< Amos Propheta 3 >

1 Audite verbum, quod locutus est Dominus super vos, filii Israel: super omnem cognationem, quam eduxi de Terra Aegypti, dicens:
Muwulire ekigambo kino Mukama ky’aboogerako mmwe abaana ba Isirayiri, ennyumba yonna gye naggya mu Misiri.
2 Tantummodo vos cognovi ex omnibus cognationibus terrae: idcirco visitabo super vos omnes iniquitates vestras.
“Mu bantu bonna abali ku nsi, mmwe mwekka be nalonda. Kyendiva mbabonereza olw’ebibi byammwe byonna.”
3 Numquid ambulabunt duo pariter, nisi convenerit eis?
Abantu ababiri bayinza okutambulira awamu wabula nga bakkiriziganyizza?
4 Numquid rugiet leo in saltu, nisi habuerit praedam? numquid dabit catulus leonis vocem de cubili suo, nisi aliquid apprehenderit?
Empologoma ewulugumira mu kisaka nga terina muyiggo? Empologoma ento ekaabira mu mpuku yaayo nga teriiko ky’ekutte?
5 numquid cadet avis in laqueum terrae absque aucupe? numquid auferetur laqueus de terra antequam quid ceperit?
Akanyonyi kayinza okugwa mu mutego nga tewali kikasikirizza? Omutego gumasuka nga teguliiko kye gukwasizza?
6 Si clanget tuba in civitate, et populus non expavescet? si erit malum in civitate, quod Dominus non fecerit?
Akagombe kavugira mu kibuga abantu ne batatya? Akabenje kagwa mu kibuga nga Mukama si y’akaleese?
7 Quia non facit Dominus Deus verbum, nisi revelaverit secretum suum ad servos suos prophetas.
Naye ddala Mukama Katonda takola kintu kyonna nga tasoose kukibikkulira baweereza be, bannabbi.
8 Leo rugiet, quis non timebit? Dominus Deus locutus est, quis non prophetabit?
Empologoma ewulugumye, ani ataatye? Mukama Katonda ayogedde ani ataawe bubaka bwe?
9 Auditum facite in aedibus Azoti, et in aedibus Terrae Aegypti: et dicite: Congregamini super montes Samariae, et videte insanias multas in medio eius, et calumniam patientes in penetralibus eius.
Langirira eri ebigo by’e Asudodi n’eri ebigo by’e Misiri nti, “Mujje mukuŋŋaanire ku nsozi z’e Samaliya mulabe akajagalalo akanene akali eyo n’abantu be nga bwe bajoogebwa.”
10 Et nescierunt facere rectum, dicit Dominus, thesaurizantes iniquitatem, et rapinas in aedibus suis.
Mukama agamba nti, “Abantu abajjuzza ebigo byabwe n’ebintu ebinyage, tebamanyi kukola kituufu.”
11 Propterea haec dicit Dominus Deus: Tribulabitur et circuietur terra: et detrahetur ex te fortitudo tua, et diripientur aedes tuae.
Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “Omulabe alirumba ensi, n’amenyaamenya ebigo byo eby’amaanyi era n’abinyagulula.”
12 Haec dicit Dominus: Quomodo si eruat pastor de ore leonis duo crura, aut extremum auriculae: sic eruentur filii Israel, qui habitant in Samaria in plaga lectuli, et in Damasci grabato.
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Ng’omusumba bw’agezaako okutaasa endiga ye okuva mu kamwa k’empologoma n’asikayo amagulu abiri obubiri n’ekitundu ky’okutu, bwe batyo Abayisirayiri bwe balinunulibwa, abo abatuula mu Samaliya ku nkomerero y’ebitanda byabwe ne ku bitanda byabwe mu Ddamasiko.
13 Audite, et contestamini in domo Iacob, dicit Dominus Deus exercituum:
“Muwulirize kino era mulumirize enju ya Yakobo yonna,” bw’ayogera Mukama Katonda Ayinzabyonna.
14 quia in die cum visitare coepero praevaricationes Israel, super eum visitabo, et super altaria Bethel: et amputabuntur cornua altaris, et cadent in terram.
“Ku lunaku lwe lumu lwe ndibonereza Isirayiri olw’ebibi bye, ndisaanyaawo ebyoto by’e Beseri, n’amayembe g’ekyoto galisalibwako ne gagwa wansi.
15 Et percutiam domum hiemalem cum domo aestiva: et peribunt domus eburneae, et dissipabuntur aedes multae, dicit Dominus.
Era ndisaanyaawo ennyumba ebeerwamu mu biseera eby’obutiti, awamu n’ennyumba ebeerwamu mu biseera ey’ebbugumu; era ndimenyaamenya n’ennyumba ezayolebwa n’amasanga, ne nsanyaawo n’embiri,” bw’ayogera Mukama.

< Amos Propheta 3 >