< Genesis 18 >

1 apparuit autem ei Dominus in convalle Mambre sedenti in ostio tabernaculi sui in ipso fervore diei
Awo Mukama n’alabikira Ibulayimu mu mivule gya Mamule, mu ttuntu ng’atudde mu mulyango gwa weema ye.
2 cumque elevasset oculos apparuerunt ei tres viri stantes propter eum quos cum vidisset cucurrit in occursum eorum de ostio tabernaculi et adoravit in terra
Bwe yasitula amaaso ge n’alaba, era laba, abasajja basatu nga bayimiridde mu maaso ge. Bwe yabalaba, n’adduka okuva mu mulyango gwa weema ye, okubasisinkana n’agwa wansi,
3 et dixit Domine si inveni gratiam in oculis tuis ne transeas servum tuum
n’agamba nti, “Mukama wange obanga ndabye ekisa mu maaso go, toyita ku muddu wo.
4 sed adferam pauxillum aquae et lavate pedes vestros et requiescite sub arbore
Leka tuleete otuzzi munaabe ku bigere, muwummuleko wano wansi w’omuti,
5 ponam buccellam panis et confortate cor vestrum postea transibitis idcirco enim declinastis ad servum vestrum qui dixerunt fac ut locutus es
nga bwe ndeeta omugaati mulyeko muddemu amaanyi, mulyoke mugende, anti muzze eri muddu wammwe.” Ne bamugamba nti, “Kola nga bw’ogambye.”
6 festinavit Abraham in tabernaculum ad Sarram dixitque ei adcelera tria sata similae commisce et fac subcinericios panes
Ibulayimu n’ayanguwa okugenda eri Saala, n’amugamba nti, “Teekateeka mangu kilo kkumi na mukaaga ez’obutta okande ofumbire mangu abagenyi emmere.”
7 ipse vero ad armentum cucurrit et tulit inde vitulum tenerrimum et optimum deditque puero qui festinavit et coxit illum
Ibulayimu n’agenda bunnambiro mu kisibo n’aggyamu ennyana, ento era ennungi n’agiwa omu ku bavubuka eyayanguwa okugifumba.
8 tulit quoque butyrum et lac et vitulum quem coxerat et posuit coram eis ipse vero stabat iuxta eos sub arbore
Awo n’addira omuzigo n’amata n’ennyana eyafumbibwa n’abiteeka mu maaso gaabwe; n’ayimirira we baali, wansi w’omuti nga balya.
9 cumque comedissent dixerunt ad eum ubi est Sarra uxor tua ille respondit ecce in tabernaculo est
Ne bamubuuza nti, “Saala mukyala wo ali ludda wa?” N’addamu nti, “Ali mu weema.”
10 cui dixit revertens veniam ad te tempore isto vita comite et habebit filium Sarra uxor tua quo audito Sarra risit post ostium tabernaculi
Awo omu ku bo n’amugamba nti, “Ddala ndikomawo gy’oli mu kiseera nga kino, era Saala mukazi wo alizaala omwana owoobulenzi.” Ne Saala yali awuliriza ng’ali mu mulyango gwa weema emabega we.
11 erant autem ambo senes provectaeque aetatis et desierant Sarrae fieri muliebria
Mu kiseera kino Ibulayimu ne Saala baali bakaddiye nnyo nga Saala takyali na mu nsonga z’abakazi.
12 quae risit occulte dicens postquam consenui et dominus meus vetulus est voluptati operam dabo
Awo Saala n’asekera muli ng’agamba nti, “Nga nkaddiye, nga ne baze akaddiye, ndisanyusibwa?”
13 dixit autem Dominus ad Abraham quare risit Sarra dicens num vere paritura sum anus
Mukama n’abuuza Ibulayimu nti, “Lwaki Saala asese ng’agamba nti, ‘Ndiyinza okuzaala omwana nga nkaddiye?’
14 numquid Deo est quicquam difficile iuxta condictum revertar ad te hoc eodem tempore vita comite et habebit Sarra filium
Waliwo ekirema Mukama? Omwaka ogujja, mu kiseera kyennyini, ndikomawo gy’oli, ne Saala alizaala omwana owoobulenzi.”
15 negavit Sarra dicens non risi timore perterrita Dominus autem non est inquit ita sed risisti
Naye Saala ne yeegaana ng’agamba nti, “Si sese,” kubanga yali atidde. N’amuddamu nti, “Nedda osese.”
16 cum ergo surrexissent inde viri direxerunt oculos suos contra Sodomam et Abraham simul gradiebatur deducens eos
Awo abasajja bwe bavaayo ne bagenda, ne boolekera oluuyi lwa Sodomu; Ibulayimu n’abawerekerako.
17 dixitque Dominus num celare potero Abraham quae gesturus sum
Mukama n’agamba mu mutima gwe nti, “Ibulayimu namukweka kye ŋŋenda okukola?
18 cum futurus sit in gentem magnam ac robustissimam et benedicendae sint in illo omnes nationes terrae
Ibulayimu agenda kufuuka eggwanga eddene, ery’amaanyi, era mu ye, amawanga gonna mwe galiweerwa omukisa.
