< I Regum 4 >
1 erat autem rex Salomon regnans super omnem Israhel
Kabaka Sulemaani n’aba kabaka wa Isirayiri yonna.
2 et hii principes quos habebat Azarias filius Sadoc sacerdos
Era bano be baali abakungu be: Azaliya muzzukulu wa Zadooki, yali kabona,
3 Helioreph et Ahia filii Sesa scribae Iosaphat filius Ahilud a commentariis
Erikolefu ne Akiya, batabani ba Sisa, baali bawandiisi, Yekosafaati mutabani wa Akirudi, yali mujjukiza,
4 Banaias filius Ioiadae super exercitum Sadoc autem et Abiathar sacerdotes
Benaya mutabani wa Yekoyaada, yali muduumizi w’eggye omukulu, Zadooki ne Abiyasaali baali bakabona,
5 Azarias filius Nathan super eos qui adsistebant regi Zabud filius Nathan sacerdos amicus regis
Azaliya mutabani wa Nasani, yali mukulu w’abaami, Zabudi mutabani wa Nasani, yali kabona ate nga ye muwi wa magezi wa kabaka omukulu,
6 et Ahisar praepositus domus et Adoniram filius Abda super tributa
Akisaali, yali ssabakaaki wa kabaka; ne Adoniraamu mutabani wa Abuda, yali mukulu w’abaddu.
7 habebat autem Salomon duodecim praefectos super omnem Israhel qui praebebant annonam regi et domui eius per singulos enim menses in anno singuli necessaria ministrabant
Sulemaani yalina abakungu kkumi na babiri abaakuliranga Isirayiri yonna, era baavunaanyizibwanga ebyokulya bya kabaka n’ab’omu nnyumba ye. Buli omu kyamugwaniranga okusolooza ebyokulya okumala omwezi gumu buli mwaka.
8 et haec nomina eorum Benhur in monte Ephraim
Era gano ge mannya gaabwe: Benikuli, mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu;
9 Bendecar in Macces et in Salebbim et in Bethsemes et Helon Bethanan
Benidekeri, mu Makazi, mu Saalubimu, mu Besusemesi, ne mu Eroni Besukanani;
10 Benesed in Araboth ipsius erat Soccho et omnis terra Epher
Benikesedi, mu Alubbosi, Soko n’ensi yonna ey’e Kefera yali yiye;
11 Benabinadab cuius omnis Nepthad Dor Tapheth filiam Salomonis habebat uxorem
Beniyabinadabu eyali awasizza Tafasi muwala wa Sulemaani, mu kifo kyonna ekigulumivu eky’e Doli;
12 Bana filius Ahilud regebat Thanac et Mageddo et universam Bethsan quae est iuxta Sarthana subter Hiezrahel a Bethsan usque Abelmeula e regione Iecmaan
Baana mutabani wa Akirudi, mu Taanaki ne Megiddo, ne mu Besuseyani yonna ekiriraanye Zalesani wansi w’e Yezuleeri, okuva ku Besuseyani okutuuka ku Aberumekola okuyita ku Yokumyamu;
13 Bengaber in Ramoth Galaad habebat Avothiair filii Manasse in Galaad ipse praeerat in omni regione Argob quae est in Basan sexaginta civitatibus magnis atque muratis quae habebant seras aereas
Benigeberi, mu Lamosugireyaadi, ebibuga bya Yayiri mutabani wa Manase mu Gireyaadi byali bibye, era n’essaza Alugobu eriri mu Basani n’ebibuga byayo enkaaga ebyalina bbugwe ne wankaaki ow’ekikomo;
14 Ahinadab filius Addo praeerat in Manaim
Akinadaabu mutabani wa Iddo, mu Makanayimu;
15 Ahimaas in Nepthali sed et ipse habebat Basmath filiam Salomonis in coniugio
Akimaazi eyali awasizza Basemesi muwala wa Sulemaani, mu Nafutaali,
16 Baana filius Usi in Aser et in Balod
Baana mutabani wa Kusaayi, mu Aseri ne mu Beyaloosi;
17 Iosaphat filius Pharue in Isachar
Yekosafaati mutabani wa Paluwa, mu Isakaali;
18 Semei filius Hela in Beniamin
Simeeyi mutabani wa Era, mu Benyamini;
19 Gaber filius Uri in terra Galaad in terra Seon regis Amorrei et Og regis Basan super omnia quae erant in illa terra
Geberi mutabani wa Uli, mu Gireyaadi, ensi ya Sikoni kabaka w’Abamoli, n’ensi ya Ogi kabaka w’e Basani. Ye yali omwami yekka akulira essaza.
20 Iuda et Israhel innumerabiles sicut harena maris in multitudine comedentes et bibentes atque laetantes
Abantu ba Yuda ne Isirayiri baali bangi nga bali ng’omusenyu ku lubalama lw’ennyanja, era baalyanga, ne banywanga nga basanyuka.
