< Job 7 >
1 militia est vita hominis super terram et sicut dies mercennarii dies eius
“Ebiseera by’omuntu ku nsi, tebyagerebwa? Ennaku ze tezaagerebwa nga ez’omupakasi?
2 sicut servus desiderat umbram et sicut mercennarius praestolatur finem operis sui
Ng’omuddu eyeegomba ekisiikirize okujja, ng’omupakasi bwe yeesunga empeera ye;
3 sic et ego habui menses vacuos et noctes laboriosas enumeravi mihi
bwe ntyo bwe nnaweebwa emyezi egy’okubonaabona, ebiro ebyokutegana bwe byangererwa.
4 si dormiero dico quando consurgam et rursum expectabo vesperam et replebor doloribus usque ad tenebras
Bwe ngalamira neebake, njogera nti, ‘Ndiyimuka ddi, ekiro kinaakoma ddi?’ Nga nzijudde okukulungutana okutuusa obudde lwe bukya.
5 induta est caro mea putredine et sordibus pulveris cutis mea aruit et contracta est
Omubiri gwange gujjudde envunyu n’ebikakampa, n’olususu lwange lukutusekutuse era lulabika bubi.
6 dies mei velocius transierunt quam a texente tela succiditur et consumpti sunt absque ulla spe
“Ennaku zange zidduka okusinga ekyuma ky’omulusi w’engoye bw’atambuza ky’alusisa engoye ze; era zikoma awatali ssuubi.
7 memento quia ventus est vita mea et non revertetur oculus meus ut videat bona
Ojjukira Ayi Katonda, nti obulamu bwange tebuliimu, wabula mukka bukka, amaaso gange tegaliddayo kulaba bulungi.
8 nec aspiciet me visus hominis oculi tui in me et non subsistam
Eriiso ly’oyo eryali lindabyeko teririddayo kundaba; amaaso gammwe galinnoonya, naye nga sikyaliwo.
9 sicut consumitur nubes et pertransit sic qui descenderit ad inferos non ascendet (Sheol )
Nga ekire bwe kibulawo ne kigenda, bw’atyo n’aziikwa mu ntaana talivaayo. (Sheol )
10 nec revertetur ultra in domum suam neque cognoscet eum amplius locus eius
Taliddayo mu nnyumba ye, amaka ge tegaliddayo kumumanya nate.
11 quapropter et ego non parcam ori meo loquar in tribulatione spiritus mei confabulabor cum amaritudine animae meae
Noolwekyo sijja kuziyiza kamwa kange, nzija kwogera okulumwa kw’omutima gwange; nzija kwemulugunyiza mu bulumi bw’emmeeme yange.
12 numquid mare sum ego aut cetus quia circumdedisti me carcere
Ndi nnyanja oba ndi lukwata ow’omu buziba, olyoke onkuume?
13 si dixero consolabitur me lectulus meus et relevabor loquens mecum in strato meo
Bwe ndowooza nti, obuliri bwange bunampa ku mirembe, ekiriri kyange kinakendeeza ku kulumwa kwange;
14 terrebis me per somnia et per visiones horrore concuties
n’olyoka ontiisa n’ebirooto era n’onkanga okuyita mu kwolesebwa.
15 quam ob rem elegit suspendium anima mea et mortem ossa mea
Emmeeme yange ne yeegomba okwetuga, nfe okusinga okuba omulamu.
16 desperavi nequaquam ultra iam vivam parce mihi nihil enim sunt dies mei
Sikyeyagala, neetamiddwa. Sijja kubeera mulamu emirembe gyonna. Ndeka; kubanga ennaku zange butaliimu.
17 quid est homo quia magnificas eum aut quia ponis erga eum cor tuum
Omuntu kye ki ggwe okumugulumiza, n’omulowoozaako?
18 visitas eum diluculo et subito probas illum
Bw’otyo n’omwekebejja buli makya, n’omugezesa buli kaseera?
19 usquequo non parces mihi nec dimittis me ut gluttiam salivam meam
Olituusa ddi nga tonvuddeeko n’ondeka ne mmira ku malusu?
20 peccavi quid faciam tibi o custos hominum quare posuisti me contrarium tibi et factus sum mihimet ipsi gravis
Nyonoonye; kiki kye nakukola, ggwe omukuumi w’abantu? Lwaki onfudde nga akabonero ak’obulabe gy’oli, ne neefuukira omugugu?
21 cur non tolles peccatum meum et quare non auferes iniquitatem meam ecce nunc in pulvere dormiam et si mane me quaesieris non subsistam
Era lwaki tosonyiwa kwonoona kwange, n’oggyawo obutali butuukirivu bwange? Kubanga kaakano nzija kwebaka mu ntaana; era ojja kunnoonya ku makya naye naaba sikyaliwo.”