< Job 12 >
1 respondens autem Iob dixit
Awo Yobu n’amuddamu nti,
2 ergo vos estis soli homines et vobiscum morietur sapientia
“Awatali kubuusabuusa muli bantu. Bwe mulifa n’amagezi gammwe ne gafa.
3 et mihi est cor sicut et vobis nec inferior vestri sum quis enim haec quae nostis ignorat
Naye nange nnina amagezi ntegeera, temunsinga. Ani atabimanyi ebyo byonna?
4 qui deridetur ab amico suo sicut ego invocabit Deum et exaudiet eum deridetur enim iusti simplicitas
Nfuuse ekisekererwa eri mikwano gyange. Nze eyakoowolanga Katonda n’anziramu, ne nsekererwa obusekererwa, ate nga ndi mutukuvu ataliiko musango!
5 lampas contempta apud cogitationes divitum parata ad tempus statutum
Abantu abali mu ddembe lyabwe batera okusekerera abali mu mitawaana, ng’ebizibu bwe biba ku abo ababa batuuse awazibu.
6 abundant tabernacula praedonum et audacter provocant Deum cum ipse dederit omnia in manibus eorum
Weema z’abanyazi tezibaako mutawaana, era abo abanyiiza Katonda babeera mu ddembe abo abeetikka katonda waabwe mu mikono gyabwe.
7 nimirum interroga iumenta et docebunt te et volatilia caeli et indicabunt tibi
Naye buuza ensolo zijja kukuyigiriza, oba ebinyonyi eby’omu bbanga binaakubuulira.
8 loquere terrae et respondebit tibi et narrabunt pisces maris
Oba yogera n’ettaka linaakusomesa oba ebyennyanja eby’omu nnyanja binaakunnyonnyola.
9 quis ignorat quod omnia haec manus Domini fecerit
Biki ku bino ebitamanyi nti, omukono gwa Mukama gwe gukoze ebyo?
10 in cuius manu anima omnis viventis et spiritus universae carnis hominis
Buli bulamu bwa kitonde buli mu mukono gwe, na buli mukka ogussibwa abantu bonna.
11 nonne auris verba diiudicat et fauces comedentis saporem
Okutu tekugezesa bigambo ng’olulimi bwe lukomba ku mmere?
12 in antiquis est sapientia et in multo tempore prudentia
Amagezi tegasangibwa mu bakaddiye? Okuwangaala tekuleeta kutegeera?
13 apud ipsum est sapientia et fortitudo ipse habet consilium et intellegentiam
Katonda y’alina amagezi n’amaanyi; y’ateesa ebigambo era y’alina okutegeera.
14 si destruxerit nemo est qui aedificet et si incluserit hominem nullus est qui aperiat
Ky’amenya teri ayinza kuddamu kukizimba; ky’asiba mu kkomera tekiyinza kuteebwa.
15 si continuerit aquas omnia siccabuntur et si emiserit eas subvertent terram
Bw’aziyiza amazzi, ekyeeya kijja, bw’agata gazikiriza ensi.
16 apud ipsum est fortitudo et sapientia ipse novit et decipientem et eum qui decipitur
Ye, ye nannyini maanyi n’obuwanguzi, abalimba n’abalimbibwa bonna babe.
17 adducit consiliarios in stultum finem et iudices in stuporem
Aggyawo abawi b’amagezi nga tebalina kantu, abalamuzi n’abafuula abasirusiru.
18 balteum regum dissolvit et praecingit fune renes eorum
Bakabaka abaggyako enjegere ze beesiba ebiwato byabwe, n’abasibamu obukete.
19 ducit sacerdotes inglorios et optimates subplantat
Bakabona abatwala nga tebalina kantu, n’asuula abasajja abaanywera.
20 commutans labium veracium et doctrinam senum auferens
Aziba emimwa egy’abawi b’amagezi abeesigwa, era n’aggyawo okwolesebwa kw’abakadde.
21 effundit despectionem super principes et eos qui oppressi fuerant relevans
Ayiwa ekivume ku bakungu, era n’aggya ebyokulwanyisa ku b’amaanyi.
22 qui revelat profunda de tenebris et producit in lucem umbram mortis
Abikkula ebintu eby’ebuziba eby’ekizikiza, n’aleeta n’ebisiikirize eby’amaanyi mu kitangaala.
23 qui multiplicat gentes et perdet eas et subversas in integrum restituet
Afuula amawanga okuba ag’amaanyi, era n’agazikiriza; agaziya amawanga n’agasaasaanya.
24 qui inmutat cor principum populi terrae et decipit eos ut frustra incedant per invium
Abakulembeze baamawanga abaggyako okukola ebisaanidde; n’abasindika nga bagwirana mu ddungu eritaliimu kkubo.
25 palpabunt quasi in tenebris et non in luce et errare eos faciet quasi ebrios
Bawammantira mu kizikiza awatali kitangaala; abaleetera okutagala ng’abatamiivu.”