< Jeremiæ 4 >
1 si converteris Israhel ait Dominus ad me convertere si abstuleris offendicula tua a facie mea non commoveberis
“Bw’oba odda, ggwe Isirayiri,” bw’ayogera Mukama, “eri nze gy’olina okudda. Bw’oneggyako eby’omuzizo byonna n’otosagaasagana,
2 et iurabis vivit Dominus in veritate et in iudicio et in iustitia et benedicent eum gentes ipsumque laudabunt
era singa olayira mu mazima, mu bwenkanya era mu ngeri entuufu yennyini nti, ‘Ddala nga Mukama bw’ali omulamu,’ olwo amawanga gonna mu ye mwe gajja okuweerwa omukisa era mu ye mwe ganeenyumiririzanga.”
3 haec enim dicit Dominus viro Iuda et Hierusalem novate vobis novale et nolite serere super spinas
Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama eri abantu ba Yuda era n’eri abantu b’omu Yerusaalemi nti, “Mulime ennimiro zammwe ezitali nnime, temusiga mu maggwa.
4 circumcidimini Domino et auferte praeputia cordium vestrorum vir Iuda et habitatores Hierusalem ne forte egrediatur ut ignis indignatio mea et succendatur et non sit qui extinguat propter malitiam cogitationum vestrarum
Mukoowoole Mukama, mweweeyo mutukuze emitima gyammwe mwe abantu ba Yuda ne Yerusaalemi, obusungu bwange buleme okubuubuuka ng’omuliro, olw’ebikolwa byammwe ebibi, ne wataba ayinza kubuzikiza.”
5 adnuntiate in Iuda et in Hierusalem auditum facite loquimini et canite tuba in terra clamate fortiter dicite congregamini et ingrediamur civitates munitas
“Kirangirire mu Yuda era okitegeeze mu Yerusaalemi ogambe nti, ‘Mufuuwe ekkondeere mu nsi yonna! Mulangirire nga mugamba nti, Mukuŋŋaane, tuddukire mu bibuga ebiriko ebigo!’
6 levate signum in Sion confortamini nolite stare quia malum ego adduco ab aquilone et contritionem magnam
Weereza obubaka eri Sayuuni nti, Mudduke temulwa, kubanga ndireeta okuzikiriza okuva mu bukiikakkono, okuzikiriza okw’amaanyi.”
7 ascendit leo de cubili suo et praedo gentium se levavit egressus est de loco suo ut ponat terram tuam in desolationem civitates tuae vastabuntur remanentes absque habitatore
Empologoma evudde mu kisaka kyayo, omuzikiriza w’amawanga afulumye gy’abeera, azze okumalawo ensi yo. Ebibuga byammwe bijja kuzikirizibwa bibuleko abibeeramu.
8 super hoc accingite vos ciliciis plangite et ululate quia non est aversa ira furoris Domini a nobis
Noolwekyo mwambale ebibukutu mukungubage, mukube ebiwoobe kubanga obusungu bwa Mukama obw’amaanyi tebutuvuddeeko.
9 et erit in die illa dicit Dominus peribit cor regis et cor principum et obstupescent sacerdotes et prophetae consternabuntur
Mukama n’agamba nti, “Ku lunaku olwo, kabaka n’omukungu baliggwaamu omwoyo, bakabona basamaalirire ne bannabbi beewuunye.”
10 et dixi heu heu heu Domine Deus ergone decepisti populum istum et Hierusalem dicens pax erit vobis et ecce pervenit gladius usque ad animam
Ne ndyoka ŋŋamba nti, “Woowe Mukama Katonda, mazima olimbidde ddala abantu bano ne Yerusaalemi ng’ogamba nti, ‘Mulibeera n’emirembe,’ ate nga ekitala kiri ddala ku mimiro gyaffe.”
11 in tempore illo dicetur populo huic et Hierusalem ventus urens in viis quae sunt in deserto viae filiae populi mei non ad ventilandum et ad purgandum
Mu biseera ebyo abantu bano ne Yerusaalemi balibuulirwa nti, “Embuyaga ezookya eziva ku nsozi ezaakala ez’omu ddungu zifuuwa abantu bange nga teziwujja buwuzzi wadde okulongoosa obulongoosa
12 spiritus plenus ex his veniet mihi et nunc ego sed loquar iudicia mea cum eis
embuyaga ezisingako awo ze ziriva gye ndi. Era kaakano mbasalira emisango.”
13 ecce quasi nubes ascendet et quasi tempestas currus eius velociores aquilis equi illius vae nobis quoniam vastati sumus
Laba ajja ng’ebire, amagaali ge ng’empewo y’akazimu, embalaasi ze zidduka okusinga empungu; zitusanze ffe kubanga tuzikiridde!
14 lava a malitia cor tuum Hierusalem ut salva fias usquequo morabuntur in te cogitationes noxiae
Ayi Yerusaalemi, naaza omutima gwo guve mu kukola ebibi olyoke olokolebwe. Olikomya ddi ebirowoozo ebibi?
15 vox enim adnuntiantis a Dan et notum facientis idolum de monte Ephraim
Eddoboozi lyawulirwa okuva mu Ddaani, nga lirangirira okuzikirizibwa okuva mu nsozi za Efulayimu.
