< Deuteronomii 4 >

1 Et nunc Israel audi praecepta et iudicia, quae ego doceo te: ut faciens ea, vivas, et ingrediens possideas Terram, quam Dominus Deus patrum vestrorum daturus est vobis.
Kale nno kaakano, muwulire, Ayi Isirayiri, mutege amatu eri amateeka n’ebiragiro bye ŋŋenda okubayigiriza. Mubigonderenga era mubigobererenga, muliba balamu, mulyoke muyingire mu nsi Mukama Katonda wa bajjajjammwe gy’abawa mugyetwalire ebeere obutaka bwammwe obw’enkalakkalira.
2 Non addetis ad verbum, quod vobis loquor, nec auferetis ex eo: custodite mandata Domini Dei vestri quae ego praecipio vobis.
Temwongerangako ku mateeka ge mbalagira, so temugatoolangako, naye mukwatenga ebiragiro bya Mukama Katonda wammwe, bye mbategeeza.
3 Oculi vestri viderunt omnia quae fecit Dominus contra Beelphegor, quomodo contriverit omnes cultores eius de medio vestri.
Mwerabirako n’amaaso gammwe gennyini ebyo byonna Mukama bye yakola e Baali Peoli. Abo bonna mu mmwe abaagoberera, era ne basinza Baali e Peoli, Mukama Katonda wo yabazikiriza;
4 Vos autem qui adhaeretis Domino Deo vestro, vivitis universi usque in praesentem diem.
naye mmwe abaanywerera ku Mukama Katonda wammwe, mukyali balamu leero.
5 Scitis quod docuerim vos praecepta atque iustitias, sicut mandavit mihi Dominus Deus meus: sic facietis ea in Terra, quam possessuri estis:
Kale, mulabe nno, mbayigirizza amateeka n’ebiragiro nga Mukama Katonda wange bwe yandagira, mulyoke mubigobererenga nga mutuuse mu nsi gye mugenda okuyingiramu, n’okugyefunira ng’obutaka bwammwe obw’enkalakkalira.
6 et observabitis et implebitis opere. Haec est enim vestra sapientia, et intellectus coram populis, ut audientes universi praecepta haec, dicant: En populus sapiens et intelligens, gens magna.
Mugagobererenga n’obwegendereza, kubanga ekyo kiriraga ensi endala obugezi bwammwe n’obutegeevu bwammwe. Ensi ezo bwe ziriwulira ku mateeka gano gonna zirigamba nti, “Ddala abantu b’eggwanga lino ekkulu bategeevu era ba magezi.”
7 Nec est alia natio tam grandis, quae habeat deos appropinquantes sibi, sicut Deus noster adest cunctis obsecrationibus nostris.
Kubanga ggwanga ki eddala ekkulu erimanyiddwa eririna bakatonda b’abantu baalyo okumpi n’abantu abo, nga ffe bwe tulina Mukama Katonda waffe, abeera okumpi naffe buli lwe tumukoowoola?
8 Quae est enim alia gens sic inclyta ut habeat ceremonias, iustaque iudicia, et universam legem, quam ego proponam hodie ante oculos vestros?
Era ggwanga ki eddala ekkulu erimanyiddwa eririna amateeka n’ebiragiro eby’obwenkanya nga bino bye nteeka mu maaso gammwe leero?
9 Custodi igitur temetipsum, et animam tuam solicite. Ne obliviscaris verborum, quae viderunt oculi tui, et ne excidant de corde tuo cunctis diebus vitae tuae. Docebis ea filios ac nepotes tuos,
“Ekikulu, weekuume nnyo nga weerabirira mu ngeri gye weeyisaamu, olemenga kwerabira ebyo byonna amaaso go bye gazze galaba oleme okubiganya okuva mu mutima gwo ennaku zonna ez’obulamu bwo. Biyigirizenga abaana bo, nabo babiyigirizenga abaana baabwe.
10 a die in quo stetisti coram Domino Deo tuo in Horeb, quando Dominus locutus est mihi dicens: Congrega ad me populum, ut audiant sermones meos, et discant timere me omni tempore quo vivunt in terra, doceantque filios suos.
