< Amos Propheta 7 >
1 haec ostendit mihi Dominus Deus et ecce fictor lucustae in principio germinantium serotini imbris et ecce serotinus post tonsorem regis
Bino Mukama Katonda bye yandaga. Yali ateekateeka ebibinja by’enzige okusaanyaawo ebirime ebyalimwanga, nga baakakungula olukungula olusooka ssinziggu, kabaka kw’afuna omusolo.
2 et factum est cum consummasset comedere herbam terrae et dixi Domine Deus propitius esto obsecro quis suscitabit Iacob quia parvulus est
Enzige bwe zaalya buli kantu akaali mu nnimiro akalamu, ne nkaaba nti, “Mukama Katonda, sonyiwa abantu bo nkwegayiridde. Yakobo aliwona atya? Nga mutono nnyo.”
3 misertus est Dominus super hoc non erit dixit Dominus
Mukama bwe yawulira okukaaba kuno n’akyusa ekirowoozo kye. N’agamba nti, “Ekyo tekiribaawo.”
4 haec ostendit mihi Dominus Deus et ecce vocabat iudicium ad ignem Dominus Deus et devoravit abyssum multam et comedit simul partem
Bino Mukama bye yayongera okundaga. Yali ategeka okubonereza abantu n’omuliro. Gwalya ennyanja eyali wansi w’ensi ne gumalawo n’olukalu.
5 et dixi Domine Deus quiesce obsecro quis suscitabit Iacob quia parvulus est
Ne nkaaba nti, “Ayi Mukama Katonda nkwegayiridde osonyiwe abantu bo! Yakobo anaasobola atya okusigalawo? Nga mutono nnyo!”
6 misertus est Dominus super hoc sed et istud non erit dixit Dominus Deus
Awo Mukama bwe yawulira okukaaba kuno, n’akyusa ekirowoozo kye. Era n’agamba nti, “Era n’ekyo tekijja kubeerawo.”
7 haec ostendit mihi et ecce Dominus stans super murum litum et in manu eius trulla cementarii
Ate Mukama n’andaga okwolesebwa okulala. Ne ndaba Mukama ng’ayimiridde ku bbugwe azimbiddwa obulungi nga yatereera era nga Mukama akutte bbirigi mu mukono gwe.
8 et dixit Dominus ad me quid tu vides Amos et dixi trullam cementarii et dixit Dominus ecce ego ponam trullam in medio populi mei Israhel non adiciam ultra superinducere eum
Mukama n’ambuuza nti, “Amosi, kiki ky’olaba?” Ne nziramu nti, “Ndaba bbirigi.” Mukama n’alyoka aŋŋamba nti, “Laba nteese bbirigi wakati mu bantu bange Isirayiri. Sijja kuddayo kukyusa kirowoozo kyange nate ku ky’okubabonereza.
9 et demolientur excelsa idoli et sanctificationes Israhel desolabuntur et consurgam super domum Hieroboam in gladio
“Ebifo ebigulumivu ebya Isaaka birizikirizibwa, n’ebifo bya Isirayiri ebitukuvu birifuuka matongo. N’ennyumba ya Yerobowaamu ndigirwanyisa n’ekitala.”
10 et misit Amasias sacerdos Bethel ad Hieroboam regem Israhel dicens rebellavit contra te Amos in medio domus Israhel non poterit terra sustinere universos sermones eius
Awo Amaziya kabona w’e Beseri n’aweereza kabaka wa Isirayiri, Yerobowaamu, obubaka ng’agamba nti, “Amosi agezaako okukulyamu olukwe wakati mu Isirayiri mwennyini. Ensi teyinza kugumira bigambo bye.”
11 haec enim dicit Amos in gladio morietur Hieroboam et Israhel captivus migrabit de terra sua
Bw’ati Amosi bw’ayogera nti, “‘Yerobowaamu alifa kitala, ne Isirayiri balitwalibwa mu buwaŋŋanguse bave mu nsi yaboobwe.’”
12 et dixit Amasias ad Amos qui vides gradere fuge in terram Iuda et comede ibi panem et ibi prophetabis
Awo Amaziya n’alyoka alagira Amosi nti, “Vva wano ggwe omulabi. Ddayo mu nsi ya Yuda gy’oba oweera obunnabbi, ofunire eyo omusaala gwo.
13 et in Bethel non adicies ultra ut prophetes quia sanctificatio regis est et domus regni est
Toweera wano bunnabbi nate e Beseri kubanga luno lubiri lwa kabaka era ssinzizo lya bwakabaka.”
14 et respondit Amos et dixit ad Amasiam non sum propheta et non sum filius prophetae sed armentarius ego sum vellicans sycomoros
Amosi n’amuddamu nti, “Saali nnabbi oba omwana wa nnabbi nnali mulunzi wa ndiga era nga ndabirira miti emisukamooli.
15 et tulit me Dominus cum sequerer gregem et dixit ad me Dominus vade propheta ad populum meum Israhel
Naye Mukama yanziggya eyo mu kulunda ekisibo n’aŋŋamba nti, ‘Genda owe obunnabbi abantu bange, Isirayiri.’”
16 et nunc audi verbum Domini tu dicis non prophetabis super Israhel et non stillabis super domum idoli
Noolwekyo ggwe wuliriza ekigambo kya Mukama. Ogamba nti, “‘Towa bunnabbi bunenya Isirayiri, era lekaraawo okubuulira ebikwata ku nnyumba ya Isaaka.’
17 propter hoc haec dicit Dominus uxor tua in civitate fornicabitur et filii tui et filiae tuae in gladio cadent et humus tua funiculo metietur et tu in terra polluta morieris et Israhel captivus migrabit de terra sua
“Mukama kyava akuddamu nti, “‘Mukazi wo alifuuka malaaya mu kibuga era n’abaana bo aboobulenzi n’aboobuwala balifa ekitala. Ettaka lyo lirigabanyizibwamu ne liweebwa abalala naawe kennyini olifiira mu nsi ey’abakafiiri. Ekituufu kiri nti abantu ba Isirayiri balitwalibwa mu buwaŋŋanguse, ne baggyibwa mu nsi yaboobwe.’”