< Iudicum 13 >

1 Rursumque filii Israel fecerunt malum in conspectu Domini: qui tradidit eos in manus Philisthinorum quadraginta annis.
Awo abaana ba Isirayiri ne beeyongera okukola ebibi mu maaso ga Mukama. Mukama kyeyava abagabula mu mukono gw’Abafirisuuti okumala emyaka amakumi ana.
2 Erat autem quidam vir de Saraa, et de stirpe Dan, nomine Manue, habens uxorem sterilem.
Ne wabaawo omusajja ow’e Zola, ow’omu kika ky’Abadaani, erinnya lye Manowa, eyalina mukazi we nga mugumba.
3 Cui apparuit Angelus Domini, et dixit ad eam: Sterilis es et absque liberis: sed concipies et paries filium:
Malayika wa Mukama Katonda n’alabikira omukazi n’amugamba nti, “Laba, kaakano, oli mugumba era atazaalanga ku mwana, naye oliba olubuto n’ozaala omwana wabulenzi.
4 Cave ergo ne bibas vinum ac siceram, nec immundum quidquam comedas:
Laba nga tonywa envinnyo, newaakubadde ekitamiiza kyonna, wadde okulya ekintu kyonna ekitali kirongoofu.
5 quia paries filium, cuius non tanget caput novacula: erit enim nazaraeus Dei ab infantia sua, et ex matris utero, et ipse incipiet liberare Israel de manu Philisthinorum.
Kubanga, laba, oliba olubuto n’ozaala omwana wabulenzi, era tamwebwangako nviiri, kubanga omulenzi aliba Muwonge wa Katonda ng’akyali mu lubuto lwa nnyina, era yalitanula okulokola Isirayiri okuva mu mukono gw’Abafirisuuti.”
6 Quae cum venisset ad maritum suum, dixit ei: Vir Dei venit ad me, habens vultum angelicum, terribilis nimis. Quem cum interrogassem, quis esset, et unde venisset, et quo nomine vocaretur, noluit mihi dicere:
Awo omukazi n’agenda n’ategeeza bba, ng’agamba nti, “Omusajja wa Katonda yandabikidde mu kifaananyi kya malayika wa Katonda, era natidde nnyo. Simubuuzizza gy’avudde, ate era naye tambulidde linnya lye.
7 sed hoc respondit: Ecce concipies et paries filium: cave ne vinum bibas, nec siceram, et ne aliquo vescaris immundo: erit enim puer nazaraeus Dei ab infantia sua, et ex utero matris suae usque ad diem mortis suae.
Wabula yaŋŋambye nti, ‘Laba oliba olubuto era olizaala omwana wabulenzi. Tonywanga envinnyo newaakubadde ekitamiiza kyonna, wadde okulya ekintu kyonna ekitali kirongoofu. Kubanga omulenzi aliba Muwonge eri Katonda ng’akyali mu lubuto lwa nnyina, era bw’atyo bw’aliba ennaku ez’obulamu bwe zonna.’”
8 Oravit itaque Manue Dominum, et ait: Obsecro Domine, ut vir Dei, quem misisti, veniat iterum, et doceat nos quid debeamus facere de puero, qui nasciturus est.
Awo Manowa ne yeegayirira Mukama Katonda ng’agamba nti, “Ayi Mukama wange, omusajja wa Katonda gwe watutumidde, akomewo. Ajje atuyigirize kye tuteekwa okukolera omulenzi anaatuzaalirwa.”
9 Exaudivitque Dominus deprecantem Manue, et apparuit rursum Angelus Dei uxori eius sedenti in agro. Manue autem maritus eius non erat cum ea. Quae cum vidisset Angelum,
Katonda n’awulira eddoboozi lya Manowa, malayika wa Katonda n’akomawo eri omukazi, n’amusanga mu nnimiro, naye nga Manowa bba tali naye.
10 festinavit, et cucurrit ad virum suum: nunciavitque ei, dicens: Ecce apparuit mihi vir, quem ante videram.
Awo omukazi n’ayanguwa n’adduka n’ategeeza bba ng’agamba nti, “Laba omusajja eyandabikira olulala azze.”
11 Qui surrexit, et secutus est uxorem suam: veniensque ad virum, dixit ei: Tu es qui locutus es mulieri? Et ille respondit: Ego sum.
Manowa n’agolokoka n’agoberera mukazi we. Bwe yatuuka awali omusajja n’amugamba nti, “Ggwe musajja eyayogera eri mukazi wange?” Malayika n’amuddamu nti, “Ye nze.”
12 Cui Manue: Quando, inquit, sermo tuus fuerit expletus, quid vis ut faciat puer? aut a quo se observare debebit?
Manowa n’amubuuza nti, “Ebigambo byo bwe birituukirira, biragiro ki bye tuligoberera nga tukuza omulenzi?”