Kirungi mujjukire nga bwe mwayimirira awali Mukama Katonda wammwe, ku lusozi Kolebu, bwe yaŋŋamba nti, ‘Kuŋŋaanya abantu bonna obandeetere wano we ndi, bawulire ebigambo byange, balyoke bayige okumpulira nga bantya; banzisengamu ekitiibwa ennaku zonna ze balimala ku nsi, era ebigambo ebyo babiyigirizenga abaana baabwe.
11 Et accessistis ad radices montis, qui ardebat usque ad caelum: erantque in eo tenebrae, et nubes, et caligo.
Mwasembera ne muyimirira wansi w’olusozi, ne mulaba nga lwaka omuliro ogwatuukira ddala waggulu ku ggulu, nga gwetooloddwa ebire n’ekizikiza ekikutte.’
12 Locutusque est Dominus ad vos de medio ignis. Vocem verborum eius audistis, et formam penitus non vidistis.
Bw’atyo Mukama Katonda n’ayogera nammwe ng’asinziira wakati mu muliro. Mwawulira envuga y’ebigambo bye, naye ekikula kye temwakiraba; mwakoma ku ddoboozi lyokka.
13 Et ostendit vobis pactum suum, quod praecepit ut faceretis, et decem verba, quae scripsit in duabus tabulis lapideis.
Yabategeeza endagaano ye eyali mu Mateeka Ekkumi, ge yawandiika ku bipande by’amayinja ebibiri, n’abalagira okugagobereranga.
14 Mihique mandavit in illo tempore ut docerem vos ceremonias et iudicia, quae facere deberetis in Terra, quam possessuri estis.
Era mu kaseera ako Mukama Katonda n’andagira mbayigirize amateeka n’ebiragiro bye musaana okugonderanga, nga muli mu nsi gye mugenda okwefunira ng’obutaka bwammwe obw’enkalakkalira, nga mumaze okusomoka Yoludaani.
15 Custodite igitur solicite animas vestras. Non vidistis aliquam similitudinem in die, qua locutus est vobis Dominus in Horeb de medio ignis:
“Ku lunaku olwo Mukama Katonda bwe yayogera gye muli ng’asinziira wakati mu muliro ku lusozi Kolebu, temwalaba kikula kye kya ngeri yonna. Noolwekyo mwekuumenga nnyo,
16 ne forte decepti faciatis vobis sculptam similitudinem, aut imaginem masculi vel feminae,
mulemenga okweyonoona nga mwekolera bakatonda abalala, aba buli ngeri, abali mu bifaananyi ebiri ng’omusajja oba ng’omukazi,
17 similitudinem omnium iumentorum, quae sunt super terram, vel avium sub caelo volantium,
oba ebifaanana ng’ensolo ez’oku nsi, oba ng’ennyonyi ezibuuka mu bbanga,
18 atque reptilium, quae moventur in terra, sive piscium qui sub terra morantur in aquis:
oba ebifaanana ng’ebiramu byonna ebitambulira wansi oba ebyekulula ku ttaka; oba ebifaanana ng’ebyennyanja ebiri mu mazzi agali wansi w’ettaka.
19 ne forte elevatis oculis ad caelum, videas Solem et Lunam, et omnia astra caeli, et errore deceptus adores ea et colas quae creavit Dominus Deus tuus in ministerium cunctis gentibus, quae sub caelo sunt.
Era weekuumenga nnyo bw’onooyimusanga amaaso go okutunula waggulu ku ggulu, n’olaba enjuba, n’omwezi n’emmunyeenye, n’ebitiibwa byabyo, n’osendebwasendebwa n’obiweereza, era n’obivuunamira n’obisinza; songa ebyo byonna bye bintu Mukama Katonda wo bye yawa amawanga gonna agali wansi w’eggulu.
20 Vos autem tulit Dominus, et eduxit de fornace ferrea Aegypti, ut haberet populum hereditarium, sicut est in praesenti die.
