< Hebræos 3 >
1 unde fratres sancti vocationis caelestis participes considerate apostolum et pontificem confessionis nostrae Iesum
Kale abooluganda abatukuvu, Katonda b’ayise, mulowoozenga ku Yesu, Omutume Omukulu era Kabona Asinga Obukulu, gwe twatula.
2 qui fidelis est ei qui fecit illum sicut et Moses in omni domo illius
Yali mwesigwa eri oyo eyamulonda, era nga Musa bwe yali omwesigwa mu nnyumba ya Katonda yonna.
3 amplioris enim gloriae iste prae Mose dignus habitus est quanto ampliorem honorem habet domus qui fabricavit illam
Kubanga ng’omuzimbi bw’aweebwa ekitiibwa okusinga ennyumba gy’azimbye, bw’atyo Yesu wa kitiibwa okusinga Musa.
4 omnis namque domus fabricatur ab aliquo qui autem omnia creavit Deus
Kubanga buli nnyumba wabaawo agizimba, naye Katonda ye y’azimba buli kintu.
5 et Moses quidem fidelis erat in tota domo eius tamquam famulus in testimonium eorum quae dicenda erant
Musa yali muweereza mwesigwa mu nnyumba ya Katonda yonna, eyayogera eby’obunnabbi ku bintu ebyali bigenda okwogerwa mu biro eby’omu maaso.
6 Christus vero tamquam filius in domo sua quae domus sumus nos si fiduciam et gloriam spei usque ad finem firmam retineamus
Naye ate Kristo ye Mwana omwesigwa, akulira ennyumba ya Katonda; ate ffe tuli nnyumba y’oyo bwe tunywera ne tuba bavumu ne twenyumiririza mu ssuubi lye tunywezezza.
7 quapropter sicut dicit Spiritus Sanctus hodie si vocem eius audieritis
Noolwekyo nga Mwoyo Mutukuvu bw’agamba nti, “Leero bwe munaawulira eddoboozi lye,
8 nolite obdurare corda vestra sicut in exacerbatione secundum diem temptationis in deserto
temukakanyaza mitima gyammwe, nga bali bwe baajeema, ku lunaku lwe bagezesaako Katonda mu ddungu.
9 ubi temptaverunt me patres vestri probaverunt et viderunt opera mea
Bajjajjammwe bangezesa, ne balaba bye nakola mu myaka amakumi ana.
10 quadraginta annos propter quod infensus fui generationi huic et dixi semper errant corde ipsi autem non cognoverunt vias meas
Kyennava nsunguwalira omulembe ogwo, ne njogera nti bulijjo baba bakyamu mu mitima gyabwe, era tebamanyi makubo gange.
11 sicut iuravi in ira mea si introibunt in requiem meam
Kyennava ndayira nga nsunguwadde nti, ‘Tebaliyingira mu kiwummulo kyange.’”
12 videte fratres ne forte sit in aliquo vestrum cor malum incredulitatis discedendi a Deo vivo
Mwekuume abooluganda, omutima omubi ogw’obutakkiriza gulemenga kuba mu muntu yenna ku mmwe, ne gubaggya ku Katonda omulamu.
13 sed adhortamini vosmet ipsos per singulos dies donec hodie cognominatur ut non obduretur quis ex vobis fallacia peccati
Mubuuliraganenga mwekka na mwekka bulijjo ng’ekiseera kikyaliwo, waleme okubaawo n’omu ku mmwe akakanyazibwa obulimba bw’ekibi.
14 participes enim Christi effecti sumus si tamen initium substantiae usque ad finem firmum retineamus
Olw’okubanga tussa kimu mu Kristo, tunywereze ddala obwesige bwaffe bwe twatandika nabwo, era tubunywereze ddala okutuusa ku nkomerero.
15 dum dicitur hodie si vocem eius audieritis nolite obdurare corda vestra quemadmodum in illa exacerbatione
Kyogerwako nti, “Leero bwe munaawulira eddoboozi lye temukakanyaza mitima gyammwe nga bwe mwakola bwe mwajeema.”
16 quidam enim audientes exacerbaverunt sed non universi qui profecti sunt ab Aegypto per Mosen
Be baani abaawulira, naye ne bajeema? Si abo bonna abaava mu Misiri ne Musa?
17 quibus autem infensus est quadraginta annos nonne illis qui peccaverunt quorum cadavera prostrata sunt in deserto
Era baani be yanyiigira okumala emyaka amakumi ana? Si abo abaayonoona ne bafiira mu ddungu?
18 quibus autem iuravit non introire in requiem ipsius nisi illis qui increduli fuerunt
Era baani abo Katonda be yalayirira obutayingira mu kiwummulo kye? Si abo abataagonda?
19 et videmus quia non potuerunt introire propter incredulitatem
Era tulaba nga baalemwa okuyingira olw’obutakkiriza bwabwe.