< Hiezechielis Prophetæ 6 >

1 Et factus est sermo Domini ad me, dicens:
Awo ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira nti,
2 Fili hominis pone faciem tuam ad montes Israel, et prophetabis ad eos,
“Omwana w’omuntu tunuulira ensozi za Isirayiri,
3 et dices: Montes Israel audite verbum Domini Dei: Haec dicit Dominus Deus montibus, et collibus, rupibus, et vallibus: Ecce ego inducam super vos gladium, et disperdam excelsa vestra,
oyogere nti, ‘Mmwe ensozi za Isirayiri, muwulire ekigambo kya Mukama Katonda. Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda eri ensozi n’obusozi, eri emigga n’ebiwonvu, nti, Nze kennyini ndibaleetako ekitala ne nzikiriza n’ebifo byammwe ebigulumivu.
4 et demoliar aras vestras, et confringentur simulachra vestra: et deiiciam interfectos vestros ante idola vestra.
Ebyoto byammwe birimenyebwamenyebwa, n’ebyoto kwe mwotereza obubaane birimenyebwamenyebwa; ndittira abantu bo mu maaso ga bakatonda bo abalala.
5 Et dabo cadavera filiorum Israel ante faciem simulachrorum vestrorum: et dispergam ossa vestra circum aras vestras
Ndiddira emirambo gy’Abayisirayiri ne ngiteeka mu maaso ga bakatonda baabwe abalala, era ndisaasaanya amagumba go okwetooloola ebyoto byo.
6 in omnibus habitationibus vestris. Urbes desertae erunt, et excelsa demolientur, et dissipabuntur: et interibunt arae vestrae, et confringentur: et cessabunt idola vestra, et conterentur delubra vestra, et delebuntur opera vestra.
Buli gye mubeera ebibuga biriyonoonebwa n’ebifo byammwe ebigulumivu birisaanyizibwawo, n’ebyoto byammwe ne byonoonebwa ne bimenyebwamenyebwa, ne bakatonda bammwe ne bamenyebwamenyebwa ne boonoonebwa, era n’ebyoto byammwe ebyokerwako obubaane ne bimenyebwa ne bye mukoze ne bisaanawo.
7 Et cadet interfectus in medio vestri: et scietis quia ego sum Dominus.
Abantu bo balittibwa wakati mu mmwe, ne mulyoka mumanya nga nze Mukama.
8 Et relinquam in vobis eos, qui fugerint gladium in Gentibus, cum dispersero vos in terris.
“‘Naye ndirekawo abamu ku mmwe, era muliba bakaawonawo nga musaasaanye mu nsi ne mu mawanga.
9 Et recordabuntur mei liberati vestri in Gentibus, ad quas captivi ducti sunt: quia contrivi cor eorum fornicans, et recedens a me; et oculos eorum fornicantes post idola sua: et displicebunt sibimet super malis quae fecerant in universis abominationibus suis.
Era eyo mu mawanga bakaawonawo gye mwatwalibwa mu busibe, mulinzijukira, kubanga nnumwa olw’emitima gyabwe eginjeemedde egyegomba era egisinza bakatonda abalala. Balikyama olw’obutali butuukirivu bwabwe, n’olwebikolwa byabwe byonna ebigwenyufu.
10 Et scient quia ego Dominus non frustra locutus sum ut facerem eis malum hoc.
Era balimanya nga nze Mukama; saabatiisiza bwereere okubaleetako akabi kano.
11 Haec dicit Dominus Deus: Percute manum tuam, et allide pedem tuum, et dic: Heu, ad omnes abominationes malorum domus Israel: quia gladio, fame, et peste ruituri sunt.
“‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Kuba mu ngalo zo, osambagale era okaabire waggulu oyogere nti, “Woowe”; olw’ebikolwa byonna ebitali bya butuukirivu n’ebintu byonna eby’ekkive eby’ennyumba ya Isirayiri; abamu baligwa n’ekitala, abalala balifa enjala, n’abalala balifa kawumpuli.
12 Qui longe est, peste morietur: qui autem prope, gladio corruet: et qui relictus fuerit, et obsessus, fame morietur: et complebo indignationem meam in eis.
Ali ewala alifa kawumpuli, n’oyo ali okumpi aligwa n’ekitala, n’oyo alisigalawo alifa enjala. Bwe ntyo bwe ndiraga obusungu bwange.
13 Et scietis quia ego Dominus, cum fuerint interfecti vestri in medio idolorum vestrorum in circuitu ararum vestrarum, in omni colle excelso, et in cunctis summitatibus montium, et subtus omne lignum nemorosum, et subtus universam quercum frondosam, locum ubi accenderunt thura redolentia universis idolis suis.
Mulitegeera nga nze Mukama, abantu baabwe bwe balisangibwa nga bafiiridde wakati mu bakatonda baabwe be baakola n’emikono okwetooloola ebyoto byabwe, ne ku buli lusozi oluwanvu, ne ku buli ntikko ez’ensozi, ne buli wansi w’omuti oguliko ebikoola, n’omwera oguliko ebikoola, ebifo gye baali nga bootereza obubaane eri bakatonda baabwe be baakola n’emikono.
14 Et extendam manum meam super eos: et faciam terram desolatam, et destitutam a deserto Deblatha in omnibus habitationibus eorum: et scient quia ego Dominus.
Era ndigolola omukono gwange ku bo, ensi ne yonooneka ne tebalamu kintu okuva ku ddungu okutuuka e Dibula, ne buli gye babeera. Olwo balimanya nga nze Mukama.’”

< Hiezechielis Prophetæ 6 >