< Amos Propheta 1 >
1 Verba Amos, qui fuit in pastoralibus Thecue: quae vidit super Israel in diebus Oziae regis Iuda, et in diebus Ieroboam filii Ioas regis Israel, ante duos annos terraemotus.
Bino bye bigambo Amosi eyali omu ku balunzi b’endiga mu bitundu by’e Tekowa bye yabikkulirwa, musisi amale ajje nga wakayitawo emyaka ebiri, mu mirembe gya Uzziya kabaka wa Yuda, era nga gy’emirembe gya kabaka Yerobowaamu mutabani wa Yowaasi nga y’afuga Isirayiri.
2 Et dixit: Dominus de Sion rugiet, et de Ierusalem dabit vocem suam: et luxerunt speciosa pastorum, et exiccatus est vertex Carmeli.
Amosi yagamba nti, “Mukama awuluguma ng’asinziira mu Sayuuni, era eddoboozi lye liwulirwa nga libwatukira mu Yerusaalemi; omuddo mu malundiro gulikala n’entikko y’olusozi Kalumeeri erisigala njereere.”
3 Haec dicit Dominus: Super tribus sceleribus Damasci, et super quattuor non convertam eum: eo quod trituraverint in plaustris ferreis Galaad.
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Olw’ebyonoono bya Ddamasiko ebisatu, weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange. Kubanga baabonereza nnyo abantu b’e Gireyaadi nga babasalaasala n’ebyuma.
4 Et mittam ignem in domum Azael, et devorabit domos Benadad.
Ndiweereza omuliro mu lubiri lwa kabaka Kazayeeri era njokye n’ebigo bya kabaka Benikadadi.
5 Et conteram vectem Damasci: et disperdam habitatorem de campo idoli, et tenentem sceptrum de domo voluptatis: et transferetur populus Syriae Cyrenen, dicit Dominus.
Era ndimenya enzigi z’ekibuga Ddamasiko era ndizikiriza kabaka ali mu Kiwonvu ky’e Aveni, oyo akwata omuggo ogw’obwakabaka mu Besiadeni. Abantu b’e Busuuli balitwalibwa mu buwaŋŋanguse mu Kiri,” bw’ayogera Mukama.
6 Haec dicit Dominus: Super tribus sceleribus Gazae, et super quattuor non convertam eum: eo quod transtulerint captivitatem perfectam, ut concluderent eam in Idumaea.
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Olw’ebyonoono bya Gaza ebisatu, weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange. Kubanga yatwala eggwanga ddamba mu busibe n’alitunda eri Edomu.
7 Et mittam ignem in murum Gazae, et devorabit aedes eius.
Ndiweereza omuliro ku bbugwe wa Gaza ogulyokya ebigo byakyo.
8 Et disperdam habitatorem de Azoto, et tenentem sceptrum de Ascalone: et convertam manum meam super Accaron, et peribunt reliqui Philisthinorum, dicit Dominus Deus.
Ndizikiriza atuula mu Asudodi, n’oyo akwata omuggo gw’obwakabaka ndimumalawo okuva mu Asukulooni. Ndibonereza Ekuloni okutuusa lwe ndimalirawo ddala Abafirisuuti,” bw’ayogera Mukama.
9 Haec dicit Dominus: Super tribus sceleribus Tyri, et super quattuor non convertam eum: eo quod concluserint captivitatem perfectam in Idumaea, et non sint recordati foederis fratrum.
Mukama bw’ati bw’ayogera nti, “Olw’ebyonoono bya Ttuulo ebisatu, weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange. Kubanga yatunda eggwanga ddamba erya Edomu mu busibe n’amenya endagaano ey’obwaseruganda eyali ekoleddwa,
10 Et mittam ignem in murum Tyri, et devorabit aedes eius.
kyenaava mpeereza omuliro ku bbugwe wa Ttuulo, ogunaayokya ebigo byakyo.”
11 Haec dicit Dominus: Super tribus sceleribus Edom, et super quattuor non convertam eum: eo quod persecutus sit in gladio fratrem suum, et violaverit misericordiam eius, et tenuerit ultra furorem suum, et indignationem suam servaverit usque in finem.
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Olw’ebyonoono bya Edomu ebisatu, weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange. Kubanga yayigganya muganda we n’ekitala awatali kusaasira, obusungu bwabwe ne bubuubuuka obutakoma era ne batabusalako.
12 Mittam ignem in Theman: et devorabit aedes Bosrae.
Ndiweereza omuliro ku Temani oguliyokya ebigo bya Bozula.”
13 Haec dicit Dominus: Super tribus sceleribus filiorum Ammon, et super quattuor non convertam eum: eo quod dissecuerit praegnantes Galaad ad dilatandum terminum suum.
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Olw’ebyonoono bya Amoni ebisatu weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange. Mu ntalo ez’okugaziya ensi ye, yabaaga abakazi abaali embuto ab’e Giriyaadi.
14 Et succendam ignem in muro Rabbath: et devorabit aedes eius in ululatu in die belli, et in turbine in die commotionis.
Ndiweereza omuliro ku bbugwe wa Labba, era gulyokya ebigo byakyo. Walibaawo n’oluyoogaano olunene ku lunaku olw’olutalo mu mpewo ey’amaanyi, kibuyaga ng’akunta.
15 Et ibit Melchom in captivitatem, ipse, et principes eius simul, dicit Dominus.
Kabaka waakyo alitwalibwa mu buwaŋŋanguse, ye n’abakungu be bonna,” bw’ayogera Mukama.