< Jeremiæ 9 >

1 quis dabit capiti meo aquam et oculis meis fontem lacrimarum et plorabo die et nocte interfectos filiae populi mei
Woowe, singa omutwe gwange gubadde mugga n’amaaso gange luzzi lwa maziga, nnandikaabye emisana n’ekiro olw’abantu bange be batta!
2 quis dabit me in solitudine diversorium viatorum et derelinquam populum meum et recedam ab eis quia omnes adulteri sunt coetus praevaricatorum
Woowe singa mbadde n’ekisulo ky’abatambuze mu ddungu, nnandivudde ku bantu bange ne mbaleka kubanga bonna benzi, bibiina by’abasajja ab’enkwe.
3 et extenderunt linguam suam quasi arcum mendacii et non veritatis confortati sunt in terra quia de malo ad malum egressi sunt et me non cognoverunt dicit Dominus
“Bategeka olulimi lwabwe ng’omutego ogunasula obulimba; bakulaakulanye mu ggwanga naye nga tebayimiridde ku mazima, kubanga bakola ekibi kino ate ne bongera ekirala; era tebammanyi,” bw’ayogera Mukama.
4 unusquisque se a proximo suo custodiat et in omni fratre suo non habeat fiduciam quia omnis frater subplantans subplantabit et omnis amicus fraudulenter incedet
“Mwegendereze mikwano gyammwe era temwesiganga baganda bammwe: kubanga buli wa luganda mulimba na buli wamukwano agenda awaayiriza buwaayiriza.
5 et vir fratrem suum deridebit et veritatem non loquentur docuerunt enim linguam suam loqui mendacium ut inique agerent laboraverunt
Buli muntu alimba muliraanwa we era tewali n’omu ayogera mazima. Bayigirizza ennimi zaabwe okulimba ne beemalamu amaanyi nga bakola ebitali bya butuukirivu.
6 habitatio tua in medio doli in dolo rennuerunt scire me dicit Dominus
Mubeera wakati mu bulimba; mu bulimba bwabwe bagaana okummanya,” bw’ayogera Mukama Katonda.
7 propterea haec dicit Dominus exercituum ecce ego conflabo et probabo eos quid enim aliud faciam a facie filiae populi mei
Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti, “Laba, ndibalongoosa ne mbagezesa, kiki ate kye nnaakolera abantu bange kubanga boonoonye?
8 sagitta vulnerans lingua eorum dolum locuta est in ore suo pacem cum amico suo loquitur et occulte ponit ei insidias
Olulimi lwabwe kasaale akatta, lwogera bya bulimba, buli muntu ayogeza mirembe n’akamwa ke, naye mu mutima gwe ategeka kumutega.
9 numquid super his non visitabo dicit Dominus aut in gentem huiuscemodi non ulciscetur anima mea
Nneme okubabonereza olw’ebintu bino?” bw’ayogera Mukama. “Seesasuze ku ggwanga eriri nga lino?”
10 super montes adsumam fletum ac lamentum et super speciosa deserti planctum quoniam incensa sunt eo quod non sit vir pertransiens et non audierunt vocem possidentis a volucre caeli usque ad pecora transmigraverunt et recesserunt
Ndikaaba ne nkungubagira ensozi era ne nkungubagira amalundiro ag’omu ddungu. Galekeddwa awo era tegayitwamu, n’okukaaba kw’ente tekuwulirwa. Ebinyonyi eby’omu bbanga tebikyawulirwa n’ensolo ez’omu nsiko zidduse.
11 et dabo Hierusalem in acervos harenae et cubilia draconum et civitates Iuda dabo in desolationem eo quod non sit habitator
“Ndifuula Yerusaalemi entuumu y’ebifunfugu, ekisulo ky’ebibe. Era ndyonoona ebibuga bya Yuda waleme kubaawo muntu yenna abeeramu.”
12 quis est vir sapiens qui intellegat hoc et ad quem verbum oris Domini fiat ut adnuntiet istud quare perierit terra exusta sit quasi desertum eo quod non sit qui pertranseat
Mugezigezi ki anaayinza okutegeera kino? Ani oyo Mukama gw’abuulidde alyoke akinnyonnyole? Lwaki ensi eyonoonese ng’eddungu ne wataba agiyitamu?
13 et dixit Dominus quia dereliquerunt legem meam quam dedi eis et non audierunt vocem meam et non ambulaverunt in ea
Mukama n’agamba nti, “Kubanga balese amateeka gange, ge nabateekerawo. Tebaŋŋondedde wadde okugoberera amateeka gange.
