< Deuteronomii 27 >

1 praecepit autem Moses et seniores Israhel populo dicentes custodite omne mandatum quod praecipio vobis hodie
Awo Musa ng’ali n’abakulu abakulembeze ba Isirayiri n’alagira abantu nti, “Ebiragiro byonna bye mbategeeza leero mubikuumenga.
2 cumque transieritis Iordanem in terram quam Dominus Deus tuus dabit tibi eriges ingentes lapides et calce levigabis eos
Bwe mumalanga okusomoka omugga Yoludaani n’oyingira mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa, oddiranga amayinja amanene n’ogategeka n’ogakubako omuyiko ogw’ennoni ng’etabuddwamu omusenyu.
3 ut possis in eis scribere omnia verba legis huius Iordane transmisso ut introeas terram quam Dominus Deus tuus dabit tibi terram lacte et melle manantem sicut iuravit patribus tuis
Ogawandiikangako ebigambo bino byonna eby’amateeka, ng’omaze okusomoka, ng’oyingidde mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa, y’ensi omukulukutira amata n’omubisi gw’enjuki, nga Mukama Katonda wa bajjajjaabo bwe yakusuubiza.
4 quando ergo transieritis Iordanem erige lapides quos ego hodie praecipio vobis in monte Hebal et levigabis calce
Bw’otyo, bw’olimala okusomoka omugga Yoludaani, otegekanga amayinja ago ku Lusozi Ebali nga bwe mbalagira kaakano, era ogakubangako omuyiko ogw’ennoni ng’etabuddwamu omusenyu.
5 et aedificabis ibi altare Domino Deo tuo de lapidibus quos ferrum non tetigit
Era Mukama Katonda wo olimuzimbira eyo ekyoto n’amayinja amalamba agatali matemeko na kyuma.
6 et de saxis informibus et inpolitis et offeres super eo holocausta Domino Deo tuo
Olizimbira eyo Mukama Katonda wo ekyoto n’amayinja amalamba n’oweerako ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama Katonda wo.
7 et immolabis hostias pacificas comedesque ibi et epulaberis coram Domino Deo tuo
Oliwaayo ebiweebwayo olw’emirembe, n’obiriira eyo ng’osanyukira mu maaso ga Mukama Katonda wo.
8 et scribes super lapides omnia verba legis huius plane et lucide
Era ku mayinja ago g’oliba otegese oliwandiikako n’obwegendereza ebigambo byonna eby’amateeka gano.”
9 dixeruntque Moses et sacerdotes levitici generis ad omnem Israhelem adtende et audi Israhel hodie factus es populus Domini Dei tui
Awo Musa ng’ali n’Abaleevi, bakabona, n’agamba Abayisirayiri bonna nti, “Sirika owulire ggwe Isirayiri! Ku lunaku lwa leero lwennyini ofuuse eggwanga lya Mukama Katonda wo.
10 audies vocem eius et facies mandata atque iustitias quas ego praecipio tibi
Noolwekyo ogonderanga Mukama Katonda wo n’okwatanga amateeka ge n’ebiragiro bye, bye nkulagira leero.”
11 praecepitque Moses populo in die illo dicens
Ku lunaku lwe lumu Musa yakuutira abantu bw’ati nti,
12 hii stabunt ad benedicendum Domino super montem Garizim Iordane transmisso Symeon Levi Iudas Isachar Ioseph et Beniamin
Bwe mulimala okusomoka omugga Yoludaani, ab’omu bika bino baliyimirira ku Lusozi Gerizimu ne basabira abantu omukisa: Simyoni, ne Leevi, ne Yuda, ne Isakaali, ne Yusufu, ne Benyamini.
13 et e regione isti stabunt ad maledicendum in monte Hebal Ruben Gad et Aser Zabulon Dan et Nepthalim
Ate ab’omu bika bino baliyimirira ku Lusozi Ebali ne balangirira ebikolimo: Lewubeeni, ne Gaadi, ne Aseri, ne Zebbulooni, ne Ddaani, ne Nafutaali.
14 et pronuntiabunt Levitae dicentque ad omnes viros Israhel excelsa voce
Awo Abaleevi balirangirira n’eddoboozi ddene eri abantu bonna Abayisirayiri nti:
15 maledictus homo qui facit sculptile et conflatile abominationem Domini opus manuum artificum ponetque illud in abscondito et respondebit omnis populus et dicet amen
“Akolimirwe omuntu yenna akola ekifaananyi ekitali Katonda oba abumba ekintu ng’ekyo kyonna Mukama ky’akyayira ddala nga kikolebwa omukozi nnakinku, omuntu oyo n’abaako ne wakiyimiriza mu kyama.” Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”
16 maledictus qui non honorat patrem suum et matrem et dicet omnis populus amen
“Akolimirwe omuntu yenna atassaamu kitiibwa kitaawe oba nnyina.” Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”
17 maledictus qui transfert terminos proximi sui et dicet omnis populus amen
“Akolimirwe omuntu yenna akyusa ekituuti ekiraga ensalo ya muliraanwa we.” Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”
18 maledictus qui errare facit caecum in itinere et dicet omnis populus amen
“Akolimirwe omuntu yenna aggya omuzibe w’amaaso mu kkubo ettuufu n’amubuza.” Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”
19 maledictus qui pervertit iudicium advenae pupilli et viduae et dicet omnis populus amen
“Akolimirwe omuntu yenna atalaga bwenkanya eri bannamawanga, oba bamulekwa oba bannamwandu.” Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”
20 maledictus qui dormit cum uxore patris sui et revelat operimentum lectuli eius et dicet omnis populus amen
“Akolimirwe omuntu yenna eyeebaka ne muka kitaawe, kubanga ekitanda kya kitaawe akimalamu ekitiibwa.” Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”
21 maledictus qui dormit cum omni iumento et dicet omnis populus amen
“Akolimirwe omuntu yenna akola ebyobukaba n’ensolo.” Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”
22 maledictus qui dormit cum sorore sua filia patris sui sive matris suae et dicet omnis populus amen
“Akolimirwe omuntu yenna eyeebaka ne mwannyina omuwala wa kitaawe, oba muwala wa nnyina.” Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”
23 maledictus qui dormit cum socru sua et dicet omnis populus amen
“Akolimirwe omuntu yenna eyeebaka ne nnyina wa mukazi we.” Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”
24 maledictus qui clam percusserit proximum suum et dicet omnis populus amen
“Akolimirwe omuntu yenna atemula munne.” Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”
25 maledictus qui accipit munera ut percutiat animam sanguinis innocentis et dicet omnis populus amen
“Akolimirwe omuntu yenna akkiriza okugulirirwa atte munne ataliiko musango.” Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”
26 maledictus qui non permanet in sermonibus legis huius nec eos opere perficit et dicet omnis populus amen
“Akolimirwe omuntu yenna atagondera bigambo ebiri mu mateeka gano.” Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”

< Deuteronomii 27 >