< Ephesios 5 >

1 estote ergo imitatores Dei sicut filii carissimi
Mufubenga okufaanana Katonda kubanga muli baana ba Katonda abaagalwa.
2 et ambulate in dilectione sicut et Christus dilexit nos et tradidit se ipsum pro nobis oblationem et hostiam Deo in odorem suavitatis
Mwagalanenga nga Kristo bwe yatwagala ne yeewaayo ku lwaffe n’afuuka ekiweebwayo era ssaddaaka eri Katonda, eyakawoowo akalungi.
3 fornicatio autem et omnis inmunditia aut avaritia nec nominetur in vobis sicut decet sanctos
Nga bwe muli abantu ba Katonda abatukuvu, obwenzi, n’obugwagwa bwonna, n’omululu bireme okuwulirwa mu mmwe.
4 aut turpitudo aut stultiloquium aut scurrilitas quae ad rem non pertinent sed magis gratiarum actio
Mwewale okwogera eby’ensonyi, n’eby’obusirusiru, n’okubalaata ebitasaana. Mwebazenga bwebaza Katonda.
5 hoc enim scitote intellegentes quod omnis fornicator aut inmundus aut avarus quod est idolorum servitus non habet hereditatem in regno Christi et Dei
Mukimanye era mukitegeerere ddala nga buli mwenzi, oba omugwagwa, oba eyeegomba, aba asinza bakatonda abalala, talina mugabo mu bwakabaka bwa Kristo ne Katonda.
6 nemo vos seducat inanibus verbis propter haec enim venit ira Dei in filios diffidentiae
Omuntu yenna tabalimbalimbanga n’ebigambo ebitaliimu. Katonda abonereza buli muntu yenna amujeemera.
7 nolite ergo effici participes eorum
Noolwekyo temwegattanga n’abafaanana ng’abo.
8 eratis enim aliquando tenebrae nunc autem lux in Domino ut filii lucis ambulate
Edda mwali ng’abantu ab’ekizikiza, naye kaakano muli bantu ba musana mu Mukama waffe. Noolwekyo mutambulenga ng’abaana ab’omusana,
9 fructus enim lucis est in omni bonitate et iustitia et veritate
ekitangaala kyammwe kirabisibwe. Mubale ebibala eby’omusana nga mweyisa bulungi, nga mubeera abeesimbu era ab’amazima,
10 probantes quid sit beneplacitum Deo
nga munoonya ekyo ekisanyusa Mukama waffe.
11 et nolite communicare operibus infructuosis tenebrarum magis autem et redarguite
Temwenyigiranga mu bikolwa bya kizikiza kubanga tebigasa, wabula munenyenga ababikola.
12 quae enim in occulto fiunt ab ipsis turpe est et dicere
Kubanga kya nsonyi n’okubyogerako ebyo abajeemu bye bakolera mu kyama.
13 omnia autem quae arguuntur a lumine manifestantur omne enim quod manifestatur lumen est
Byonna bwe biryatuukirizibwa mu kitangaala, birirabikira ddala nga bwe biri.
14 propter quod dicit surge qui dormis et exsurge a mortuis et inluminabit tibi Christus
Ekitangaala kirabisa buli kintu. Kyekiva kigambibwa nti, “Zuukuka ggwe eyeebase, Ozuukire mu bafu, Kristo anaakwakira.”
15 videte itaque fratres quomodo caute ambuletis non quasi insipientes sed ut sapientes
Mutunule nga mutambula n’obwegendereza, si ng’abatalina magezi wabula ng’abalina amagezi,
16 redimentes tempus quoniam dies mali sunt
nga temwonoona biseera kubanga ennaku zino mbi.
17 propterea nolite fieri inprudentes sed intellegentes quae sit voluntas Domini
Temubanga basirusiru, naye mutegeere Mukama waffe ky’ayagala.
18 et nolite inebriari vino in quo est luxuria sed implemini Spiritu
Ate temutamiiranga, kubanga mujja kweyonoona, wabula Omwoyo ajjulenga mu bulamu bwammwe.
19 loquentes vobismet ipsis in psalmis et hymnis et canticis spiritalibus cantantes et psallentes in cordibus vestris Domino
Bwe mukuŋŋananga muzimbaganenga mu Zabbuli ne mu nnyimba, ne mu nnyimba ez’Omwoyo nga muyimbira Mukama era nga mumuyimusiza amaloboozi mu mutima gwammwe.
20 gratias agentes semper pro omnibus in nomine Domini nostri Iesu Christi Deo et Patri
Bulijjo mwebazenga Katonda Kitaffe olwa byonna, mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo.
21 subiecti invicem in timore Christi
Mutyenga Kristo, nga muwuliragananga.
22 mulieres viris suis subditae sint sicut Domino
Abakazi, muwulirenga babbammwe nga bwe muwulira Mukama waffe.
23 quoniam vir caput est mulieris sicut Christus caput est ecclesiae ipse salvator corporis
Omusajja gwe mutwe gw’omukazi, nga Kristo bw’ali omutwe gw’Ekkanisa. Ekkanisa gwe mubiri gwa Kristo, era ye yennyini ye Mulokozi waagwo.
24 sed ut ecclesia subiecta est Christo ita et mulieres viris suis in omnibus
Kale ng’Ekkanisa bw’ewulira Kristo, n’abakazi bwe batyo bwe basaana okuwuliranga ba bbaabwe mu byonna.
25 viri diligite uxores sicut et Christus dilexit ecclesiam et se ipsum tradidit pro ea
Nammwe abaami mwagalenga bakyala bammwe nga Kristo bwe yayagala Ekkanisa ne yeewaayo ku lwayo.
26 ut illam sanctificaret mundans lavacro aquae in verbo
Yaginaaza n’amazzi, n’agitukuza n’ekigambo kye,
27 ut exhiberet ipse sibi gloriosam ecclesiam non habentem maculam aut rugam aut aliquid eiusmodi sed ut sit sancta et inmaculata
alyoke yeefunire Ekkanisa ey’ekitiibwa, eteriiko bbala wadde akamogo oba ekintu kyonna ekikyamu, wabula ebeere entukuvu, etuukiridde.
28 ita et viri debent diligere uxores suas ut corpora sua qui suam uxorem diligit se ipsum diligit
N’abasajja bwe batyo bwe basaana okwagalanga bakazi baabwe, nga bwe baagala emibiri gyabwe gyennyini. Ayagala mukazi we yeeyagala yekka.
29 nemo enim umquam carnem suam odio habuit sed nutrit et fovet eam sicut et Christus ecclesiam
Tewali n’omu yali akyaye omubiri gwe, wabula aguliisa era agujjanjaba nga Kristo bw’ajjanjaba Ekkanisa ye,
30 quia membra sumus corporis eius de carne eius et de ossibus eius
kubanga tuli bitundu bya mubiri gwe.
31 propter hoc relinquet homo patrem et matrem suam et adherebit uxori suae et erunt duo in carne una
“Kale omusajja kyanaavanga aleka kitaawe ne nnyina ne yeegatta ne mukazi we, ne bafuuka omuntu omu.”
32 sacramentum hoc magnum est ego autem dico in Christo et in ecclesia
Ekyama kino kikulu, kyokka nze ndowooza nti kyogera ku Kristo n’Ekkanisa ye.
33 verumtamen et vos singuli unusquisque suam uxorem sicut se ipsum diligat uxor autem ut timeat virum
Kale, nammwe buli musajja ayagalenga mukazi we nga bwe yeeyagala yennyini, era n’omukazi assengamu bba ekitiibwa.

< Ephesios 5 >