Naye mmwe, Mukama yabaggya mu Misiri, mu mbiga esaanuusa ebyuma, mubeerenga bantu be ab’obusika bwe, nga bwe muli leero.
21 Iratusque est Dominus contra me propter sermones vestros, et iuravit ut non transirem Iordanem, nec ingrederer Terram optimam, quam daturus est vobis.
“Ate n’ekirala, Mukama yansunguwalira ku lwammwe, ne yeerayirira nti nze sigenda kusomoka mugga ogwo Yoludaani nnyingire mu nsi eyo ennungi Mukama Katonda wammwe gy’abawa okubeera obusika bwammwe.
22 Ecce moriar in hac humo, non transibo Iordanem: vos transibitis, et possidebitis terram egregiam.
Naye nze kinsaanira okufiira wano mu nsi eno kaakano mwe tuli, sigenda kusomoka mugga Yoludaani; naye mmwe muligusomoka ne mwefunira ensi eyo ennungi okubeera obutaka bwammwe obw’enkalakkalira.
23 Cave ne quando obliviscaris pacti Domini Dei tui, quod pepigit tecum: et facias tibi sculptam similitudinem eorum, quae fieri Dominus prohibuit:
Mwegenderezanga nnyo ne muteerabira ndagaano ya Mukama Katonda wammwe gye yakola nammwe. Temwekoleranga bitali Katonda mu kufaanaanyiriza okw’ekintu kyonna Mukama Katonda wo kye yakugaana okukola.
24 quia Dominus Deus tuus ignis consumens est, Deus aemulator.
Kubanga Mukama Katonda wo muliro ogwokya ne gusaanyaawo, ye Katonda ow’obuggya.
25 Si genueritis filios ac nepotes, et morati fueritis in Terra, deceptique feceritis vobis aliquam similitudinem, patrantes malum coram Domino Deo vestro, ut eum ad iracundiam provocetis:
“Bw’olimala okuzaala abaana ng’ofunye n’abazzukulu, era nga mu nsi omwo mumazeemu emyaka mingi nga mukaddiye; ne mugenda mweyonoonanga nga mwekolera bakatonda abalala ab’engeri zonna, ne mukolanga ebibi mu maaso ga Mukama Katonda wo ne mumusunguwazanga,
26 testes invoco hodie caelum et terram, cito perituros vos esse de Terra, quam transito Iordane possessuri estis. non habitabitis in ea longo tempore, sed delebit vos Dominus,
nkoowoola eggulu n’ensi okubeera abajulirwa bange ku lunaku lwa leero nga mbakuutira mmwe nti, Bwe muneeyonoonanga bwe mutyo, muliggweerawo ddala mu nsi eyo gye mugenda okwefunira okuba obutaka bwammwe, nga mumaze okusomoka Yoludaani. Muligibeeramu akabanga katono ne muzikirizibwa mwenna.
27 atque disperget in omnes gentes, et remanebitis pauci in nationibus, ad quas vos ducturus est Dominus.
Mukama anaabasaasaanyanga mu mawanga amalala, era erisigalayo batono mu mmwe abalibeera mu nsi ezo Mukama Katonda gy’anaabanga abasindiikirizza.
28 ibique servietis diis, qui hominum manu fabricati sunt, ligno et lapidi qui non vident, nec audiunt, nec comedunt, nec odorant.
Nga muli eyo munaasinzanga bakatonda abakolebwa n’emikono gy’abantu, mu miti ne mu mayinja, abatayinza kulaba, oba okuwulira oba okulya, wadde okuwunyiriza.
29 Cumque quaesieris ibi Dominum Deum tuum, invenies eum: si tamen toto corde quaesieris, et tota tribulatione animae tuae.
Naye ng’oli eyo, bw’onoonoonyanga Mukama Katonda wo, onoomulabanga, singa onoomunoonyanga n’omutima gwo gwonna awamu n’omwoyo gwo gwonna.
30 Postquam te invenerint omnia quae praedicta sunt, novissimo autem tempore reverteris ad Dominum Deum tuum, et audies vocem eius.