14 et abierunt post pravitatem cordis sui et post Baalim quos didicerunt a patribus suis
Naye, bagoberedde obukakanyavu bw’emitima gyabwe ne basinza ebifaananyi bya Babaali nga bajjajjaabwe bwe baabayigiriza.”
15 idcirco haec dicit Dominus exercituum Deus Israhel ecce ego cibabo eos populum istum absinthio et potum dabo eis aquam fellis
Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, “Laba ndiriisa abantu bano emmere ekaawa ne mbanyweesa n’amazzi ag’obutwa.
16 et dispergam eos in gentibus quas non noverunt ipsi et patres eorum et mittam post eos gladium donec consumantur
Ndibasaasaanya mu mawanga bakitaabwe ge bataamanya; era ndibasindiikiriza n’ekitala, okutuusa nga mbazikirizza.”
17 haec dicit Dominus exercituum contemplamini et vocate lamentatrices et veniant et ad eas quae sapientes sunt mittite et properent
Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti, “Mulowooze kaakano, muyite abakazi abakungubazi, bajje; era mutumye abasingayo obumanyirivu.
18 festinent et adsumant super nos lamentum deducant oculi nostri lacrimas et palpebrae nostrae defluant aquis
Leka bajje mangu batukaabireko okutuusa amaaso gaffe lwe ganaakulukuta amaziga, n’obukoowekoowe bwaffe ne butiiriika amazzi.
19 quia vox lamentationis audita est de Sion quomodo vastati sumus et confusi vehementer quia dereliquimus terram quoniam deiecta sunt tabernacula nostra
Kubanga amaloboozi ag’okukungubaga gawuliddwa mu Sayuuni; ‘Nga tunyagiddwa! Nga tuswadde nnyo! Tuteekwa okuva mu nsi yaffe kubanga amayumba gaffe gazikiriziddwa.’”
20 audite ergo mulieres verbum Domini et adsumat auris vestra sermonem oris eius et docete filias vestras lamentum et unaquaeque proximam suam planctum
Kaakano mmwe abakazi, muwulirize ekigambo kya Katonda, era mutege okutu kwammwe kuwulire ekigambo ky’akamwa ke. Muyigirize bawala bammwe okukaaba, era buli muntu ayigirize munne okukungubaga.
21 quia ascendit mors per fenestras nostras ingressa est domos nostras disperdere parvulos de foris iuvenes de plateis
Kubanga okufa kutuyingiridde mu madirisa, kuyingidde mu mbiri zaffe, okugoba abaana okubaggya ku nguudo, n’abavubuka okubaggya mu bifo ebisanyukirwamu.
22 loquere haec dicit Dominus et cadet morticinum hominis quasi stercus super faciem regionis et quasi faenum post tergum metentis et non est qui colligat
“Yogera,” bw’atyo bw’ayogera Mukama nti, “‘Emirambo gy’abasajja abafudde gijja kugwa ng’obusa ku ttale ng’ebinywa by’eŋŋaano ensale bwe bigwa emabega w’omukunguzi nga tebiriiko alonda.’”
23 haec dicit Dominus non glorietur sapiens in sapientia sua et non glorietur fortis in fortitudine sua et non glorietur dives in divitiis suis
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Omusajja omugezi aleme kwenyumiririza mu magezi ge, oba omusajja ow’amaanyi okwenyumiririza mu maanyi ge oba omugagga mu bugagga bwe.
24 sed in hoc glorietur qui gloriatur scire et nosse me quia ego sum Dominus qui facio misericordiam et iudicium et iustitiam in terra haec enim placent mihi ait Dominus
Naye leka oyo eyeenyumiriza yeenyumirizenga mu kino: nti antegeera era ammanyi, nti nze Mukama akola ebyekisa n’eby’ensonga n’eby’obutuukirivu mu nsi, kubanga mu byo mwe nsanyukira,” bw’ayogera Mukama.
25 ecce dies veniunt dicit Dominus et visitabo super omnem qui circumcisum habet praeputium
“Ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama, “lwe ndibonereza abo bonna abakomole obukomozi mu mubiri:
26 super Aegyptum et super Iudam et super Edom et super filios Ammon et super Moab et super omnes qui adtonsi sunt in comam habitantes in deserto quia omnes gentes habent praeputium omnis autem domus Israhel incircumcisi sunt corde
Misiri, ne Yuda, ne Edomu, n’abaana ba Amoni, ne Mowaabu, era n’abo bonna ababeera mu ddungu mu bifo eby’ewala. Kubanga amawanga gano gonna ddala si makomole, ate era n’ennyumba ya Isirayiri yonna si nkomole mu mutima.”

< Jeremiæ 9 >