< Iohannem 2 >

1 Et die tertia nuptiae factae sunt in Cana Galilaeae, et erat mater Iesu ibi.
Awo bwe waayitawo ennaku bbiri ne wabaawo embaga ey’obugole mu Kaana eky’e Ggaliraaya ne nnyina Yesu yaliyo.
2 Vocatus est autem et Iesus, et discipuli eius ad nuptias.
Yesu awamu n’abayigirizwa be nabo baayitibwa.
3 Et deficiente vino, dicit mater Iesu ad eum: Vinum non habent.
Wayini bwe yaggwaawo, nnyina Yesu n’ajja gy’ali n’amugamba nti, “Tebakyalina wayini.”
4 Et dicit ei Iesus: Quid mihi, et tibi est, mulier? nondum venit hora mea.
Yesu n’amuddamu nti, “Maama ndeka, kubanga ekiseera kyange tekinnatuuka.”
5 Dicit mater eius ministris: Quodcumque dixerit vobis, facite.
Nnyina Yesu n’agamba abaweereza nti, “Kyonna ky’abagamba kye muba mukola.”
6 Erant autem ibi lapideae hydriae sex positae secundum purificationem Iudaeorum, capientes singulae metretas binas vel ternas.
Waaliwo amasuwa amanene mukaaga agaategekebwa olw’omukolo gw’Abayudaaya ogw’okwetukuza, buli limu nga lirimu lita kikumi oba kikumi mu ataano.
7 Dicit eis Iesus: Implete hydrias aqua. Et impleverunt eas usque ad summum.
Yesu n’agamba abaweereza nti, “Amasuwa mugajjuze amazzi.” Ne bagajjuza okutuuka ku migo.
8 Et dicit eis Iesus: Haurite nunc, et ferte architriclino. Et tulerunt.
Awo n’abagamba nti, “Kale musene mutwalire omukulu w’abagabuzi.” Ne basena ne bamutwalira.
9 Ut autem gustavit architriclinus aquam vinum factam, et non sciebat unde esset, ministri autem sciebant, qui hauserant aquam: vocat sponsum architriclinus,
Omukulu w’abagabuzi bwe yalega ku mazzi agafuuse wayini, nga tamanyi gy’avudde, so nga bo abaweereza baali bamanyi, n’ayita omugole omusajja
10 et dicit ei: Omnis homo primum bonum vinum ponit: et cum inebriati fuerint, tunc id, quod deterius est. Tu autem servasti bonum vinum usque adhuc.
n’amugamba nti, “Bulijjo omuntu asooka kugabula wayini omuka, n’oluvannyuma ng’abagenyi be banywedde nnyo, tebakyafaayo olwo n’alyoka agabula ogutali muka nnyo. Naye ggwe wayini omuka gw’osembezzaayo!”
11 Hoc fecit initium signorum Iesus in Cana Galilaeae: et manifestavit gloriam suam, et crediderunt in eum discipuli eius.
Ekyamagero kino, Yesu kye yasookerako okukola mu lwatu mu Kaana eky’e Ggaliraaya, ng’alaga ekitiibwa kye. Abayigirizwa be bwe baakiraba ne bamukkiriza.
12 Post haec descendit Capharnaum ipse, et mater eius, et fratres eius, et discipuli eius: et ibi manserunt non multis diebus.
Embaga bwe yaggwa Yesu n’adda e Kaperunawumu n’abayigirizwa be n’amalayo ennaku ntono ng’ali eyo ne nnyina ne baganda be.
13 Et prope erat Pascha Iudaeorum, et ascendit Iesus Ierosolymam:
Embaga y’Abayudaaya ey’Okuyitako bwe yali eneetera okutuuka Yesu n’ayambuka e Yerusaalemi.
14 et invenit in templo vendentes boves, et oves, et columbas, et numularios sedentes.
N’asanga mu Yeekaalu abaali batunda ente n’endiga n’amayiba era n’abali bawaanyisa ensimbi.
15 Et cum fecisset quasi flagellum de funiculis, omnes eiecit de templo, oves quoque, et boves, et numulariorum effudit aes, et mensas subvertit.
Awo Yesu n’addira emiguwa n’agifunyaafunya ne giba ng’embooko n’agobawo endiga n’ente, n’asaasaanya n’ensimbi ez’abaali bawaanyisa, n’avuunika n’emmeeza zaabwe.
16 Et his, qui columbas vendebant, dixit: Auferte ista hinc, et nolite facere domum patris mei, domum negotiationis.
N’akyukira abaali batunda amayiba n’abagamba nti, “Bino mubiggye wo. Temufuula Nnyumba ya Kitange katale.”
17 Recordati sunt vero discipuli eius quia scriptum est: Zelus domus tuae comedit me.
Awo abayigirizwa ne bajjukira Ekyawandiikibwa ekigamba nti, “Obuggya bw’Ennyumba yo, Ayi Mukama, bulindya.”
18 Responderunt ergo Iudaei, et dixerunt ei: Quod signum ostendis nobis quia haec facis?
Awo Abayudaaya ne bamubuuza nti, “Kabonero ki k’otulaga nti olina obuyinza okukola bino?”
19 Respondit Iesus, et dixit eis: Solvite templum hoc, et in tribus diebus excitabo illud.
Yesu kwe kuddamu nti, “Mumenyeewo Yeekaalu eno ngizzeewo mu nnaku ssatu.”
20 Dixerunt ergo Iudaei: Quadraginta et sex annis aedificatum est templum hoc, et tu in tribus diebus excitabis illud?
Ne bamuddamu nti, “Kiki ky’otegeeza? Yeekaalu eno yatwalira ddala emyaka amakumi ana mu mukaaga okuzimba oyinza otya okugizimbira ennaku essatu?”
21 Ille autem dicebat de templo corporis sui.
Kyokka Yeekaalu gye yali ayogerako gwe mubiri gwe.
22 Cum ergo resurrexisset a mortuis, recordati sunt discipuli eius, quia hoc dicebat, et crediderunt scripturae, et sermoni, quem dixit Iesus.
Yesu bwe yamala okuzuukira abayigirizwa ne bajjukira nti kino kye yali ayogerako. Ne bakkiriza ebyawandiikibwa n’ebigambo Yesu bye yayogerako.
23 Cum autem esset Ierosolymis in pascha in die festo, multi crediderunt in nomine eius, videntes signa eius, quae faciebat.
Awo Yesu bwe yali mu Yerusaalemi mu kiseera eky’Embaga ey’Okuyitako, bangi baalaba obubonero bwe yali akola ne bakkiriza erinnya lye.
24 Ipse autem Iesus non credebat semetipsum eis, eo quod ipse nosset omnes,
Kyokka Yesu teyabeesiga, kubanga amanyi abantu bonna,
25 et quia opus ei non erat ut quis testimonium perhiberet de homine: ipse enim sciebat quid esset in homine.
kubanga yamanya bw’afaanana, nga teyeetaaga kubuulirwa muntu kyali.

< Iohannem 2 >