< Ecclesiastes 12 >

1 memento creatoris tui in diebus iuventutis tuae antequam veniat tempus adflictionis et adpropinquent anni de quibus dicas non mihi placent
Jjukiranga omutonzi wo mu nnaku ez’obuvubuka bwo, ng’ennaku embi tezinnakutuukako n’emyaka nga teginnasembera, mw’olyogerera nti, “Sizisanyukira”;
2 antequam tenebrescat sol et lumen et luna et stellae et revertantur nubes post pluviam
ng’enjuba n’obutangaavu, omwezi n’emmunyeenye nga tebinnafuuka kizikiza; nga n’ebire biweddemu enkuba;
3 quando commovebuntur custodes domus et nutabuntur viri fortissimi et otiosae erunt molentes inminuto numero et tenebrescent videntes per foramina
abakuumi b’enju mwe balikankanira, n’abasajja ab’amaanyi mwe bakutamizibwa, nga n’abo abasa baleseeyo okusa, kubanga batono, n’abo abalingiza mu butuli nga tebakyalaba;
4 et claudent ostia in platea in humilitate vocis molentis et consurgent ad vocem volucris et obsurdescent omnes filiae carminis
nga n’enzigi ez’olekedde enguudo zigaddwawo, n’eddoboozi ly’okusa nga livumbedde; ng’abasajja bagolokoka olw’eddoboozi ly’ennyonyi, naye nga ennyimba zaabwe zivumbedde;
5 excelsa quoque timebunt et formidabunt in via florebit amigdalum inpinguabitur lucusta et dissipabitur capparis quoniam ibit homo in domum aeternitatis suae et circumibunt in platea plangentes
nga batya buli kiwanvu n’akabi akali mu nguudo, ng’omubira gumulisizza, ng’enseenene yeewalula era nga tewakyali alimu keetaaga kino oba kiri. Omuntu n’agenda mu nnyumba ye gy’alimala ekiseera ekiwanvu n’abakungubazi ne babuna enguudo.
6 antequam rumpatur funis argenteus et recurrat vitta aurea et conteratur hydria super fontem et confringatur rota super cisternam
Jjukira omutonzi wo ng’omuguwa gwa ffeeza tegunnakutuka oba ebbakuli eya zaabu nga tennayatika, ng’ensuwa tennayatikira ku luzzi obanga ne nnamuziga tennamenyekera ku luzzi,
7 et revertatur pulvis in terram suam unde erat et spiritus redeat ad Deum qui dedit illum
ng’enfuufu edda mu ttaka mwe yava, n’omwoyo ne gudda eri Katonda eyaguwa omuntu.
8 vanitas vanitatum dixit Ecclesiastes omnia vanitas
Obutaliimu! Obutaliimu! Omubuulizi bw’agamba, “Buli kintu butaliimu.”
9 cumque esset sapientissimus Ecclesiastes docuit populum et enarravit quae fecerit et investigans conposuit parabolas multas
Omubuulizi teyali mugezi kyokka, wabula yayigiriza n’abantu eby’amagezi. Yalowooza n’anoonyereza n’ayiiyaayo engero nnyingi.
10 quaesivit verba utilia et conscripsit sermones rectissimos ac veritate plenos
Omubuulizi yanoonyereza n’afuna ebigambo ebituufu byennyini, ne bye yawandiika byali byesimbu era nga bya mazima.
11 verba sapientium sicut stimuli et quasi clavi in altum defixi quae per magistrorum concilium data sunt a pastore uno
Ebigambo by’abantu abagezi biri ng’emiwunda, engero zino ezakuŋŋaanyizibwa omusumba omu ziri ng’emisumaali egyakomererwa ne ginywezebwa ennyo.
12 his amplius fili mi ne requiras faciendi plures libros nullus est finis frequensque meditatio carnis adflictio est
Mwana wange weekuume ekintu kyonna ekyongerwako. Okuwandiika ebitabo ebingi tekukoma, n’okuyiga okungi kukooya omubiri.
13 finem loquendi omnes pariter audiamus Deum time et mandata eius observa hoc est enim omnis homo
Kale byonna biwuliddwa; eno y’enkomerero yaabyo: Tyanga Katonda okwatenga amateeka ge, kubanga ekyo omuntu ky’agwanira okukola.
14 et cuncta quae fiunt adducet Deus in iudicium pro omni errato sive bonum sive malum sit
Kubanga Katonda alisala omusango olwa buli kikolwa; ekyo ekyakwekebwa, nga kirungi oba nga kibi.

< Ecclesiastes 12 >