< Isaiæ 31 >

1 vae qui descendunt in Aegyptum ad auxilium in equis sperantes et habentes fiduciam super quadrigis quia multae sunt et super equitibus quia praevalidi nimis et non sunt confisi super Sanctum Israhel et Dominum non requisierunt
Zibasanze abo abaserengeta e Misiri okuyambibwa, abeesiga embalaasi, abeesiga amagaali gaabwe amangi, abeesiga amaanyi amangi ag’abeebagala embalaasi ne batatunuulira Omutukuvu wa Isirayiri wadde okunoonya obuyambi bwa Mukama.
2 ipse autem sapiens adduxit malum et verba sua non abstulit et consurget contra domum pessimorum et contra auxilium operantium iniquitatem
Kyokka Mukama mugezi era asobola okuleeta akabi; tajjulula bigambo bye. Aligolokokera ku nnyumba y’abatali batuukirivu, ne ku abo abayamba abakozi b’ebibi.
3 Aegyptus homo et non deus et equi eorum caro et non spiritus et Dominus inclinabit manum suam et corruet auxiliator et cadet cui praestatur auxilium simulque omnes consumentur
Naye Abamisiri bantu buntu si Katonda n’embalaasi zaabwe mibiri bubiri. Katonda bw’agolola omukono gwe oyo ayamba, alyesittala, n’oyo ayambibwa aligwa era bombi balizikiririra wamu.
4 quia haec dicit Dominus ad me quomodo si rugiat leo et catulus leonis super praedam suam cum occurrerit ei multitudo pastorum a voce eorum non formidabit et a multitudine eorum non pavebit sic descendet Dominus exercituum ut proelietur super montem Sion et super collem eius
Ddala ddala bw’ati bw’ayogera Mukama gye ndi nti, “Ng’empologoma bwe wuluguma, empologoma ey’amaanyi bwe wulugumira ku muyiggo gwayo era newaakubadde ng’ekibinja ky’abasumba kiyitibwa awamu okugirumba, tetiisibwatiisibwa kuwowogana kwabwe, newaakubadde oluyoogaano lwabwe. Bw’atyo ne Mukama Katonda ow’Eggye bw’aliserengeta, okulwanira ku lusozi Sayuuni ne ku busozi bwa lwo.
5 sicut aves volantes sic proteget Dominus exercituum Hierusalem protegens et liberans transiens et salvans
Ng’ebinyonyi bwe bibuukira waggulu, bw’atyo Mukama Katonda ow’Eggye bw’alisaanikira Yerusaalemi; alikikuuma, n’akiwonya, alikiyitamu n’akirokola.”
6 convertimini sicut in profundum recesseratis filii Israhel
Mudde eri oyo gwe mwajeemera ennyo, mmwe abaana ba Isirayiri.
7 in die enim illa abiciet vir idola argenti sui et idola auri sui quae fecerunt vobis manus vestrae in peccatum
Mu biro ebyo buli omu ku mmwe alisuulira ddala wala ebitali Katonda ebya ffeeza ne zaabu, emikono gyo egitali mituukirivu gye byakola.
8 et cadet Assur in gladio non viri et gladius non hominis vorabit eum et fugiet non a facie gladii et iuvenes eius vectigales erunt
“Bwasuli kirigwa n’ekitala ekitali kya muntu; ekitala ekitali ky’abo abafa kirimusaanyaawo. Alidduka ekitala, n’abavubuka be balikozesebwa emirimu egy’amaanyi n’obuwaze.
9 et fortitudo eius a terrore transibit et pavebunt fugientes principes eius dixit Dominus cuius ignis est in Sion et caminus eius in Hierusalem
Ekigo kyabwe kirigwa olw’okutya, n’abaduumizi baabwe balitekemuka omutima olw’okulaba ebbendera ey’olutalo,” bw’ayogera Mukama nannyini muliro oguli mu Sayuuni, era nannyini kikoomi ekiri mu Yerusaalemi.

< Isaiæ 31 >