< Isaiæ 65 >

1 quaesierunt me qui ante non interrogabant invenerunt qui non quaesierunt me dixi ecce ego ecce ego ad gentem quae non vocabat nomen meum
Mukama n’alyoka agamba nti, “Nze nnali mwetegefu okweyoleka eri abo abaali tebannoonya. Neeraga abo abaali tebannoonya. Eri eggwanga eryali litakoowoola linnya lyange nneyoleka gye bali ng’aŋŋamba nti, ‘Ndi wano, Ndi wano.’
2 expandi manus meas tota die ad populum incredulum qui graditur in via non bona post cogitationes suas
Nagolola emikono gyange olunaku lwonna okutuusa obudde okuziba eri abantu abeewagguzze, abatambulira mu makubo amabi abagoberera entegeka ezaabwe ku bwabwe;
3 populus qui ad iracundiam provocat me ante faciem meam semper qui immolant in hortis et sacrificant super lateres
abantu bulijjo abansomooza mu maaso gange gennyini nga bawaayo ebiweebwayo mu nnimiro ne bookera n’ebiweebwayo ku byoto eby’amatoffaali;
4 qui habitant in sepulchris et in delubris idolorum dormiunt qui comedunt carnem suillam et ius profanum in vasis eorum
abatuula mu malaalo ne bamalako ekiro kyonna mu bifo ebyekusifu, abalya ennyama y’embizzi, era n’amaseffuliya gaabwe gajjudde ennyama etali nnongoofu.
5 qui dicunt recede a me non adpropinques mihi quia inmundus es isti fumus erunt in furore meo ignis ardens tota die
Bagamba nti, ‘Beera wala, tojja kumpi nange, kubanga ndi mutuukirivu nnyo ggwe okunsaanira!’ Abantu bwe batyo mukka mu nnyindo zange, omuliro ogwaka olunaku lwonna.
6 ecce scriptum est coram me non tacebo sed reddam et retribuam in sinu eorum
“Laba kiwandiikiddwa mu maaso gange. Sijja kusirika naye nzija kusasula mu bujjuvu, nzija kubasasula bibatuukireko ddala;
7 iniquitates vestras et iniquitates patrum vestrorum simul dicit Dominus qui sacrificaverunt super montes et super colles exprobraverunt mihi et remetiar opus eorum primum in sinu eorum
olw’ebibi byammwe byonna era n’olw’ebibi bya bakitammwe,” bw’ayogera Mukama Katonda. “Kubanga baayokera ebiweebwayo byabwe ku lusozi era ne bannyoomera ku busozi, ndibalira mu mikono gyabwe empeera yennyini enzijuvu ey’ebikolwa byabwe eby’edda.”
8 haec dicit Dominus quomodo si inveniatur granum in botro et dicatur ne dissipes illud quoniam benedictio est sic faciam propter servos meos ut non disperdam totum
Bw’atyo bw’ayogera Mukama: “Ng’omubisi bwe gusangibwa mu kirimba ky’emizabbibu abantu ne bagamba nti, ‘Togwonoona, gukyalimu akalungi,’ bwe ntyo bwe ndikibakolera olw’obulungi bw’abaweereza bange. Sijja kubasaanyaawo bonna.
9 et educam de Iacob semen et de Iuda possidentem montes meos et hereditabunt eam electi mei et servi mei habitabunt ibi
Ndiggya ezzadde okuva mu Yakobo era ne mu Yuda abo abalitwala ensozi zange; abantu bange abalonde balizigabana, era eyo abaweereza bange gye balibeera.
10 et erunt campestria in caulas gregum et vallis Achor in cubile armentorum populo meo qui requisierunt me
Awo Saloni kiribeera ddundiro lya bisibo, era n’ekiwonvu kya Akoli kifo kya nte we zigalamira olw’abantu bange abannoonya.
11 et vos qui dereliquistis Dominum qui obliti estis montem sanctum meum qui ponitis Fortunae mensam et libatis super eam
“Naye mmwe abava ku Mukama ne mwerabira olusozi lwange olutukuvu ne muteekerateekera emmeeza katonda wammwe, Mukisa, ne mujuliza katonda wammwe, Kusalawo, ebikopo eby’envinnyo,
12 numerabo vos in gladio et omnes in caede corruetis pro eo quod vocavi et non respondistis locutus sum et non audistis et faciebatis malum in oculis meis et quae nolui elegistis
ndibawaayo eri ekitala era mwenna mukutaamirire musalibwe, kubanga nabayita naye temwayitaba, nayogera naye temwampuliriza. Mwakola ebitasaana era ne musalawo okukola ebitansanyusa.”