13 Dixitque Angelus Domini ad Manue: Ab omnibus, quae locutus sum uxori tuae, abstineat se:
Malayika wa Mukama Katonda n’addamu Manowa nti, “Ebyo byonna bye nagamba mukazi wo ateekwa okubikola.
14 et quidquid ex vinea nascitur, non comedat: vinum et siceram non bibat, nullo vescatur immundo: et quod ei praecepi, impleat atque custodiat.
Mukazi wo tateekwa kulya kibala ekiva mu zabbibu, newaakubadde okunywa envinnyo, newaakubadde okunywa ekitamiiza, wadde okulya ekintu kyonna ekitali kirongoofu. Ateekwa okukola buli kintu kye namulagira.”
15 Dixitque Manue ad Angelum Domini: Obsecro te ut acquiescas precibus meis, et faciamus tibi hoedum de capris.
Awo Manowa n’agamba malayika wa Mukama Katonda nti, “Sigala wano naffe, tukuteekereteekere akabuzi akato.”
16 Cui respondit Angelus: Si me cogis, non comedam panes tuos: si autem vis holocaustum facere, offer illud Domino. Et nesciebat Manue quod Angelus Domini esset.
Malayika wa Mukama Katonda n’agamba Manowa nti, “Ne bwe nnaasigala nammwe, sijja kulya ku mmere yammwe. Wabula bwe munaateekateeka ekiweebwayo ekyokebwa, mukiweeyo eri Mukama.” Mu kiseera ekyo Manowa teyamanya nga gwe yali ayogera naye yali malayika wa Mukama.
17 Dixitque ad eum: Quod est tibi nomen, ut, si sermo tuus fuerit expletus, honoremus te?
Awo Manowa n’abuuza malayika wa Mukama Katonda nti, “Erinnya lyo ggwe ani, ekigambo ky’oyogedde bwe kirituukirira tulyoke tukuseemu ekitiibwa?”
18 Cui ille respondit: Cur quaeris nomen meum, quod est mirabile?
Malayika wa n’amuddamu nti, “Obuuliza ki erinnya lyange? Lisukka okutegeera.”
19 Tulit itaque Manue hoedum de capris, et libamenta, et posuit super petram, offerens Domino, qui facit mirabilia: ipse autem et uxor eius intuebantur.
Awo Manowa n’addira akabuzi akato, n’ekiweebwayo eky’empeke, n’abiwaayo nga ssaddaaka ku lwazi eri Mukama Katonda. Mukama n’akola eky’ekyewuunyo nga Manowa ne mukazi we balaba.
20 Cumque ascenderet flamma altaris in caelum, Angelus Domini pariter in flamma ascendit. Quod cum vidissent Manue et uxor eius, proni ceciderunt in terram,
Omuliro bwe gwava mu Kyoto okugenda eri eggulu, malayika wa Mukama Katonda n’akkira mu muliro gw’ekyoto. Manowa ne mukazi we bwe baamulaba, ne bagwa wansi ne bavuunama ng’obwenyi bwabwe butuukira ddala ku ttaka.
21 et ultra eis non apparuit Angelus Domini. Statimque intellexit Manue, Angelum Domini esse,
Malayika wa Mukama bw’ataddayo kweraga gye bali, Manowa ne mukazi we ne bategeera ng’abadde malayika wa Mukama Katonda.
22 et dixit ad uxorem suam: Morte moriemur, quia vidimus Dominum.
Manowa n’agamba mukazi we nti, “Tugenda kufa kubanga tulabye Katonda.”
23 Cui respondit mulier: Si Dominus nos vellet occidere, de manibus nostris holocaustum et libamenta non suscepisset, nec ostendisset nobis haec omnia neque ea, quae sunt ventura, dixisset.
Naye mukazi we n’amugamba nti, “Singa Mukama Katonda yabadde wa kututta, teyandisiimye kiweebwayo ekyokebwa n’ekiweebwayo eky’empeke okuva gye tuli, newaakubadde okutulaga ebintu bino byonna, wadde okututegeeza kino.”
24 Peperit itaque filium, et vocavit nomen eius Samson. Crevitque puer, et benedixit ei Dominus.
Awo omukazi n’azaala omwana wabulenzi, n’amutuuma Samusooni. Omwana n’akula, Mukama Katonda n’amuwa omukisa.
25 Coepitque Spiritus Domini esse cum eo in castris Dan inter Saraa et Esthaol.
Omwoyo wa Mukama Katonda n’atandika okukolera mu Samusooni ng’ali mu Makanedani ekiri wakati w’e Zola ne Esutaoli.

< Iudicum 13 >