< Habacuc Propheta 3 >
1 oratio Abacuc prophetae pro ignorationibus
Okusaba kwa nnabbi Kaabakuuku, okw’Ekisigiyonosi.
2 Domine audivi auditionem tuam et timui Domine opus tuum in medio annorum vivifica illud in medio annorum notum facies cum iratus fueris misericordiae recordaberis
Ayi Mukama, mpulidde ebigambo byo; mpulidde ettutumu lyo Ayi Mukama, ne ntya. Bizze buggya mu nnaku zaffe, bimanyise mu biro bino, era mu busungu jjukira okusaasira.
3 Deus ab austro veniet et Sanctus de monte Pharan semper operuit caelos gloria eius et laudis eius plena est terra
Katonda yajja ng’ava e Temani, Omutukuvu oyo ng’ava ku lusozi Palani. Ekitiibwa kye kyatimbibwa ku ggulu, ensi n’eryoka ejjula ettendo lye.
4 splendor eius ut lux erit cornua in manibus eius ibi abscondita est fortitudo eius
Okumasamasa kwe ne kulyoka kubeera ng’enjuba evaayo. Ebimyanso byayakanga okuva mu mukono gwe, era omwo mwe mwasinziiranga amaanyi ge ag’ekitalo.
5 ante faciem eius ibit mors et egredietur diabolus ante pedes eius
Kawumpuli ye yakulembera, Endwadde endala zinaamutta ne zigoberera.
6 stetit et mensus est terram aspexit et dissolvit gentes et contriti sunt montes saeculi incurvati sunt colles mundi ab itineribus aeternitatis eius
Yayimirira n’anyeenyanyeenya ensi; Yatunula n’akankanya amawanga. Ensozi ez’edda za merenguka, obusozi obw’edda ne buggwaawo. Engeri ze, za mirembe na mirembe.
7 pro iniquitate vidi tentoria Aethiopiae turbabuntur pelles terrae Madian
Nalaba eweema z’e Kusani nga ziri mu nnaku: n’entimbe ez’ensi ya Midiyaani nga zijugumira.
8 numquid in fluminibus iratus es Domine aut in fluminibus furor tuus vel in mari indignatio tua quia ascendes super equos tuos et quadrigae tuae salvatio
Ayi Mukama, wanyiigira emigga? Obusungu bwo bwali ku bugga obutono? Wanyiigira ennyanja bwe weebagala embalaasi zo, n’olinnya ku magaali go ag’obuwanguzi?
9 suscitans suscitabis arcum tuum iuramenta tribubus quae locutus es semper fluvios scindes terrae
Wasowolayo akasaale ko, wategeka okulasa obusaale; ensi n’ogyawulayawulamu n’emigga.
10 viderunt te et doluerunt montes gurges aquarum transiit dedit abyssus vocem suam altitudo manus suas levavit
Ensozi zaakulaba, ne zeenyogootola; Amataba ne gayitawo mbiro, obuziba bw’ennyanja ne buwuluguma, ne busitula amayengo gaayo waggulu.
11 sol et luna steterunt in habitaculo suo in luce sagittarum tuarum ibunt in splendore fulgurantis hastae tuae
Enjuba n’omwezi ne biyimirira butengerera mu bifo byabyo, olw’okumyansa kw’obusaale bwo nga buwenyuka, n’olw’okumyansa kw’effumu lyo eritemagana.
12 in fremitu conculcabis terram in furore obstupefacies gentes
Watambula okuyita mu nsi ng’ojjudde ekiruyi, wasambirirasambirira amawanga mu busungu bwo.
13 egressus es in salutem populi tui in salutem cum christo tuo percussisti caput de domo impii denudasti fundamentum usque ad collum semper
Wavaayo oleetere abantu bo obulokozi, olokole gwe wafukako amafuta; Wabetenta omukulembeze w’ensi ekola ebibi, ng’omwerulira ddala okuva ku mutwe okutuuka ku bigere.
14 maledixisti sceptris eius capiti bellatorum eius venientibus ut turbo ad dispergendum me exultatio eorum sicut eius qui devorat pauperem in abscondito
Wafumita omutwe gwe n’effumu lye ye, abalwanyi be bwe baavaayo okutugoba, nga bali ng’abanaatumalawo, ffe abaali baweddemu essuubi nga twekwese.
15 viam fecisti in mari equis tuis in luto aquarum multarum
Walinnyirira ennyanja n’embalaasi zo, n’otabangula amazzi amangi.
16 audivi et conturbatus est venter meus ad vocem contremuerunt labia mea ingrediatur putredo in ossibus meis et subter me scateat ut requiescam in die tribulationis ut ascendam ad populum accinctum nostrum
Nawulira, n’omutima gwange ne gukankana n’emimwa gyange gijugumira olw’eddoboozi eryo; Obuvundu ne buyingira mu magumba gange, amagulu gange ne gakankana. Naye nnaalindirira n’obugumiikiriza olunaku olw’okulabiramu ennaku bwe lulijjira eggwanga eritulumba.
17 ficus enim non florebit et non erit germen in vineis mentietur opus olivae et arva non adferent cibum abscidetur de ovili pecus et non erit armentum in praesepibus
Wadde omutiini tegutojjera, so n’emizabbibu nga tegiriiko bibala, amakungula g’emizeeyituuni ne gabula, ennimiro ne zitabala mmere n’akamu, endiga nga ziweddemu mu kisibo, nga n’ente tezikyalimu mu biraalo,
18 ego autem in Domino gaudebo exultabo in Deo Iesu meo
kyokka ndijaguliza Mukama, ne nsanyukira mu Katonda Omulokozi wange.
19 Dominus Deus fortitudo mea et ponet pedes meos quasi cervorum et super excelsa mea deducet me victori in psalmis canentem
Mukama Katonda, ge maanyi gange; afuula ebigere byange okuba ng’eby’empeewo, era ansobozesa okutambulira mu bifo ebigulumivu.