< Isaiæ 46 >
1 Confractus est Bel, contritus est Nabo: facta sunt simulachra eorum bestiis et iumentis, onera vestra gravi pondere usque ad lassitudinem.
Beri avunnama, Nebo akutamye! Ebifaananyi bya bakatonda baabwe biteekeddwa ku nsolo ez’omu nsiko, era ne ku nte. Ebifaananyi bya bakatonda baabwe migugu mizito ddala ku ndogoyi ezikooye.
2 Contabuerunt, et contrita sunt simul: non potuerunt salvare portantem, et anima eorum in captivitatem ibit.
Bikutamye byonna bivuunamye. Tebiyinza kuyamba ku mbeera, byo byennyini bitwaliddwa mu busibe.
3 Audite me domus Iacob, et omne residuum domus Israel, qui portamini a meo utero, qui gestamini a mea vulva.
“Mumpulire mmwe, ennyumba ya Yakobo n’abantu bonna abasigaddewo mu nnyumba ya Isirayiri. Mmwe be nnalera okuva lwe mwava mu lubuto, be nasitula okuva lwe mwazaalibwa.
4 Usque ad senectam ego ipse, et usque ad canos ego portabo: ego feci, et ego feram: ego portabo, et salvabo.
Ne mu bukadde bwammwe nzija kusigala nga ye nze Nzuuyo. Ne bwe muliba mulina envi nnaabasitulanga. Nze nabakola era nze nnaabawekanga. Nnaabasitulanga era nnaabanunulanga.
5 Cui assimilastis me, et adaequastis, et comparastis me, et fecistis similem?
“Ani gwe mulinfaananya era gwe mulinnenkanya era gwe mulingerageranyaako tufaanane?
6 Qui confertis aurum de sacculo, et argentum statera ponderatis: conducentes aurificem, ut faciat deum: et procidunt, et adorant.
Eriyo abaggya zaabu ennyingi mu nsawo zaabwe ne bapima ne ffeeza ku minzaani. Olwo ne bapangisa omuweesi wa zaabu n’agiweesaamu katonda waabwe, ne bagwa wansi ne basinza.
7 Portant illum in humeris gestantes, et ponentes in loco suo: stabit, ac de loco suo non movebitur. sed et cum clamaverint ad eum, non audiet: de tribulatione non salvabit eos.
Katonda waabwe ne bamusitulira ku kibegabega, ne bamuwa ekifo w’anaayimiriranga. N’ayimirira awo, n’atava mu kifo kye. Oli ne bw’amukaabirira tayinza kumuddamu, tayinza kumuwonya mu mitawaana gye.
8 Mementote istud, et confundamini: redite praevaricatores ad cor.
“Mujjukire kino mmwe, mulowooze mu mitima gyammwe. Mwekube mu kifuba, mmwe abajeemu.
9 Recordamini prioris saeculi, quoniam ego sum Deus, et non est ultra Deus, nec est similis mei:
Mujjukire ebigambo ebyasooka eby’edda ennyo. Kubanga nze Katonda, teri mulala. Nze Katonda, teri ali nga nze;
10 Annuncians ab exordio novissimum, et ab initio quae necdum facta sunt, dicens: Consilium meum stabit, et omnis voluntas mea fiet:
alanga ku ntandikwa ebigenda okubaawo. Okuva ku mirembe egy’edda ennyo, nalanga ebintu ebitannabaawo, nga ŋŋamba nti, ‘Enteekateeka zange zijja kubaawo era ndituukiriza byonna bye nategeka.’
11 Vocans ab Oriente iustum, et de terra longinqua virum voluntatis meae. et locutus sum, et adducam illud: creavi, et faciam illud.
Mpita ekinyonyi ekikwakkula ebiramu ebirala. Omusajja ava ebuvanjuba mu nsi eyewala, anaakola bye njagala. Weewaawo njogedde era nnaatuukiriza. Nga bwe nategeka bwe nnaakola.
12 Audite me duro corde, qui longe estis a iustitia.
Mumpulirize mmwe abalina emitima emikakanyavu, abakyama ennyo ne bava mu kkubo ly’obutuukirivu.
13 Prope feci iustitiam meam, non elongabitur, et salus mea non morabitur. Dabo in Sion salutem, et in Israel gloriam meam.
Nsembeza kumpi obutuukirivu bwange, tebuli wala. N’obulokozi bwange tebuulwewo. Ndireeta obulokozi mu Sayuuni, ne nzizaawo ekitiibwa kyange mu Isirayiri.”