Ebintu ebyo byonna bwe binaakutuukangako n’olaba ennaku nnyingi, olwo onookomangawo eri Mukama Katonda wo mu biseera eby’oluvannyuma, n’omugonderanga.
31 Quia Deus misericors Dominus Deus tuus est: non dimittet te, nec omnino delebit, neque obliviscetur pacti, in quo iuravit patribus tuis.
Kubanga Mukama Katonda wo ajjudde okusaasira, taakusuulirirenga wadde okukuzikiriza, oba okwerabira endagaano ye gye yakola ne bajjajjaabo gye yabalayiririra.
32 Interroga de diebus antiquis, qui fuerunt ante te ex die quo creavit Deus hominem super terram, a summo caelo usque ad summum eius, si facta est aliquando huiuscemodi res, aut umquam cognitum est,
“Kale, weebuuze leero ku byafaayo eby’ebiro eby’edda, nga naawe tonnabeerawo, okuva ku lunaku Katonda lwe yatonderako omuntu n’amuteeka ku nsi; weebuuze okuva ku luuyi olumu olw’eggulu okutuuka ku luuyi olulala. Waali wabaddewo ekintu ekikulu nga kino, oba waali wabaddewo akiwulirako?
33 ut audiret populus vocem Dei loquentis de medio ignis, sicut tu audisti, et vidisti:
Abantu abamawanga amalala baali bawuliddeko ku ddoboozi lya Katonda ng’ayogerera mu muliro, ne basigala nga bakyali balamu, nga mmwe bwe mwaliwulira ne muba balamu?
34 si fecit Deus ut ingrederetur, et tolleret sibi Gentem de medio nationum, per tentationes, signa, atque portenta, per pugnam, et robustam manum, extentumque brachium, et horribiles visiones iuxta omnia, quae fecit pro vobis Dominus Deus vester in Aegypto, videntibus oculis tuis:
Nantiki, waali wabaddewo katonda eyali agezezzaako okwetwalira eggwanga erimu ng’aliggya wakati mu ggwanga eddala, ng’ataddewo ebigezo, n’okukola ebyamagero, n’obubonero, n’ebyewuunyo, n’entalo, ng’alaga omukono gwe ogw’amaanyi, n’omukono gwe omuwanvu; oba n’ebikolwa ebinene ebitiisa, okufaanana ng’ebintu Mukama Katonda wammwe bye yabakolera nga muli mu Misiri, nga mwenna mutunula?
35 ut scires quoniam Dominus ipse est Deus, et non est alius praeter eum.
“Walagibwa ebintu ebyo byonna olyoke otegeere nga Mukama ye Katonda; era nga awatali ye tewali mulala.
36 De caelo te fecit audire vocem suam, ut doceret te, et in terra ostendit tibi ignem suum maximum, et audisti verba illius de medio ignis,
Yakuleka n’owulira eddoboozi lye nga liva mu ggulu alyoke akuyigirize. Yakulaga omuliro gwe omungi ennyo ku nsi, n’owulira ebigambo bye nga biva mu muliro ogwo.
37 quia dilexit patres tuos, et elegit semen eorum post eos. Eduxitque te praecedens in virtute sua magna ex Aegypto,
Olw’okubanga yayagala nnyo bajjajjaabo naawe muzzukulu waabwe eyabaddirira, yakuggya mu nsi y’e Misiri ng’akozesa obuyinza bwe obungi.
38 ut deleret nationes maximas et fortiores te in introitu tuo: et introduceret te, daretque tibi terram earum in possessionem, sicut cernis in praesenti die.
Yakuwangulira amawanga amakulu era agakusinga ggwe amaanyi, alyoke akuyingize mu nsi yaabwe, era agikuwe ggwe okubeeranga obusika bwo nga bwe kiri leero.
39 Scito ergo hodie, et cogitato in corde tuo quod Dominus ipse est Deus in caelo sursum, et in terra deorsum, et non sit alius.
“Noolwekyo osaana okitegeerere ddala okuva ku lunaku lwa leero, era okinywereze ddala mu mutima gwo nti Mukama ye Katonda yekka ali waggulu mu ggulu ne wansi ku nsi; so tewali mulala.