16 concitate gentes ecce auditum est in Hierusalem custodes venire de terra longinqua et dare super civitates Iuda vocem suam
“Labula amawanga nti ajja: kirangirirwe mu Yerusaalemi nti, ‘Abalabe bajja okuva mu nsi ey’ewala nga bayimba ennyimba ez’entalo nga balumba ebibuga bya Yuda.
17 quasi custodes agrorum facti sunt super eam in gyro quia me ad iracundiam provocavit ait Dominus
Bakyetoolodde ng’abasajja abakuuma ennimiro kubanga Yuda yanjeemera,’” bw’ayogera Mukama.
18 viae tuae et cogitationes tuae fecerunt haec tibi ista malitia tua quia amara quia tetigit cor tuum
“Empisa zammwe, n’ebikolwa byammwe bye bibaleeseeko bino. Kino kye kibonerezo kyammwe. Nga kya bulumi! Nga kifumita omutima.”
19 ventrem meum ventrem meum doleo sensus cordis mei turbati sunt in me non tacebo quoniam vocem bucinae audivit anima mea clamorem proelii
Obulumi, Ayi Obulumi! Neenyoolera mu bulumi! Ayi obulumi bw’omutima gwange! Omutima gunkubagana munda, sisobola kusirika, kubanga mpulidde eddoboozi ly’ekkondeere, mpulidde enduulu z’olutalo.
20 contritio super contritionem vocata est et vastata est omnis terra repente vastata sunt tabernacula mea subito pelles meae
Okuzikirizibwa kweyongeddeko era ensi yonna eyonooneddwa. Eweema zange zisaanyiziddwawo mu kaseera buseera, n’entimbe zange nga kutemya kikowe.
21 usquequo videbo fugientem audiam vocem bucinae
Ndituusa ddi nga ndaba bbendera z’olutalo n’okuwulira amaloboozi g’amakondeere?
22 quia stultus populus meus me non cognovit filii insipientes sunt et vecordes sapientes sunt ut faciant mala bene autem facere nescierunt
“Kubanga abantu bange basirusiru, tebammanyi. Baana abatalina magezi; abatategeera. Bakagezimunnyu mu kukola ebibi, tebamanyi kukola birungi.”
23 aspexi terram et ecce vacua erat et nihili et caelos et non erat lux in eis
Natunuulira ensi, nga njereere, ate ne ntunula ne ku ggulu, ng’ekitangaala kigenze.
24 vidi montes et ecce movebantur et omnes colles conturbati sunt
Natunuulira agasozi nga gajugumira, n’ensozi zonna zaali ziyuuguuma.
25 intuitus sum et non erat homo et omne volatile caeli recessit
Natunula, era laba, waali tewasigadde muntu n’omu, era n’ebinyonyi byonna eby’omu bbanga byali bidduse.
26 aspexi et ecce Carmelus desertus et omnes urbes eius destructae sunt a facie Domini et a facie irae furoris eius
Natunula, era laba, ensi ey’ebibala ebingi ng’efuuse ddungu, era n’ebibuga byayo byonna nga byonoonese, mu maaso ga Mukama, olw’obusungu bwe obungi.
27 haec enim dicit Dominus deserta erit omnis terra sed tamen consummationem non faciam
Kubanga bw’atyo bw’ayogera Mukama nti, “Ensi yonna eriyonoonebwa, wadde nga sirigizikiririza ddala.
28 lugebit terra et maerebunt caeli desuper eo quod locutus sum cogitavi et non paenituit me nec aversus sum ab eo
Noolwekyo ensi erikungubaga era n’eggulu waggulu lirikwata ekizikiza, kubanga njogedde era maliridde sijja kwejjusa wadde okukyusaamu.”
29 a voce equitis et mittentis sagittam fugit omnis civitas ingressi sunt ardua et ascenderunt rupes universae urbes derelictae sunt et non habitat in eis homo
Olw’okuyoogona kw’abeebagazi b’embalaasi n’abalasa obusaale, ebibuga byonna biribuna emiwabo, abamu beesogge ebisaka; n’abalala balinnye waggulu ku njazi. Ebibuga byonna birekeddwa ttayo; tewali abibeeramu.
30 tu autem vastata quid facies cum vestieris te coccino cum ornata fueris monili aureo et pinxeris stibio oculos tuos frustra conponeris contempserunt te amatores tui animam tuam quaerent
Okola ki ggwe, ggwe eyayonoonebwa? Lwaki oyambala engoye entwakaavu, ne weeteekako eby’obugagga ebya zaabu, n’amaaso n’ogasiiga langi? Omala biseera nga weeyonja. Baganzi bo bakunyoomoola; era baagala kukutta.
31 vocem enim quasi parturientis audivi angustias ut puerperae vox filiae Sion intermorientis expandentisque manus suas vae mihi quia defecit anima mea propter interfectos
Mpulira okukaaba ng’okw’omukazi alumwa okuzaala, okusinda ng’okw’oyo asindika omwana we asooka, okukaaba kw’omuwala wa Sayuuni ng’awejjawejja anoonya w’anassiza omukka, ng’agolola emikono gye ng’agamba nti, “Zinsanze nze, nzirika. Obulamu bwange buweereddwayo mu batemu.”