< Ecclesiastes 11 >

1 mitte panem tuum super transeuntes aquas quia post multa tempora invenies illum
Siganga emmere yo ng’enkuba etonnya, kubanga ebbanga lyayo bwe lirituuka olikungula.
2 da partem septem necnon et octo quia ignoras quid futurum sit mali super terram
Gabiranga musanvu weewaawo munaana, kubanga mu biseera eby’oluvannyuma oyinza okubeera mu kwetaaga.
3 si repletae fuerint nubes imbrem super terram effundent si ceciderit lignum ad austrum aut ad aquilonem in quocumque loco ceciderit ibi erit
Ebire bwe bijjula amazzi, bitonnyesa enkuba ku nsi; n’omuti bwe gugwa nga gwolekedde obukiikaddyo oba obukiikakkono, mu kifo mwe gugwa mwe gulibeera.
4 qui observat ventum non seminat et qui considerat nubes numquam metet
Oyo alabirira embuyaga talisiga; n’oyo atunuulira ebire talikungula.
5 quomodo ignoras quae sit via spiritus et qua ratione conpingantur ossa in ventre praegnatis sic nescis opera Dei qui fabricator est omnium
Nga bw’otosobola kutegeera kkubo mpewo, oba omubiri nga bwe guzimbibwa ku mwana ali mu lubuto; bw’otyo bw’otosobola kutegeera Katonda Omutonzi wa byonna by’akola.
6 mane semina sementem tuam et vespere ne cesset manus tua quia nescis quid magis oriatur hoc an illud et si utrumque simul melius erit
Ku makya siga ensigo zo, n’akawungeezi toddiriza mukono gwo; kubanga tomanyi eziryala, zino oba ziri, oba zombi ziriba nnungi.
7 dulce lumen et delectabile est oculis videre solem
Ekitangaala kirungi, era okulaba ku musana kisanyusa.
8 si annis multis vixerit homo et in omnibus his laetatus fuerit meminisse debet tenebrosi temporis et dierum multorum qui cum venerint vanitatis arguentur praeterita
Kale omuntu bw’awangaala emyaka emingi, agisanyukirengamu gyonna, naye ajjukirenga nti waliwo ennaku ez’ekizikiza nnyingi ezijja. Ebyo byonna ebijja butaliimu.
9 laetare ergo iuvenis in adulescentia tua et in bono sit cor tuum in diebus iuventutis tuae et ambula in viis cordis tui et in intuitu oculorum tuorum et scito quod pro omnibus his adducet te Deus in iudicium
Omuvubuka sanyukiranga mu buvubuka bwo, n’omutima gwo gusanyukenga mu nnaku ez’obuvubuka bwo; tambulira mu makubo g’omutima gwo ne mu kulaba kw’amaaso go. Naye manya nga mu byonna, Katonda agenda kukusalira omusango.
10 aufer iram a corde tuo et amove malitiam a carne tua adulescentia enim et voluptas vana sunt
Noolwekyo ggyawo okweraliikirira mu mutima era weggyeko emitawaana mu ggwe, kubanga obuvubuka n’amaanyi gaabwe butaliimu.

< Ecclesiastes 11 >