19 scio enim quod praecepturus sit filiis suis et domui suae post se ut custodiant viam Domini et faciant iustitiam et iudicium ut adducat Dominus propter Abraham omnia quae locutus est ad eum
Mmulonze alagire abaana be n’abantu be abaliddawo okukwatanga ekkubo lya Mukama nga bakola eby’obutuukirivu era nga ba mazima, Mukama alyoke atuukirize ekyo kye yasuubiza Ibulayimu.”
20 dixit itaque Dominus clamor Sodomorum et Gomorrae multiplicatus est et peccatum earum adgravatum est nimis
Awo Mukama n’agamba nti, “Olw’okunkaabirira okusukkiridde olw’ebibi bya Sodomu ne Ggomola ebingi ennyo,
21 descendam et videbo utrum clamorem qui venit ad me opere conpleverint an non est ita ut sciam
nzija kukka ndabe obanga ddala bakozi ba bibi ng’okunkaabirira olw’ebibi byabwe okutuuse gye ndi bwe kuli, era obanga si bwe kiri nnaamanya.”
22 converteruntque se inde et abierunt Sodomam Abraham vero adhuc stabat coram Domino
Awo abasajja ne bakyuka okuva awo, ne batambula okwolekera Sodomu; naye Ibulayimu n’asigala ng’akyayimiridde mu maaso ga Mukama.
23 et adpropinquans ait numquid perdes iustum cum impio
Awo Ibulayimu n’amusemberera n’agamba nti, “Ddala olizikiriza abatuukirivu awamu n’ababi?
24 si fuerint quinquaginta iusti in civitate peribunt simul et non parces loco illi propter quinquaginta iustos si fuerint in eo
Singa mu kibuga mulimu abatuukirivu amakumi ataano onookizikiriza n’otokisonyiwa olw’abatuukirivu amakumi ataano abakirimu?
25 absit a te ut rem hanc facias et occidas iustum cum impio fiatque iustus sicut impius non est hoc tuum qui iudicas omnem terram nequaquam facies iudicium
Kireme okuba gy’oli okukola ekintu bwe kityo, okutta abatuukirivu awamu n’ababi, abatuukirivu ne benkana n’ababi! Kireme kuba bwe kityo! Omulamuzi ow’ensi yonna teyandisaanye akole kituufu?”
26 dixitque Dominus ad eum si invenero Sodomis quinquaginta iustos in medio civitatis dimittam omni loco propter eos
Mukama n’agamba nti, “Bwe nnaasanga mu Sodomu abatuukirivu amakumi ataano mu kibuga omwo nzija kusonyiwa ekibuga kyonna ku lwabwe.”
27 respondens Abraham ait quia semel coepi loquar ad Dominum meum cum sim pulvis et cinis
Ibulayimu n’addamu nti, “Laba nnyinziza okwogera ne Mukama, nze ani, nze enfuufu n’evvu!
28 quid si minus quinquaginta iustis quinque fuerint delebis propter quinque universam urbem et ait non delebo si invenero ibi quadraginta quinque
Singa abatuukirivu babulako bataano okuwera amakumi ataano, onoozikiriza ekibuga kubanga kubulako bataano?” N’amuddamu nti, “Sijja kukizikiriza, bwe nnaasangamu abatuukirivu amakumi ana mu abataano abampulira.”
29 rursumque locutus est ad eum sin autem quadraginta inventi fuerint quid facies ait non percutiam propter quadraginta
Ate Ibulayimu n’amugamba nti, “Singa musangibwamu amakumi ana.” N’amuddamu nti, “Ku lw’amakumi ana sijja kukizikiriza.”
30 ne quaeso inquit indigneris Domine si loquar quid si inventi fuerint ibi triginta respondit non faciam si invenero ibi triginta
Ate n’agamba nti, “Kale nno Mukama aleme okunsunguwalira, nange nnaayogera. Singa musangibwamu amakumi asatu.” N’addamu nti, “Sijja kukizikiriza singa musangibwamu amakumi asatu.”
31 quia semel ait coepi loquar ad Dominum meum quid si inventi fuerint ibi viginti dixit non interficiam propter viginti
N’agamba nti, “Laba ŋŋumye ne njogera ne Mukama. Singa musangibwamu amakumi abiri.” N’agamba nti, “Ku lw’amakumi abiri sijja kukizikiriza.”
32 obsecro inquit ne irascaris Domine si loquar adhuc semel quid si inventi fuerint ibi decem dixit non delebo propter decem
Ate n’agamba nti, “Kale Mukama aleme okukwatibwa obusungu, nnaayongera okwogera, naye luno lwokka. Singa kkumi lye linaasangibwamu.” N’addamu nti, “Ku lw’abo ekkumi sijja kukizikiriza.”
33 abiit Dominus postquam cessavit loqui ad Abraham et ille reversus est in locum suum
Mukama bwe yamala okwogera ne Ibulayimu n’agenda, ne Ibulayimu n’addayo ewuwe.

< Genesis 18 >