< Mattheum 7 >

1 Nolite iudicare, et non iudicabimini: nolite condemnare, et non condemnabimini.
“Temusalanga musango, nammwe muleme okusalirwa omusango.
2 In quo enim iudicio iudicaveritis, iudicabimini: et in qua mensura mensi fueritis, remetietur vobis.
Kubanga nga bwe musalira abalala nammwe bwe mujjanga okusalirwa. Ekigera kye mugereramu, nammwe kye muligererwamu.”
3 Quid autem vides festucam in oculo fratris tui: et trabem in oculo tuo non vides?
“Ofaayo ki ku kasasiro akali ku liiso lya muganda wo so nga ku liryo kuliko kisiki kiramba?
4 Aut quomodo dicis fratri tuo: Frater sine eiiciam festucam de oculo tuo, et ecce trabs est in oculo tuo?
Oyinza otya okugamba muganda wo nti, ‘Leka nkuggyeko akasasiro akakuli ku liiso,’ so nga ku liryo kuliko kisiki?
5 Hypocrita, eiice primum trabem de oculo tuo, et tunc videbis eiicere festucam de oculo fratris tui.
Munnanfuusi ggwe! Sooka oggyeko ekisiki ekiri ku liiso lyo olyoke olabe bulungi nga bw’oggyako akasasiro akali ku liiso lya muganda wo.”
6 Nolite dare sanctum canibus: neque mittatis margaritas vestras ante porcos, ne forte conculcent eas pedibus suis, et conversi dirumpant vos.
“Temuddiranga bintu bitukuvu ne mubiwa embwa. N’embizzi temuzisuuliranga mayinja ag’omuwendo omungi, kubanga zigenda kugalinnyirira, n’oluvannyuma zikyuke zibalume.”
7 Petite, et dabitur vobis: quaerite, et invenietis: pulsate, et aperietur vobis.
“Musabe, munaaweebwa. Munoonye, munaazuula. Era mukonkone munaggulirwawo.
8 Omnis enim, qui petit, accipit: et qui quaerit, invenit: et pulsanti aperietur.
Kubanga buli asaba aweebwa, n’oyo anoonya, azuula, n’oyo akonkona aggulirwawo.”
9 Aut quis est ex vobis homo, quem si petierit filius suus panem, numquid lapidem porriget ei?
“Oba muntu ki mu mmwe singa omwana we amusaba omugaati, ayinza okumuwa ejjinja?
10 Aut si piscem petierit, numquid serpentem porriget ei?
Oba singa asabye ekyennyanja, kitaawe ayinza okumuwa omusota?
11 Si ergo vos, cum sitis mali, nostis bona data dare filiis vestris: quanto magis pater vester, qui in caelis est, dabit bona petentibus se?
Obanga mmwe abantu ababi musobola okuwa abaana bammwe ebirabo ebirungi, Kitammwe ali mu ggulu talisingawo okubawa ebirungi bye mumusaba?
12 Omnia ergo quaecumque vultis ut faciant vobis homines, et vos facite illis. Haec est enim lex, et Prophetae.
Noolwekyo ebintu byonna bye mwagala abantu okubakoleranga, nammwe mubibakoleranga, kubanga ebyo bye biri mu mateeka ne mu bunnabbi.”
13 Intrate per angustam portam: quia lata porta, et spatiosa via est, quae ducit ad perditionem, et multi sunt qui intrant per eam.
“Muyingirire mu mulyango omufunda! Kubanga ekkubo erigenda mu kuzikirira ddene n’omulyango mugazi, n’abalonda ekkubo eryo bangi.
14 Quam angusta porta, et arcta via est, quae ducit ad vitam: et pauci sunt, qui inveniunt eam!
Kubanga omulyango mufunda, n’ekkubo eridda eri obulamu ffunda, era n’abaliraba batono.”
15 Attendite a falsis prophetis, qui veniunt ad vos in vestimentis ovium, intrinsecus autem sunt lupi rapaces:
“Mwekuume abayigiriza ab’obulimba, abajja nga bambadde amaliba g’endiga, songa munda gy’emisege egigenda okubataagulataagula.
