayo n’atuula, n’abagamba nti, “Kye mbakoze mukitegedde?
13 vos vocatis me magister et Domine et bene dicitis sum etenim
Mmwe mumpita Muyigiriza era Mukama wammwe, mukola bulungi okumpita bwe mutyo kubanga ddala bwe ntyo bwe ndi.
14 si ergo ego lavi vestros pedes Dominus et magister et vos debetis alter alterius lavare pedes
Kale Nze Mukama wammwe era Omuyigiriza, nga bwe mbanaazizza ebigere, nammwe musaana okunaazagananga ebigere.
15 exemplum enim dedi vobis ut quemadmodum ego feci vobis ita et vos faciatis
Mbalaze ekyokulabirako, mukolenga nga Nze bwe mbakoze.
16 amen amen dico vobis non est servus maior domino suo neque apostolus maior eo qui misit illum
Ddala ddala mbagamba nti, Omuddu tasinga mukama we. Era n’oyo atumibwa tasinga oli amutumye.
17 si haec scitis beati eritis si feceritis ea
Bwe mumanya ebintu bino muba n’omukisa bwe mubikola.
18 non de omnibus vobis dico ego scio quos elegerim sed ut impleatur scriptura qui manducat mecum panem levavit contra me calcaneum suum
Ebintu bino byonna sibyogera nammwe mwenna, buli omu ku mmwe be nalonda mmumanyi; ekyawandiikibwa kituukirire ekigamba nti, ‘Oyo bwe tulya emmere anneefuukidde!’
19 amodo dico vobis priusquam fiat ut credatis cum factum fuerit quia ego sum
Kino nkibategeeza okuva kaakano, nga tekinnabaawo, bwe kinaabaawo mulyoke munzikirize.
20 amen amen dico vobis qui accipit si quem misero me accipit qui autem me accipit accipit eum qui me misit
Ddala ddala mbagamba nti buli asembeza gwe ntuma, ng’asembezezza Nze, era asembeza Nze ng’asembezezza oyo eyantuma.”
21 cum haec dixisset Iesus turbatus est spiritu et protestatus est et dixit amen amen dico vobis quia unus ex vobis tradet me
Yesu bwe yamala okwogera ebyo n’alumwa nnyo mu mwoyo, n’agamba nti, “Ddala ddala mbagamba, omu ku mmwe anandyamu olukwe.”
22 aspiciebant ergo ad invicem discipuli haesitantes de quo diceret
Abayigirizwa ne batunulaganako, nga tebamanyidde ddala gw’ayogerako.
23 erat ergo recumbens unus ex discipulis eius in sinu Iesu quem diligebat Iesus
Omu ku bayigirizwa, Yesu gwe yayagalanga, yali agalamidde okumpi n’ekifuba kya Yesu,
24 innuit ergo huic Simon Petrus et dicit ei quis est de quo dicit
Simooni Peetero n’amutemyako ng’amugamba nti, “Mutubuulize gw’ayogerako.”
25 itaque cum recubuisset ille supra pectus Iesu dicit ei Domine quis est
Kale bwe yaddayo okugalamira ng’aliraanye ekifuba kya Yesu, n’amubuuza nti, “Mukama waffe, gw’oyogerako ye ani?”
26 respondit Iesus ille est cui ego intinctum panem porrexero et cum intinxisset panem dedit Iudae Simonis Scariotis
Yesu n’addamu nti, “Gwe nnaakoleza ekitole ne nkimuwa nga ye wuuyo.” Awo n’akwata ekitole, n’akikoza n’akiwa Yuda Isukalyoti omwana wa Simooni.
27 et post buccellam tunc introivit in illum Satanas dicit ei Iesus quod facis fac citius
Yuda bwe yamala okuweebwa ekitole ekyo, Setaani n’amuyingiramu. Awo Yesu n’amugamba nti, “Ky’okola kikole mangu!”
28 hoc autem nemo scivit discumbentium ad quid dixerit ei
Ku baali balya tewaali n’omu eyategeera kyeyava amugamba bw’atyo.
29 quidam enim putabant quia loculos habebat Iudas quia dicit ei Iesus eme ea quae opus sunt nobis ad diem festum aut egenis ut aliquid daret
Abamu baalowooza nti nga Yuda bwe yali atereka ensimbi, Yesu amugambye agende agule bye beetaaga ku mbaga, oba nti abeeko by’agabira abaavu.
30 cum ergo accepisset ille buccellam exivit continuo erat autem nox
Yuda olwafuna ekitole, amangwago n’afuluma ebweru; obudde bwali kiro.
31 cum ergo exisset dicit Iesus nunc clarificatus est Filius hominis et Deus clarificatus est in eo
Yuda olwafuluma, Yesu n’agamba nti, “Kaakano Omwana w’Omuntu agulumizibbwa ne Katonda agulumizibbwa mu ye.
32 si Deus clarificatus est in eo et Deus clarificabit eum in semet ipso et continuo clarificabit eum
Era obanga Katonda agulumizibbwa mu ye, Katonda yeegulumiza ye yennyini, era amangwago ajja kumugulumiza.
33 filioli adhuc modicum vobiscum sum quaeretis me et sicut dixi Iudaeis quo ego vado vos non potestis venire et vobis dico modo
“Baana bange, akaseera katono ke nkyali nammwe. Mulinnoonya era nga bwe nagamba Abayudaaya nti, ‘Gye ŋŋenda mmwe temuyinza kujjayo,’ era nammwe bwe mbagamba kaakano.
34 mandatum novum do vobis ut diligatis invicem sicut dilexi vos ut et vos diligatis invicem
“Mbawa ekiragiro ekiggya: Mwagalanenga nga nze bwe mbaagala.
35 in hoc cognoscent omnes quia mei discipuli estis si dilectionem habueritis ad invicem
Bwe munaayagalananga abantu bonna kwe banaategeereranga nti muli bayigirizwa bange.”
36 dicit ei Simon Petrus Domine quo vadis respondit Iesus quo ego vado non potes me modo sequi sequeris autem postea
Awo Simooni Peetero n’amubuuza nti, “Mukama waffe olaga wa?” Yesu n’amuddamu nti, “Tosobola kugenda nange kaakano, wabula olingoberera oluvannyuma.”
37 dicit ei Petrus quare non possum sequi te modo animam meam pro te ponam
Peetero n’amubuuza nti, “Mukama wange, lwaki siyinza kukugoberera kaakano? Nnaawaayo obulamu bwange ku lulwo.”
38 respondit Iesus animam tuam pro me ponis amen amen dico tibi non cantabit gallus donec me ter neges
Yesu n’amuddamu nti, “Onoowaayo obulamu bwo ku lwange? Ddala ddala nkugamba nti, Enkoko eneeba tennakookolima, ononneegaana emirundi esatu.”

< Iohannem 13 >