13 propter hoc haec dicit Dominus Deus ecce servi mei comedent et vos esurietis ecce servi mei bibent et vos sitietis
Noolwekyo kino Mukama Ayinzabyonna ky’agamba: “Abaweereza bange bajja kulya, naye mmwe mujja kulumwa enjala, abaweereza bange bajja kunywa, naye mmwe mulumwe ennyonta; abaweereza bange bajja kujaguza, naye mmwe mukwatibwe ensonyi.
14 ecce servi mei laetabuntur et vos confundemini ecce servi mei laudabunt prae exultatione cordis et vos clamabitis prae dolore cordis et prae contritione spiritus ululabitis
Abaweereza bange bajja kuyimba olw’essanyu erinaaba mu mitima gyabwe, naye mmwe muli ba kukaaba olw’okulumwa okunaabeera mu mitima gyammwe era mukaabe olw’okulumwa emyoyo.
15 et dimittetis nomen vestrum in iuramentum electis meis et interficiet te Dominus Deus et servos suos vocabit nomine alio
Ekikolimo kiryoke kibagwire, Nze Mukama Katonda ow’Eggye mbatte amannya gammwe geerabirwe, naye mpe amannya amaggya abo abaŋŋondera.
16 in quo qui benedictus est super terram benedicetur in Deo amen et qui iurat in terra iurabit in Deo amen quia oblivioni traditae sunt angustiae priores et quia absconditae sunt ab oculis nostris
Kiryoke kibeere nti buli muntu ananoonya okufuna omukisa anaagunoonya kuva eri Katonda Ow’amazima buli anaalayiranga mu ggwanga anaalayiranga Katonda ow’amazima. Kubanga emitawaana egyayita gya kwerabirwa gikwekebwe okuva mu maaso gange.
17 ecce enim ego creo caelos novos et terram novam et non erunt in memoria priora et non ascendent super cor
“Laba nditonda eggulu eriggya n’ensi empya. Ebintu eby’edda tebijja kujjukirwa wadde okulowoozebwako mu mutima.
18 sed gaudebitis et exultabitis usque in sempiternum in his quae ego creo quia ecce ego creo Hierusalem exultationem et populum eius gaudium
Naye musanyukire ekyo kye ntonda mujaguze emirembe n’emirembe, kubanga nditonda Yerusaalemi okuba essanyu n’abantu baamu okuba okujaguza.
19 et exultabo in Hierusalem et gaudebo in populo meo et non audietur in eo ultra vox fletus et vox clamoris
Ndijaguza olwa Yerusaalemi era nsanyukire abantu bange; amaloboozi ag’okukaaba tegaliddayo kuwulirwamu.
20 non erit ibi amplius infans dierum et senex qui non impleat dies suos quoniam puer centum annorum morietur et peccator centum annorum maledictus erit
“Teriddayo kuba mu kyo mwana muwere anaaberawo ennaku obunaku, oba omusajja omukulu ataamalengayo myaka gye; oyo alifiira ku myaka ekikumi alitwalibwa ng’omuvubuka obuvubuka. Oyo atalituusa kikumi abalibwe ng’eyakolimirwa.
21 et aedificabunt domos et habitabunt et plantabunt vineas et comedent fructum earum
Balizimba ennyumba bazisulemu, balisimba emizabbibu balye ebibala byagyo.
22 non aedificabunt et alius habitabit non plantabunt et alius comedet secundum dies enim ligni erunt dies populi mei et opera manuum eorum inveterabunt
Tebalizimba nnyumba ate omulala agisulemu, tebalisimba ate omulala abirye. Kubanga emyaka gy’emiti nga bwe giba bwe gityo bwe giribeera emyaka gy’abantu bange. Abalonde bange balirwawo nga bawoomerwa emirimu gy’emikono gyabwe.
23 electis meis non laborabunt frustra neque generabunt in conturbatione quia semen benedictorum Domini est et nepotes eorum cum eis
Tebalikolera bwereere oba okuzaala abaana ab’okugwa mu katyabaga, kubanga balibeera abantu abaweebwa Mukama Katonda omukisa, bo awamu n’ab’enda yaabwe.
24 eritque antequam clament ego exaudiam adhuc illis loquentibus ego audiam
Nga tebanakoowoola ndibaddamu, nga bakyayogera bati mbaddemu.
25 lupus et agnus pascentur simul et leo et bos comedent paleas et serpenti pulvis panis eius non nocebunt neque occident in omni monte sancto meo dicit Dominus
Omusege n’omwana gw’endiga biriire wamu, era empologoma erye omuddo ng’ennume, era ettaka libeere emmere y’omusota. Tewaliba kulumya wadde kuzikiriza ku lusozi lwange olutukuvu,” bw’ayogera Mukama Katonda.

< Isaiæ 65 >