< Hiezechielis Prophetæ 33 >
1 et factum est verbum Domini ad me dicens
Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira nate n’aŋŋamba nti,
2 fili hominis loquere ad filios populi tui et dices ad eos terra cum induxero super eam gladium et tulerit populus terrae virum unum de novissimis suis et constituerit eum super se speculatorem
“Omwana w’omuntu yogera eri abantu obategeeze nti, ‘Bwe ndirumba ensi n’ekitala, abantu ab’omu nsi ne baddira omu ku bo ne bamufuula omukuumi waabwe,
3 et ille viderit gladium venientem super terram et cecinerit bucina et adnuntiaverit populo
n’alaba ekitala nga kijja eri ensi, n’afuuwa ekkondeere ng’alabula abantu,
4 audiens autem quisquis ille est sonum bucinae non se observaverit veneritque gladius et tulerit eum sanguis ipsius super caput eius erit
awo omuntu yenna bw’aliwulira ekkondeere n’atalabuka ekitala bwe kirijja ne kigyawo obulamu bwe, omusaayi gwe guliba ku mutwe gwe ye.
5 sonum bucinae audivit et non se observavit sanguis eius in ipso erit si autem custodierit animam suam salvavit
Kubanga yawulira ekkondeere n’atalabuka, omusaayi gwe kyeguliva gubeera ku mutwe gwe ye. Singa yakola nga bwe yalabulwa yandiwonyezza obulamu bwe.
6 quod si speculator viderit gladium venientem et non insonuerit bucina et populus non se custodierit veneritque gladius et tulerit de eis animam ille quidem in iniquitate sua captus est sanguinem autem eius de manu speculatoris requiram
Naye omukuumi bw’alaba ekitala nga kijja n’atafuuwa kkondeere okulabula abantu, ekitala ne kijja ne kigyawo obulamu bw’omu ku bo, omuntu oyo aliggyibwawo olw’obutali butuukirivu bwe, naye omusaayi gwe ndiguvunaana omukuumi.’
7 et tu fili hominis speculatorem dedi te domui Israhel audiens ergo ex ore meo sermonem adnuntiabis eis ex me
“Omwana w’omuntu, nkufudde omukuumi ow’ennyumba ya Isirayiri, Noolwekyo wulira kye nkugamba, obalabule.
8 si me dicente ad impium impie morte morieris non fueris locutus ut se custodiat impius a via sua ipse impius in iniquitate sua morietur sanguinem autem eius de manu tua requiram
Bwe ŋŋambanga omukozi w’ebibi nti, ‘Ggwe omwonoonyi, mazima olifa,’ n’otoyogera okumulabula okuleka ekkubo lye, omwonoonyi oyo alifa olw’ebibi bye, naye omusaayi gwe ndiguvunaana gwe.
9 si autem adnuntiante te ad impium ut a viis suis convertatur non fuerit conversus a via sua ipse in iniquitate sua morietur porro tu animam tuam liberasti
Naye bw’olabulanga omwonoonyi okuleka ekkubo lye, n’ajeema, alifiira mu bibi bye, naye ggwe oliba olokodde obulamu bwo.
10 tu ergo fili hominis dic ad domum Israhel sic locuti estis dicentes iniquitates nostrae et peccata nostra super nos sunt et in ipsis nos tabescimus quomodo ergo vivere poterimus
“Omwana w’omuntu, tegeeza ennyumba ya Isirayiri nti, Mwogera nti, ‘Okusobya kwaffe n’okwonoona kwaffe kutuzitoowerera, era tuyongobera mu kwo, tuyinza tutya okuwona?’
11 dic ad eos vivo ego dicit Dominus Deus nolo mortem impii sed ut revertatur impius a via sua et vivat convertimini a viis vestris pessimis et quare moriemini domus Israhel
Bategeeze nti, ‘Nga bwe ndi omulamu, bw’ayogera Mukama Katonda, sisanyukira kufa kw’abakozi ba bibi, wabula bo okukyuka ne bava mu kkubo lyabwe ebbi ne baba balamu. Mukyuke, mukyuke okuva mu makubo gammwe amabi. Lwaki mufa, mmwe ennyumba ya Isirayiri?’
