< Isaiæ 3 >

1 ecce enim Dominator Deus exercituum auferet ab Hierusalem et ab Iuda validum et fortem omne robur panis et omne robur aquae
Laba kaakano, Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye, aggya ku Yerusaalemi ne ku Yuda ekibeesiguza ne kwe banyweredde, ekibeesiguza kyonna k’ebeere mmere, ka gabe mazzi.
2 fortem et virum bellatorem iudicem et prophetam et ariolum et senem
Omusajja ow’amaanyi, n’omusajja omulwanyi omuzira, omulamuzi, ne nnabbi, n’omulaguzi, n’omukadde.
3 principem super quinquaginta et honorabilem vultu et consiliarium sapientem de architectis et prudentem eloquii mystici
Omuduumizi akulira ekibinja ky’amakumi ataano, n’omuwi w’amagezi, omulogo, omufuusa omugezigezi.
4 et dabo pueros principes eorum et effeminati dominabuntur eis
“Era ndifuula abalenzi obulenzi okuba abafuzi baabwe, n’abaana obwana balibafuga.”
5 et inruet populus vir ad virum unusquisque ad proximum suum tumultuabitur puer contra senem et ignobilis contra nobilem
Era abantu balijooga bannaabwe, buli muntu anyigirize munne, ne muliraanwa anyigirize muliraanwa we. Abato baliyisa mu bakulu amaaso n’oyo omuntu ataliiko bw’ali ajooge omuntu ow’ekitiibwa.
6 adprehendet enim vir fratrem suum domesticum patris sui vestimentum tibi est princeps esto noster ruina autem haec sub manu tua
Ekiseera kirituuka omusajja agambe muganda we nti, “Ggwe alina ku ngoye ba omukulembeze waffe, n’ebizibu bino ggwe oba obyetikka!”
7 respondebit in die illa dicens non sum medicus et in domo mea non est panis neque vestimentum nolite constituere me principem populi
Naye ku olwo lwennyini aliddamu nti, “Si nze n’aba ow’okubawonya, mu nnyumba yange temuli mmere, wadde ebyambalo. Temumpa kukulembera bantu!”
8 ruit enim Hierusalem et Iudas concidit quia lingua eorum et adinventiones eorum contra Dominum ut provocarent oculos maiestatis eius
Kubanga Yerusaalemi kizikiridde ne Yuda agudde! Kubanga ebigambo byabwe byonna n’ebikolwa biwakanya Mukama Katonda, bityoboola ekitiibwa kye.
9 agnitio vultus eorum respondit eis et peccatum suum quasi Sodomae praedicaverunt nec absconderunt vae animae eorum quoniam reddita sunt eis mala
Engeri gye batunulamu eragira ddala nga bwe balina omusango, era boolesa ekibi kyabwe nga Sodomu awatali kukweka n’akatono. Zibasanze! Kubanga bo bennyini be beereeteedde okuzikirira.
10 dicite iusto quoniam bene quoniam fructum adinventionum suarum comedet
Gamba abatuukirivu nti bo tebaabeeko mutawaana, kubanga baakuwoomerwa ebibala by’ebikolwa byabwe.
11 vae impio in malum retributio enim manuum eius fiet ei
Zisanze abakozi b’ebivve! Banaatuuka mu kuzikirira! Balisasulibwa emikono gyabwe kye gikoze.
12 populum meum exactores sui spoliaverunt et mulieres dominatae sunt eius popule meus qui beatum te dicunt ipsi te decipiunt et viam gressuum tuorum dissipant
Abantu bange banyigirizibwa abaana abato, abakazi kaakano be babafuga. Woowe! Abantu bange bakyamizibwa abakulembeze baabwe era babatabulatabula okubaggya mu kkubo ettuufu.
13 stat ad iudicandum Dominus et stat ad iudicandos populos
Mukama Katonda ali mu kifo kye mu mbuga, ayimiridde okusalira abantu be omusango.
14 Dominus ad iudicium veniet cum senibus populi sui et principibus eius vos enim depasti estis vineam meam et rapina pauperis in domo vestra
Mukama Katonda asala omusango gw’abakadde n’abakulembeze b’abantu be. “Mmwe mwayonoona ennimiro yange ey’emizabbibu. Ebyanyagibwa ku baavu biri mu nnyumba zammwe.
15 quare adteritis populum meum et facies pauperum commolitis dicit Dominus Deus exercituum
Lwaki mulinnyirira abantu bange, lwaki mutulugunya abaavu?” bw’ayogera Mukama Katonda Ayinzabyonna.
16 et dixit Dominus pro eo quod elevatae sunt filiae Sion et ambulaverunt extento collo et nutibus oculorum ibant et plaudebant ambulabant et in pedibus suis conposito gradu incedebant
Mukama Katonda agamba nti, “Abakazi b’omu Sayuuni beemanyi, era batambula balalambazza ensingo nga batunuza bukaba. Batambula basiira nga bavuza obukomo bw’oku magulu gaabwe.
17 decalvabit Dominus verticem filiarum Sion et Dominus crinem earum nudabit
Mukama kyaliva aleeta amabwa ku mitwe gy’abakazi ba Sayuuni, ne gifuuka gya biwalaata.”
18 in die illa auferet Dominus ornatum calciamentorum et lunulas
Olunaku lujja Mukama lwaliggya ku bakazi b’omu Yerusaalemi ebintu byonna ebibaleetera amalala, ebikomo by’oku magulu, ebitambaala ebibikka ku mitwe, n’obukuufiira,
19 et torques et monilia et armillas et mitras
ebyokumatu, ebyambalwa mu bulago, n’obutimba bw’omu maaso,
20 discriminalia et periscelidas et murenulas et olfactoriola et inaures
ebyokumitwe, ebyokumikono, ebyomukiwato,
21 et anulos et gemmas in fronte pendentes
empeta ez’oku ngalo n’ez’omu nnyindo,
22 et mutatoria et pallia et linteamina et acus
engoye ennungi, n’eminagiro, n’amaganduula, n’obusawo,
23 et specula et sindones et vittas et theristra
n’endabirwamu, n’engoye ez’obutimba, n’eza linena, n’ebitambaala eby’oku mitwe ebinaanikiddwa n’amayinja ag’omuwendo, n’engoye ezibabikka.
24 et erit pro suavi odore fetor et pro zona funiculus et pro crispanti crine calvitium et pro fascia pectorali cilicium
Mu kifo ky’akaloosa walibaawo kuwunya kivundu, awandibadde enkoba ennungi wabeewo biguwa, n’awaali enviiri ennongoose obulungi wabeewo kiwalaata, mu kifo ky’engoye babeere mu nziina, n’awaali obulungi waddewo obulambe.
25 pulcherrimi quoque viri tui gladio cadent et fortes tui in proelio
Abasajja bo balittibwa kitala, abalwanyi bo abazira bagwire mu lutalo.
26 et maerebunt atque lugebunt portae eius et desolata in terra sedebit
N’enzigi za Sayuuni zirikaaba ne zikungubaga era ekibuga kyennyini kiriba ng’omukazi alekeddwa obwereere ng’atudde mu ttaka.

< Isaiæ 3 >