21 Salomon autem erat in dicione sua habens omnia regna sicut a flumine terrae Philisthim usque ad terminum Aegypti offerentium sibi munera et servientium ei cunctis diebus vitae eius
Sulemaani n’afuga obwakabaka bwonna okuva ku Mugga Fulaati okutuuka ku nsi ey’Abafirisuuti n’okutuuka ku nsalo ey’e Misiri, era baamuleeteranga ebirabo, era ne bamuweerezanga ennaku zonna ez’obulamu bwe.
22 erat autem cibus Salomonis per dies singulos triginta chori similae et sexaginta chori farinae
Bye baasoloolezanga Sulemaani ebya buli lunaku byali ebigero by’obutta obulungi kilo mukaaga n’obutundu mukaaga, n’ebigero eby’obutta obutaali buse, kilo kumi na ssatu n’obutundu bubiri;
23 decem boves pingues et viginti boves pascuales et centum arietes excepta venatione cervorum caprearum atque bubalorum et avium altilium
ente eza ssava kkumi, n’ente ezaavanga mu ddundiro amakumi abiri, wamu n’endiga kikumi, n’enjaza, n’empeewo, n’ennangaazi, n’enkoko ze baalondangamu.
24 ipse enim obtinebat omnem regionem quae erat trans flumen quasi a Thapsa usque Gazam et cunctos reges illarum regionum et habebat pacem ex omni parte in circuitu
Yafuganga ensi yonna eri emitala w’Omugga Fulaati, okuva e Tifusa okutuuka e Gaaza, era yalina emirembe enjuuyi zonna okumwetooloola.
25 habitabatque Iudas et Israhel absque timore ullo unusquisque sub vite sua et sub ficu sua a Dan usque Bersabee cunctis diebus Salomonis
Mu mirembe gya Sulemaani, Yuda ne Isirayiri yonna, okuva e Ddaani okutuuka e Beeruseba buli muntu yalina emirembe, era ng’alina ennimiro ye ey’emizabbibu n’ey’emitiini.
26 et habebat Salomon quadraginta milia praesepia equorum currulium et duodecim milia equestrium
Sulemaani yalina ebisibo by’embalaasi ezisika amagaali enkumi nnya, n’abasajja abeebagala embalaasi omutwalo gumu mu enkumi bbiri.
27 nutriebantque eos supradicti regis praefecti sed et necessaria mensae regis Salomonis cum ingenti cura praebebant in tempore suo
Abaami ba masaza, buli mwezi baalabiriranga Kabaka Sulemaani wamu n’abaatuulanga ku mmeeza ye, nga bamuweereza ebyokulya.
28 hordeum quoque et paleas equorum et iumentorum deferebant in locum ubi erat rex iuxta constitutum sibi
Era baaleetanga sayiri n’essubi olw’embalaasi ez’embiro n’embalaasi endala, buli muntu ng’omulimu gwe bwe gwali gwe yalagirwa.
29 dedit quoque Deus sapientiam Salomoni et prudentiam multam nimis et latitudinem cordis quasi harenam quae est in litore maris
Katonda n’awa Sulemaani amagezi n’okutegeera kungi nnyo n’obugunjufu bungi, ng’omusenyu oguli ku mabbali g’ennyanja.
30 et praecedebat sapientia Salomonis sapientiam omnium Orientalium et Aegyptiorum
Amagezi ga Sulemaani gaali mangi nnyo okukira ag’abasajja bonna ab’ebuvanjuba, ate n’okusinga ago ag’e Misiri.
31 et erat sapientior cunctis hominibus sapientior Aethan Ezraita et Heman et Chalcal et Dorda filiis Maol et erat nominatus in universis gentibus per circuitum
Yali mugezi okukira abantu bonna, era n’okukira Esani Omwezulaki, ne Kemani, ne Kalukoli ne Daluda batabani ba Makoli, era erinnya lye ne lyatiikirira mu mawanga gonna ageetoolodde.
32 locutus est quoque Salomon tria milia parabolas et fuerunt carmina eius quinque et mille
Yagera engero enkumi ssatu, n’ennyimba ze zaali lukumi mu ttaano.
33 et disputavit super lignis a cedro quae est in Libano usque ad hysopum quae egreditur de pariete et disseruit de iumentis et volucribus et reptilibus et piscibus
Yayogera ku bulamu bwe bimera, okuva ku muvule gwa Lebanooni okutuuka ku ezobu amera ku bbugwe. Ate era yayogera ne ku nsolo n’ennyonyi, n’ebyewalula n’ebyennyanja.
34 et veniebant de cunctis populis ad audiendam sapientiam Salomonis et ab universis regibus terrae qui audiebant sapientiam eius
Era abantu bangi okuva mu mawanga gonna ne bajjanga okuwuliriza amagezi ga Sulemaani, nga batumiddwa bakabaka okuva mu nsi yonna, abaali bawulidde ku magezi ge.