< Colossenes 1 >
1 Paulus Apostolus Iesu Christi per voluntatem Dei, et Timotheus frater:
Nze Pawulo, omutume wa Kristo Yesu olw’okwagala kwa Katonda, wamu ne Timoseewo owooluganda,
2 eis, qui sunt Colossis, sanctis, et fidelibus fratribus in Christo Iesu.
tuwandiikira abantu ba Katonda, abatukuvu era abooluganda abeesigwa mu Kristo ab’e Kkolosaayi, nti ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe bibeerenga nammwe.
3 Gratia vobis, et pax a Deo Patre nostro, et Domino Iesu Christo. Gratias agimus Deo, et Patri Domini nostri Iesu Christi semper pro vobis orantes:
Buli bwe tubasabira, twebaza Katonda, Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo.
4 audientes fidem vestram in Christo Iesu, et dilectionem, quam habetis in sanctos omnes
Twawulira okukkiriza kwe mulina mu Kristo Yesu, n’okwagala kwe mulina eri abantu ba Katonda bonna, abatukuvu,
5 propter spem, quae reposita est vobis in caelis: quam audistis in verbo veritatis Evangelii:
olw’essuubi eryabategekerwa mu ggulu, lye mwawulirako mu kigambo eky’amazima, ye Enjiri.
6 quod pervenit ad vos, sicut et in universo mundo est, et fructificat, et crescit sicut in vobis, ex ea die, qua audistis, et cognovistis gratiam Dei in veritate,
Enjiri yajja gye muli, era ebunye mu nsi yonna ng’ebala ebibala era nga yeeyongera okukula. Okuviira ddala lwe mwasooka okugiwulira, ne mutegeerera ddala amazima agali mu kisa kya Katonda, Enjiri ebadde yeeyongera okubuna mu mmwe.
7 sicut didicistis ab Epaphra charissimo conservo nostro, qui est fidelis pro vobis minister Christi Iesu,
Epafula muddu munnaffe omwagalwa omuweereza wa Kristo omwesigwa gye muli, eyabatuusaako Enjiri eyo,
8 qui etiam manifestavit nobis dilectionem vestram in spiritu:
ye yatubuulira okwagala kwe mulina mu Mwoyo.
9 ideo et nos ex qua die audivimus, non cessamus pro vobis orantes, et postulantes ut impleamini agnitione voluntatis eius, in omni sapientia et intellectu spiritali:
Noolwekyo, okuviira ddala ku lunaku lwe twawulira ebibafaako, tetulekangayo kubasabira na kubeegayiririra mujjuzibwe okumanya Katonda by’ayagala mu magezi gonna ne mu kutegeera okw’omwoyo.
10 ut ambuletis digne Deo per omnia placentes: in omni opere bono fructificantes, et crescentes in scientia Dei:
Era tweyongera okubasabira, mutambulenga nga musiimibwa Mukama era nga mumusanyusa mu buli byonna bye mukola, era nga mubala ebibala mu buli mulimu omulungi, era nga mukula mu kutegeera Katonda.
11 in omni virtute confortati secundum potentiam claritatis eius in omni patientia, et longanimitate cum gaudio
Amaanyi ag’ekitiibwa kye, galibafuula abagumiikiriza mu buli nsonga yonna, mulyoke musanyuke,
12 gratias agentes Deo et Patri, qui dignos nos fecit in partem sortis sanctorum in lumine:
nga mwebaza Kitaffe eyatusaanyiza okugabana ku birungi bye yategekera abantu be abatukuvu ab’obwakabaka obw’ekitangaala.
13 qui eripuit nos de potestate tenebrarum, et transtulit in regnum filii dilectionis suae,
Katonda eyatuwonya n’atuggya mu maanyi g’ekizikiza aga Setaani, n’atutwala mu bwakabaka bw’Omwana we omwagalwa,
14 in quo habemus redemptionem et remissionem peccatorum:
atusonyiwa ebibi byaffe, n’atufuula ba ddembe.
15 qui est imago Dei invisibilis, primogenitus omnis creaturae:
Mu ye mwe tulabira Katonda oyo atalabika, era ye yasooka okubeerawo nga byonna tebinnabaawo.
16 quoniam in ipso condita sunt universa in caelis, et in terra, visibilia, et invisibilia, sive throni, sive dominationes, sive principatus, sive potestates: omnia per ipsum, et in ipso creata sunt:
Mu ye ebintu byonna mwe byatondebwa mu ggulu ne ku nsi, ebirabika n’ebitalabika oba ntebe za bwakabaka oba bwami, oba bafuzi oba ab’obuyinza; ebintu byonna byatondebwa nga biyita mu ye era ku lulwe.
