< Thessalonicenses I 3 >

1 propter quod non sustinentes amplius placuit nobis remanere Athenis solis
Oluvannyuma nga tetukyayinza kugumiikiriza ne tusalawo okusigala ffekka mu Asene.
2 et misimus Timotheum fratrem nostrum et ministrum Dei in evangelio Christi ad confirmandos vos et exhortandos pro fide vestra
Ne tutuma Timoseewo, muganda waffe era muweereza munnaffe mu mulimu gwa Katonda, mu Njiri ya Kristo, abagumye era abanyweze mu kukkiriza kwammwe,
3 ut nemo moveatur in tribulationibus istis ipsi enim scitis quod in hoc positi sumus
waleme okubaawo n’omu aterebuka olw’okuyigganyizibwa kwe mwalimu. Mmwe mwennyini mumanyi nti ekyo kye twayitirwa.
4 nam et cum apud vos essemus praedicebamus vobis passuros nos tribulationes sicut et factum est et scitis
Kubanga ne bwe twali tukyali nammwe twabategeeza nti tuli baakuyigganyizibwa era bwe kyali bwe kityo era mukimanyi.
5 propterea et ego amplius non sustinens misi ad cognoscendam fidem vestram ne forte temptaverit vos is qui temptat et inanis fiat labor noster
Ssaayinza kwongera kugumiikiriza kyennava ntuma Timoseewo ajje alabe obanga okukkiriza kwammwe kukyali kunywevu, si kulwa nga mukemebwa omukemi, ne tuba nga twateganira bwereere.
6 nunc autem veniente Timotheo ad nos a vobis et adnuntiante nobis fidem et caritatem vestram et quia memoriam nostri habetis bonam semper desiderantes nos videre sicut nos quoque vos
Naye kaakano Timoseewo bw’akomyewo ng’ava gye muli atuleetedde amawulire amalungi ag’okukkiriza kwammwe n’okwagala kwammwe, era nga mutujjukira bulungi bulijjo, nga mwesunga okutulabako nga naffe bwe twesunga okubalabako.
7 ideo consolati sumus fratres in vobis in omni necessitate et tribulatione nostra per vestram fidem
Noolwekyo abaagalwa, newaakubadde nga tuli mu buzibu ne mu kubonaabona, okukkiriza kwammwe kutuzaamu amaanyi.
8 quoniam nunc vivimus si vos statis in Domino
Kubanga bwe muba abanywevu mu Mukama waffe, naffe tuba balamu.
9 quam enim gratiarum actionem possumus Deo retribuere pro vobis in omni gaudio quo gaudemus propter vos ante Deum nostrum
Kale Katonda tumwebaze tutya olw’essanyu eritujjudde ku lwammwe olw’essanyu lye tulina ku lwammwe mu maaso ga Katonda waffe?
10 nocte et die abundantius orantes ut videamus faciem vestram et conpleamus ea quae desunt fidei vestrae
Katonda tumwegayirira nnyo nnyini emisana n’ekiro, atukkirize okubalabako tujjuulirize ebyo ebikyabulako mu kukkiriza kwammwe.
11 ipse autem Deus et Pater noster et Dominus Iesus dirigat viam nostram ad vos
Katonda Kitaffe yennyini ne Mukama waffe Yesu aluŋŋamye ekkubo lyaffe okujja gye muli.
12 vos autem Dominus multiplicet et abundare faciat caritatem in invicem et in omnes quemadmodum et nos in vobis
Mukama waffe aboongereko okwagala kwammwe, mwagalanenga mwekka na mwekka era mwagalenga nnyo abantu bonna, nga naffe bwe tubaagala,
13 ad confirmanda corda vestra sine querella in sanctitate ante Deum et Patrem nostrum in adventu Domini nostri Iesu cum omnibus sanctis eius amen
alyoke anyweze emitima gyammwe nga temuliiko kya kunenyezebwa mu butukuvu mu maaso ga Katonda Kitaffe, Mukama waffe Yesu Kristo bw’alikomawo n’abatukuvu be bonna.

< Thessalonicenses I 3 >