40 Custodi praecepta eius atque mandata, quae ego praecipio tibi: ut bene sit tibi, et filiis tuis post te, et permaneas multo tempore super Terram, quam Dominus Deus tuus daturus est tibi.
Kale, mugonderenga amateeka ge n’ebiragiro bye, bye nkulagira leero; olwo nno eby’obulamu bwo n’embeera yo biryoke bikugenderenga bulungi, ggwe n’ezzadde lyo eririddawo; bw’otyo olyoke owangaalenga ng’oli mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa okubeeranga obutaka bwo obw’enkalakkalira.”
41 Tunc separavit Moyses tres civitates trans Iordanem ad Orientalem plagam,
Awo Musa n’ayawula ebibuga bisatu ku luuyi olw’ebuvanjuba olw’omugga Yoludaani,
42 ut confugiat ad eas qui occiderit nolens proximum suum, nec sibi fuerit inimicus ante unum et alterum diem, et ad harum aliquam urbium possit evadere:
nga mu bibuga ebyo, omuntu yenna anaabanga asse muntu munne nga tagenderedde, mw’anaddukiranga, kubanga munne anaabanga amusse mu butanwa nga tamuliiko kiruyi kubanga tabangako mulabe we; anaddukiranga mu kimu ku bibuga ebyo yeewonye naye okuttibwa.
43 Bosor in solitudine, quae sita est in terra campestri de tribu Ruben: et Ramoth in Galaad, quae est in tribu Gad: et Golan in Basan, quae est in tribu Manasse.
Bino bye byali ebibuga ebyo: Bezeri, nga kiri mu ddungu mu nsi engulumivu kyokka nga waggulu mbyabyatavu, nga kye ky’Abalewubeeni; ne Lamusi mu Gireyaadi, nga kye ky’Abagaadi; ne Golani mu Basani, nga ky’ekitundu ky’Abamanase abaagabana oluuyi olwo.
44 Ista est lex, quam proposuit Moyses coram filiis Israel,
Gano ge mateeka Musa ge yateeka mu maaso g’abaana ba Isirayiri,
45 et haec testimonia et ceremoniae atque iudicia, quae locutus est ad filios Israel, quando egressi sunt de Aegypto,
era ono ye kalonda w’obujulirwa, n’amateeka, n’ebiragiro, Musa bye yategeeza abaana ba Isirayiri nga bavudde mu Misiri,
46 trans Iordanem in valle contra fanum Phogor in terra Sehon regis Amorrhaei, qui habitavit in Hesebon, quem percussit Moyses. Filii quoque Israel egressi ex Aegypto
nga bali mu kiwonvu ekiriraanye Besu Peoli ku buvanjuba bw’omugga Yoludaani, mu nsi eya Sikoni kabaka w’Abamoli, eyafugiranga mu Kesuboni, Musa n’abaana ba Isirayiri gwe baali bamaze okuwangula nga bavudde mu nsi ey’e Misiri.
47 possederunt terram eius, et terram Og regis Basan, duorum regum Amorrhaeorum, qui erant trans Iordanem ad solis ortum:
Ensi eyo baali bagitutte awamu n’ensi ya Ogi kabaka wa Basani, abo nga be bakabaka ababiri abaabanga ku luuyi olw’ebuvanjuba olw’omugga Yoludaani.
48 Ab Aroer, quae sita est super ripam torrentis Arnon, usque ad montem Sion, qui est et Hermon,
Ensi eyo yali eva ku Aluweri ekiri ku njegoyego y’Ekiwonvu Alunoni n’okutuuka ku lusozi olunene Siriyoni era olwo ye Kerumooni,
49 omnem planitiem trans Iordanem ad Orientalem plagam, usque ad mare solitudinis, et usque ad radices montis Phasga.
n’ezingiramu ne Alaba ekiri ku luuyi olw’ebuvanjuba obwa Yoludaani, okutuukira ddala ku Nnyanja ya Alaba, ye Nnyanja ey’Omunnyo, wansi w’olugulungujjo lw’olusozi Pisuga.

< Deuteronomii 4 >