< Timotheum I 3 >

1 fidelis sermo si quis episcopatum desiderat bonum opus desiderat
Ekigambo kyesigwa. Omuntu yenna bw’ayagalanga okuba Omulabirizi aba yeegombye omulimu omulungi.
2 oportet ergo episcopum inreprehensibilem esse unius uxoris virum sobrium prudentem ornatum hospitalem doctorem
Noolwekyo Omulabirizi kimugwanira okuba nga taliiko kya kunenyezebwa, nga musajja wa mukazi omu, nga muntu eyeefuga, nga mwegendereza, nga mukwata mpola, ayaniriza abagenyi, era ng’amanyi okuyigiriza.
3 non vinolentum non percussorem sed modestum non litigiosum non cupidum
Tateekwa kuba mutamiivu, era nga si mukambwe, wabula omuwombeefu, nga si muyombi era nga talulunkanira nsimbi.
4 suae domui bene praepositum filios habentem subditos cum omni castitate
Ateekwa kuba ng’afuga bulungi amaka ge, abaana be nga bamuwulira, era nga bamussaamu ekitiibwa.
5 si quis autem domui suae praeesse nescit quomodo ecclesiae Dei diligentiam habebit
Kubanga omuntu atasobola kufuga maka ge, alisobola atya okulabirira ekkanisa ya Katonda?
6 non neophytum ne in superbia elatus in iudicium incidat diaboli
Omulabirizi tateekwa kuba muntu eyaakakkiriza Kristo, si kulwa nga yeekuluntaza, n’asalirwa omusango nga Setaani bwe yagusalirwa.
7 oportet autem illum et testimonium habere bonum ab his qui foris sunt ut non in obprobrium incidat et laqueum diaboli
Asaanira okuba ng’assibwamu ekitiibwa abo abatali ba Kkanisa, si kulwa nga yeereetako ekivume.
8 diaconos similiter pudicos non bilingues non multo vino deditos non turpe lucrum sectantes
Abadiikoni nabo kibagwanira okuba abantu abassibwamu ekitiibwa abatataaganaaga mu bigambo byabwe, abatatamiira, era abatalulunkanira bintu,
9 habentes mysterium fidei in conscientia pura
nga bakuuma ekyama ky’okukkiriza n’omutima omulongoofu.
10 et hii autem probentur primum et sic ministrent nullum crimen habentes
Basookanga kugezesebwa balyoke baweereze mu budiikooni nga tebaliiko kya kunenyezebwa.
11 mulieres similiter pudicas non detrahentes sobrias fideles in omnibus
N’abakazi Abadiikoni bwe batyo nabo kibagwanidde okubeeranga abassibwamu ekitiibwa, abatawaayiriza, abeegendereza, era abeesigwa mu buli kintu.
12 diacones sint unius uxoris viri qui filiis suis bene praesunt et suis domibus
Omudiikoni ateekwa okuba n’omukazi omu yekka, era ng’asobola okufuga obulungi abaana be, n’amaka ge.
13 qui enim bene ministraverint gradum sibi bonum adquirent et multam fiduciam in fide quae est in Christo Iesu
Kubanga abaweereza obulungi bafuna ekifo ekya waggulu era baba n’obuvumu bungi mu kukkiriza okuli mu Kristo.
14 haec tibi scribo sperans venire ad te cito
Nkuwandiikidde ebintu ebyo nga nsuubira okujja gy’oli mangu;
15 si autem tardavero ut scias quomodo oporteat te in domo Dei conversari quae est ecclesia Dei vivi columna et firmamentum veritatis
kyokka bwe ndirwa omanye by’osaana okukola mu nnyumba ya Katonda, ye Ekkanisa ya Katonda omulamu, empagi n’omusingi eby’amazima.
16 et manifeste magnum est pietatis sacramentum quod manifestatum est in carne iustificatum est in spiritu apparuit angelis praedicatum est gentibus creditum est in mundo adsumptum est in gloria
Tewali kubuusabuusa ekyama ky’okutya Katonda kikulu ddala, era kigamba nti: “Yalabisibwa mu mubiri, n’akakasibwa Omwoyo nga bw’atuukiridde, n’alabibwa bamalayika, n’alangibwa mu mawanga, n’akkirizibwa mu nsi, era n’atwalibwa n’ekitiibwa mu ggulu.”

< Timotheum I 3 >