16 a fructibus eorum cognoscetis eos. Numquid colligunt de spinis uvas, aut de tribulis ficus?
Mulibalabira ku bikolwa byabwe, ng’omuti bwe mugutegeerera ku bibala byagwo. Omuntu tayinza kunoga mizabbibu ku busaana oba okunoga ettiini ku mweramannyo.
17 Sic omnis arbor bona fructus bonos facit: mala autem arbor malos fructus facit.
Noolwekyo buli muti omulungi gubala ebibala ebirungi, naye omuti omuvundu gubala ebibala ebibi.
18 Non potest arbor bona malos fructus facere: neque arbor mala bonos fructus facere:
Omuti omulungi teguyinza kubala bibala bibi, n’omuti omuvundu teguyinza kubala bibala birungi.
19 Omnis arbor, quae non facit fructum bonum, excidetur, et in ignem mittetur.
Omuti gwonna ogutabala bibala birungi gutemebwa ne gusuulibwa mu muliro.
20 Igitur ex fructibus eorum cognoscetis eos.
Noolwekyo mulibategeerera ku bibala byabwe.”
21 Non omnis, qui dicit mihi, Domine, Domine, intrabit in regnum caelorum: sed qui facit voluntatem Patris mei, qui in caelis est, ipse intrabit in regnum caelorum.
“Si bonna abampita nti, ‘Mukama waffe, Mukama waffe,’ be baliyingira obwakabaka obw’omu ggulu, wabula abo bokka abakola ebyo Kitange ali mu ggulu by’ayagala.
22 Multi dicent mihi in illa die: Domine, Domine, nonne in nomine tuo prophetavimus, et in nomine tuo daemonia eiecimus, et in nomine tuo virtutes multas fecimus?
Ku lunaku Iuli bangi baliŋŋamba nti, ‘Mukama waffe, Mukama waffe, twayogeranga eby’obunnabbi mu linnya lyo, era ne tugoba ne baddayimooni mu linnya lyo, ne tukola n’ebyamagero bingi mu linnya lyo.’
23 Et tunc confitebor illis: Quia numquam novi vos: discedite a me omnes, qui operamini iniquitatem.
Ndibaddamu nti, ‘Sibamanyi, muve mu maaso gange, kubanga ebikolwa byammwe byali bibi.’”
24 Omnis ergo, qui audit verba mea haec, et facit ea, assimilabitur viro sapienti, qui aedificavit domum suam supra petram,
“Noolwekyo buli awulira ebigambo byange, n’abikola, alifaananyizibwa ng’omusajja ow’amagezi eyazimba enju ye ku lwazi.
25 et descendit pluvia, et venerunt flumina, et flaverunt venti, et irruerunt in domum illam, et non cecidit: fundata enim erat supra petram.
Enkuba n’etonnya, emigga ne gikulukuta, omuyaga ne gujja, ne bikuba enju eyo naye n’etegwa kubanga yazimbibwa ku lwazi.
26 Et omnis, qui audit verba mea haec, et non facit ea, similis erit viro stulto, qui aedificavit domum suam super arenam:
Naye buli awulira ebigambo byange n’atabikola, alifaananyizibwa ng’omusajja omusirusiru eyazimba ennyumba ye mu musenyu.
27 et descendit pluvia, et venerunt flumina, et flaverunt venti, et irruerunt in domum illam, et cecidit, et fuit ruina illius magna.
Enkuba n’etonnya, emigga ne gikulukuta, omuyaga ne gujja, ne bikuba ennyumba eyo, n’egwa, n’okugwa kwayo ne kuba kunene.”
28 Et factum est: cum consummasset Iesus verba haec, admirabantur turbae super doctrina eius.
Awo Yesu n’amaliriza ebigambo bye ebyo. Abantu bonna ne beewuunya nnyo olw’okuyigiriza kwe.
29 Erat enim docens eos sicut potestatem habens, et non sicut Scribae, et Pharisaei.
Kubanga yabayigiriza nga nannyini buyinza, so si ng’abannyonnyozi b’amateeka baabwe bwe baayigirizanga.

< Mattheum 7 >