12 tu itaque fili hominis dic ad filios populi tui iustitia iusti non liberabit eum in quacumque die peccaverit et impietas impii non nocebit ei in quacumque die conversus fuerit ab impietate sua et iustus non poterit vivere in iustitia sua in quacumque die peccaverit
“Kale nno, omwana w’omuntu kyonoova otegeeza abantu bo nti, ‘Obutuukirivu obw’omutuukirivu tebulimuwonyesa bw’alijeema, era n’obutali butuukirivu bw’atalina butuukirivu tebulimuzikiriza bw’alikyuka n’abuleka. Omuntu omutuukirivu, bw’aliyonoona, taliba mulamu olw’obutuukirivu bwe obw’emabega.’
13 etiam si dixero iusto quod vita vivat et confisus in iustitia sua fecerit iniquitatem omnes iustitiae eius oblivioni tradentur et in iniquitate sua quam operatus est in ipsa morietur
Bwe ndigamba omutuukirivu nga mazima ddala aliba mulamu, naye ne yeesiga obutuukirivu bwe n’ayonoona, tewaliba ne kimu ku bikolwa eby’obutuukirivu bye yakola ebirijjukirwa, naye mu butali butuukirivu bwe bw’akoze omwo mw’alifiira.
14 sin autem dixero impio morte morieris et egerit paenitentiam a peccato suo feceritque iudicium et iustitiam
Ate bwe ndigamba omwonoonyi nti, ‘Mazima ddala olifa,’ naye n’akyuka okuleka ebibi bye, n’akola ebyalagirwa era ebituufu,
15 pignus restituerit ille impius rapinamque reddiderit in mandatis vitae ambulaverit nec fecerit quicquam iniustum vita vivet et non morietur
era bw’alisasula ebbanja lye, n’azaayo ne bye yabba, n’atambulira mu mateeka agaleeta obulamu, n’atayonoona, mazima ddala aliba mulamu, talifa.
16 omnia peccata eius quae peccavit non inputabuntur ei iudicium et iustitiam fecit vita vivet
Tewaliba ne kimu ku bibi bye yakola ebirijjukirwa eri ye; aliba akoze ebyalagirwa era ebituufu, era aliba mulamu.
17 et dixerunt filii populi tui non est aequi ponderis via Domini et ipsorum via iniusta est
“Naye ate abantu ab’ensi yo boogera nti, Ekkubo lya Mukama si lya bwenkanya, so nga ate ekkubo lyabwe lye litali lya bwenkanya.
18 cum enim recesserit iustus a iustitia sua feceritque iniquitatem morietur in eis
Omuntu omutuukirivu bw’alikyuka okuva mu butuukirivu bwe n’akola ebibi, alifa olw’ebibi bye.
19 et cum recesserit impius ab impietate sua feceritque iudicium et iustitiam vivet in eis
Ate omukozi w’ebibi bw’alikyuka okuleka obutali butuukirivu bwe n’akola ebyalagirwa era ebituufu, aliba mulamu olw’ebyo by’akoze.
20 et dicitis non est recta via Domini unumquemque iuxta vias suas iudicabo de vobis domus Israhel
Naye mmwe ennyumba ya Isirayiri ne mwogera nti, ‘Ekkubo lya Mukama si lya bwenkanya.’ Naye ndibasalira omusango buli muntu amakubo ge nga bwe gali.”
21 et factum est in duodecimo anno in duodecimo mense in quinta mensis transmigrationis nostrae venit ad me qui fugerat de Hierusalem dicens vastata est civitas
Mu mwaka ogw’ekkumi n’ebiri nga tuli mu buwaŋŋanguse, mu mwezi ogw’ekkumi ku lunaku olwokutaano, omusajja kaawonawo n’ava e Yerusaalemi n’ajja okuntegeeza nti, “Ekibuga kiwambiddwa.”
22 manus autem Domini facta fuerat ad me vespere antequam veniret qui fugerat aperuitque os meum donec veniret ad me mane et aperto ore meo non silui amplius
Naye akawungeezi nga kaawonawo tannatuuka, omukono gwa Mukama gwali gunziseeko, ng’asumuludde akamwa kange, omusajja n’alyoka atuuka enkeera. Nnali ntandise okwogera nga sikyali kasiru.
