< Deuteronomii 8 >

1 Omne mandatum, quod ego praecipio tibi hodie, attende diligenter ut facias: ut possitis vivere, et multiplicemini, ingressique possideatis Terram, pro qua iuravit Dominus patribus vestris.
Mugonderanga amateeka gonna ge nkulagira leero, mulyoke mubeerenga balamu era mwale, muyingire ensi Mukama Katonda gye yalayirira bajjajjammwe okugibawa mmwe ng’obutaka bwammwe.
2 Et recordaberis cuncti itineris, per quod adduxit te Dominus Deus tuus quadraginta annis per desertum, ut affligeret te, atque tentaret, et nota fierent quae in tuo animo versabantur, utrum custodires mandata illius, an non.
Onojjukiranga emyaka gino gyonna amakumi ana Mukama Katonda gy’azze ng’akukulembera okukuyisa mu ddungu alyoke akugezese, akukakkanye obeere muwombeefu omwetoowaze, era yeekkaanye mu mutima gwo alabe obanga onookwatanga amateeka ge.
3 Afflixit te penuria, et dedit tibi cibum Manna, quod ignorabas tu et patres tui: ut ostenderet tibi quod non in solo pane vivat homo, sed in omni verbo quod egreditur de ore Dei.
Era yakukkakkanya n’akulumya enjala, n’akuliisa emmaanu, gye wali tolabangako wadde bakadde bo okugiwulirako, alyoke akuyigirize nti omuntu taba mulamu na mmere yokka, wabula na buli kigambo ekiva mu kamwa ka Mukama Katonda.
4 Vestimentum tuum, quo operiebaris, nequaquam vetustate defecit, et pes tuus non est subtritus, en quadragesimus annus est.
Mu myaka gino gyonna amakumi ana, engatto zo tezaakukaddiwako n’ebigere byo tebyazimba.
5 Ut recogites in corde tuo, quia sicut erudit filium suum homo, sic Dominus Deus tuus erudivit te,
Noolwekyo osaana okitegeere mu mutima gwo nti, Ng’omusajja bw’akangavvula mutabani we, ne Mukama Katonda wo bw’akukangavvula.
6 ut custodias mandata Domini Dei tui, et ambules in viis eius, et timeas eum.
“Onookwatanga amateeka ga Mukama Katonda wo ng’otambuliranga mu makubo ge, era ng’omutya, ng’omussaamu ekitiibwa.
7 Dominus enim Deus tuus introducet te in terram bonam, terram rivorum aquarumque et fontium: in cuius campis et montibus erumpunt fluviorum abyssi:
Kubanga Mukama Katonda wo akutwala mu nsi ennungi ennyo: ensi erimu emigga, n’ebidiba, n’ensulo ez’amazzi agakulukutira ku nsozi ne mu biwonvu.
8 terram frumenti, hordei, ac vinearum, in qua ficus, et malogranata, et oliveta nascuntur: terram olei ac mellis.
Ensi omukula eŋŋaano ne sayiri, n’emitiini n’emikomamawanga, ensi ey’emizabbibu n’omubisi gw’enjuki;
9 Ubi absque ulla penuria comedes panem tuum, et rerum omnium abundantia perfrueris: cuius lapides ferrum sunt, et de montibus eius aeris metalla fodiuntur:
ensi, emmere gy’eteebeerenga ya bbula, nga buli ky’oneetaaganga onookifunanga; ensi, ng’ebyuma ge mayinja gaayo, era gy’onoosimanga ekikomo mu nsozi zaayo.
10 ut cum comederis, et satiatus fueris, benedicas Domino Deo tuo pro terra optima, quam dedit tibi.
Awo bw’onoolyanga n’okkuta, weebazenga Mukama Katonda wo olw’okukuwa ensi ennungi bw’etyo.
11 Observa, et cave nequando obliviscaris Domini Dei tui, et negligas mandata eius atque iudicia et ceremonias, quas ego praecipio tibi hodie:
“Weegenderezenga nnyo olemenga kwerabiranga Mukama Katonda wo, ng’ogaananga okukwatanga amateeka ge, n’ebiragiro bye, bye nkulagira leero.
12 ne postquam comederis et satiatus fueris, domos pulchras aedificaveris, et habitaveris in eis,
Si kulwa ng’onoolyanga n’okkuta, ne weezimbiranga amayumba amalungi, n’otereera;
13 habuerisque armenta boum et ovium greges, argenti et auri, cunctarumque rerum copiam,
amagana go n’ebisibo byo nga bigezze, ne zaabu yo ne ffeeza yo nga byaze, nga ne buli kintu ky’onoobanga nakyo nga kyeyongedde okwala,
14 elevetur cor tuum, et non reminiscaris Domini Dei tui, qui eduxit te de Terra Aegypti, de domo servitutis:
kale olwo omutima gwo ne gujjangamu amalala, ne weerabiranga Mukama Katonda wo eyakuggya mu nsi ey’e Misiri mu nnyumba ey’obuddu.
15 et ductor tuus fuit in solitudine magna atque terribili, in qua erat serpens flatu adurens, et scorpio ac dipsas, et nullae omnino aquae: qui eduxit rivos de petra durissima,
Eyakukulemberanga n’akuyisanga mu ddungu eddene era ezzibu ennyo eritiisa, ekkalu omutali tuzzi, nga libunye emisota emikambwe egy’obusagwa, n’enjaba. Eyakuggyira amazzi mu lwazi.
16 et cibavit te Manna in solitudine, quod nescierunt patres tui. Et postquam afflixit ac probavit, ad extremum misertus est tui,
Yakuliisanga emmaanu mu ddungu, emmere bajjajjaabo gye baali batalabangako. Yali ng’akwetoowazisa era nga bw’akugezesa, ku nkomerero biryoke bikugendere bulungi.
17 ne diceres in corde tuo: Fortitudo mea, et robur manus meae, haec mihi omnia praestiterunt.
Weekuumenga, olemenga okulowoozanga mu mutima gwo nti, ‘Obugagga buno bwonna mbufunye olw’obuyinza bwange n’amaanyi g’emikono gyange.’
18 Sed recorderis Domini Dei tui, quod ipse vires tibi praebuerit, ut impleret pactum suum super quo iuravit patribus tuis, sicut praesens indicat dies.
Naye ojjukiranga Mukama Katonda wo, kubanga y’akuwa obuyinza okufuna obugagga, alyoke atuukirize endagaano ye gye yalayirira bajjajjaabo, nga bwe kiri leero.
19 Sin autem oblitus Domini Dei tui, secutus fueris deos alienos, coluerisque illos et adoraveris: ecce nunc praedico tibi quod omnino dispereas.
“Bwe kanaakutandanga ne weerabiranga Mukama Katonda wo, n’ogobereranga bakatonda abalala, n’obasinzanga n’obavuunamiranga, mbategeeza mmwe leero nti ddala ddala mugenda kuzikirira.
20 Sicut Gentes, quas delevit Dominus in introitu tuo, ita et vos peribitis, si inobedientes fueritis voci Domini Dei vestri.
Nga bwe mulaba amawanga Mukama g’azikiriza mu maaso gammwe, nammwe bwe mulizikirira bwe mutyo, bwe mutaligonderanga ddoboozi lya Mukama Katonda wammwe.”

< Deuteronomii 8 >