17 et ipse est ante omnes, et omnia in ipso constant.
Kristo yaliwo nga byonna tebinnabaawo, era mu ye ebintu byonna mwe binywezebwa.
18 Et ipse est caput corporis Ecclesiae, qui est principium, primogenitus ex mortuis: ut sit in omnibus ipse primatum tenens.
Ye gwe mutwe gw’omubiri, n’omubiri ogwo ye Kkanisa. Ye mubereberye, era ye yasooka okuzuukira mu bafu, alyoke abeerenga omubereberye mu byonna.
19 quia in ipso complacuit, omnem plenitudinem inhabitare:
Katonda yasiima okutuukiriza byonna mu ye,
20 et per eum reconciliare omnia in ipsum, pacificans per sanguinem crucis eius, sive quae in terris, sive quae in caelis sunt.
era mu ye ebintu byonna bitabaganyizibwa gy’ali. Yaleetawo emirembe olw’omusaayi gwe, ogwayika ku musaalaba, alyoke atabaganye eby’ensi n’eby’omu ggulu.
21 Et vos cum essetis aliquando alienati, et inimici sensu in operibus malis:
Edda temwali kumpi ne Katonda, era ebirowoozo byammwe n’ebikolwa byammwe ebibi bye byabalabisa ng’abakyawa Katonda.
22 nunc autem reconciliavit in corpore carnis eius per mortem, ut exhiberet vos sanctos, et immaculatos, et irreprehensibiles coram ipso:
Naye kaakano mutabaganye ne Kristo olw’okufa kwe, abanjuleyo mu maaso ga Katonda nga muli batukuvu era abataliiko bbala wadde ekyokunenyezebwa.
23 si tamen permanetis in fide fundati, et stabiles, et immobiles a spe Evangelii, quod audistis, quod praedicatum est in universa creatura, quae sub caelo est, cuius factus sum ego Paulus minister.
Muteekwa okubeerera ddala mu kukkiriza nga munywedde era nga temusagaasagana okuva mu ssuubi ery’Enjiri gye mwawulira, eyabuulirwa abantu bonna abali ku nsi, nze Pawulo gye nafuukira omuweereza waayo.
24 Qui nunc gaudeo in passionibus pro vobis, et adimpleo ea, quae desunt passionem Christi, in carne mea pro corpore eius, quod est Ecclesia:
Kaakano nsanyuka olw’okubonaabona kwe mbonaabona ku lwammwe. Era kindeetera essanyu, kubanga ntuukiriza okubonaabona kwa Kristo mu mubiri gwange, nga mbonaabona ku lw’omubiri gwe, ye Kkanisa.
25 cuius factus sum ego minister secundum dispensationem Dei, quae data est mihi in vobis, ut impleam verbum Dei:
Katonda yateekateeka okunfuula omuweereza w’Ekkanisa ye ku lwammwe, ndyoke mbabuulire ekigambo kya Katonda mu bujjuvu.
26 mysterium, quod absconditum fuit a saeculis, et generationibus, nunc autem manifestatum est sanctis eius, (aiōn )
Ekyama ekyakwekebwa okuva edda n’edda lyonna, n’emirembe n’emirembe, kaakano kibikkuliddwa abantu be, be batukuvu be. (aiōn )
27 quibus voluit Deus notas facere divitias gloriae sacramenti huius in Gentibus, quod est Christus, in vobis spes gloriae,
Katonda bw’atyo bwe yasiima, alyoke amanyise Abaamawanga obugagga obw’ekitiibwa ky’ekyama ekyo. Ekyama ekyo ye Kristo abeera mu mmwe, era ly’essuubi ery’ekitiibwa.
28 quem nos annunciamus, corripientes omnem hominem, et docentes omnem hominem, in omni sapientia, ut exhibeamus omnem hominem perfectum in Christo Iesu.
Kristo oyo gwe tutegeeza nga tuyigiriza buli muntu mu magezi gonna era nga tulabula buli omu, tulyoke twanjule buli muntu eri Katonda ng’atuukiridde mu Kristo.
29 in quo et laboro, certando secundum operationem eius, quam operatur in me in virtute.
Kyenva ntegana nga nfuba nga nkozesa obuyinza Katonda bw’ampa obw’amaanyi.