23 et factum est verbum Domini ad me dicens
Awo ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti,
24 fili hominis qui habitant in ruinosis his super humum Israhel loquentes aiunt unus erat Abraham et hereditate possedit terram nos autem multi nobis data est terra in possessionem
“Omwana w’omuntu, abatuuze ab’omu matongo ago mu nsi ya Isirayiri, boogera nti, ‘Obanga Ibulayimu yali muntu omu n’agabana ensi, naffe abangi, tuligabana.’
25 idcirco dices ad eos haec dicit Dominus Deus qui in sanguine comeditis et oculos vestros levatis ad inmunditias vestras et sanguinem funditis numquid terram hereditate possidebitis
Noolwekyo bategeeze nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’eggye nti, Bwe muba nga mulya ennyama erimu omusaayi, ne musinza bakatonda bammwe abalala, ne muyiwa omusaayi, musaanidde okugabana ensi?
26 stetistis in gladiis vestris fecistis abominationes et unusquisque uxorem proximi sui polluit et terram hereditate possidebitis
Mwesiga ekitala, ne mukola eby’ekivve, buli musajja n’ayenda ku muka muliraanwa we. Kale munaayinza mutya okugabana ensi?’
27 haec dices ad eos sic dicit Dominus Deus vivo ego quia qui in ruinosis habitant gladio cadent et qui in agro est bestiis tradetur ad devorandum qui autem in praesidiis et in speluncis sunt peste morientur
“Bagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti: Nga bwe ndi omulamu, abaasigalawo mu bifulukwa balittibwa n’ekitala, n’abo abaliba ku ttale balitaagulwataagulwa ensolo enkambwe, n’abo abaliba beekwese mu biro ebinywevu ne mu mpuku balifa kawumpuli.
28 et dabo terram in solitudinem et desertum et deficiet superba fortitudo eius et desolabuntur montes Israhel eo quod nullus sit qui per eos transeat
Era ensi ndigifuula amatongo era etaliimu mugaso, era n’amaanyi ge yeewaana nago galikoma, era n’ensozi za Isirayiri ziryabulirwa, ne wataba n’omu azitambulirako.
29 et scient quia ego Dominus cum dedero terram desolatam et desertam propter universas abominationes suas quas operati sunt
Olwo balimanya nga nze Mukama Katonda, bwe ndifuula ensi okuba amatongo era etaliimu mugaso olw’ebikolwa eby’ekivve bye bakoze.’
30 et tu fili hominis filii populi tui qui loquuntur de te iuxta muros et in ostiis domorum et dicunt unus ad alterum vir ad proximum suum loquentes venite et audiamus qui sit sermo egrediens a Domino
“Naawe ggwe omwana w’omuntu, abatuuze ab’omu ggwanga lyo abatuula ku Bbugwe ne mu nzigi ez’amayumba bagambagana nti, ‘Mujje tuwulire ekigambo ekiva eri Mukama Katonda,’
31 et veniunt ad te quasi si ingrediatur populus et sedent coram te populus meus et audiunt sermones tuos et non faciunt eos quia in canticum oris sui vertunt illos et avaritiam suam sequitur cor eorum
abantu bange nga bwe batera okukola, ne bawulira byoyogera naye ne batabikola, ne boolesa okwagala kwabwe n’emimwa gyabwe, naye ng’emitima gyabwe gigoberera amagoba gaabwe,
32 et es eis quasi carmen musicum quod suavi dulcique sono canitur et audient verba tua et non facient ea
laba gye bali oli ng’omuntu ayimba oluyimba olw’okwagala mu ddoboozi eddungi, era amanyi okukuba obulungi ennanga, kubanga bawulira ebigambo byo naye ne batabissamu nkola.
33 et cum venerit quod praedictum est ecce enim venit tunc scient quod prophetes fuerit inter eos
“Bino byonna bwe birituukirira, era bijja kutuukirira, kale balimanya nga nnabbi abadde mu bo.”