< Ii Samuelis 21 >

1 Facta est quoque fames in diebus David tribus annis iugiter: et consuluit David oraculum Domini. Dixitque Dominus: Propter Saul, et domum eius sanguinum, quia occidit Gabaonitas.
Awo mu mirembe gya Dawudi ne waba enjala okumala emyaka esatu, Dawudi ne yeeyongera nnyo okunoonya Mukama. Mukama n’ayogera nti, “Ennyumba ya Sawulo ejjudde omusaayi, kubanga yatta Abagibyoni.”
2 Vocatis ergo Gabaonitis rex, dixit ad eos. (Porro Gabaonitae non erant de filiis Israel, sed reliquiae Amorrhaeorum: filii quippe Israel iuraverant eis, et voluit Saul percutere eos zelo, quasi pro filiis Israel et Iuda.)
Kabaka n’akuŋŋaanya Abagibyoni n’ayogera gye bali. (Abagibyoni tebaali Bayisirayiri naye baali bakaawonawo ab’oku baana b’Abamoli. Abayisirayiri baali babalayiridde obutabakola kabi, naye Sawulo olw’obuggya bwe yalina n’agezaako okubazikiriza ku lwa Isirayiri ne Yuda.)
3 Dixit ergo David ad Gabaonitas: Quid faciam vobis? et quod erit vestri piaculum, ut benedicatis hereditati Domini?
Dawudi n’abuuza Abagibyoni nti, “Mbakolere ki? Nnaabatangirira ntya, mmwe okuwa Isirayiri, obusika bwa Mukama omukisa?”
4 Dixeruntque ei Gabaonitae: Non est nobis super argento et auro quaestio, sed contra Saul, et contra domum eius: neque volumus ut interficiatur homo de Israel. Ad quos rex ait: Quid ergo vultis ut faciam vobis?
Abagibyoni ne bamuddamu nti, “Kye twetaaga okuva eri Sawulo oba ennyumba ye, si kigambo kya ffeeza oba zaabu, so tetulina buyinza kutta muntu yenna mu Isirayiri.” Dawudi n’ababuuza nti, “Kiki kye mwagala mbakolere?”
5 Qui dixerunt regi: Virum, qui attrivit nos et oppressit inique, ita delere debemus, ut ne unus quidem residuus sit de stirpe eius in cunctis finibus Israel.
Ne baddamu kabaka nti, “Ku lw’omusajja eyatuyigganyanga n’ayagala okutuuzikiriza, ne tubulwako ne we tubeera mu Isirayiri,
6 Dentur nobis septem viri de filiis eius, ut crucifigamus eos Domino in Gabaa Saul, quondam electi Domini. Et ait rex: Ego dabo.
tuwe musanvu ku batabani be tubatte tubaanike mu maaso ga Mukama e Gibea ekya Sawulo, omulonde wa Mukama.” Kabaka n’ayogera nti, “Ndibabawa.”
7 Pepercitque rex Miphiboseth filio Ionathae filii Saul, propter iusiurandum Domini, quod fuerat inter David et inter Ionathan filium Saul.
Kabaka n’alekawo Mefibosesi mutabani wa Yonasaani, mutabani wa Sawulo.
8 Tulit itaque rex duos filios Respha filiae Aia, quos peperit Sauli, Armoni, et Miphiboseth: et quinque filios Michol filiae Saul, quos genuerat Hadrieli filio Berzellai, qui fuit de Molathi,
Naye kabaka n’addira Alumoni ne Mefibosesi batabani ba Lizupa muwala wa Aya bombi be yazaalira Sawulo, ne batabani ba Mikali muwala wa Sawulo be yazaalira Abuliyeri mutabani wa Baluzirayi Omumekolasi Sawulo be yalabiriranga bataano, n’abawaayo.
9 et dedit eos in manus Gabaonitarum: qui crucifixerunt eos in monte coram Domino: et ceciderunt hi septem simul occisi in diebus messis primis, incipiente messione hordei.
N’abawaayo eri Abagibyoni, ne babatta ne babaanika ku lusozi mu maaso ga Mukama. Bonna omusanvu ne battibwa mu nnaku ezaasooka ez’amakungula nga batandika amakungula ga sayiri.
10 Tollens autem Respha filia Aia, cilicium substravit sibi supra petram ab initio messis, donec stillaret aqua super eos de caelo: et non dimisit aves lacerare eos per diem, neque bestias per noctem.
Lizupa muwala wa Aya n’addira ebibukutu, n’abyaliira ku lwazi, okuva ku ntandikwa ey’amakungula okutuusa enkuba lwe yatonnya okuva mu ggulu, n’ataganya nnyonyi za mu bbanga newaakubadde ensolo enkambwe okulya emirambo gyabwe emisana oba ekiro.
11 Et nunciata sunt David quae fecerat Respha, filia Aia, concubina Saul.
Dawudi bwe yategeezebwa, Lizupa omuzaana wa Sawulo, muwala wa Aya, kye yakola,
12 Et abiit David, et tulit ossa Saul, et ossa Ionathae filii eius a viris Iabes Galaad, qui furati fuerant ea de platea Bethsan, in qua suspenderant eos Philisthiim cum interfecissent Saul in Gelboe:
n’agenda, n’aggya amagumba ga Sawulo n’aga mutabani we Yonasaani ku bantu ab’e Yabesugireyaadi, Abafirisuuti gye baagawanika, ku lunaku kwe battira Sawulo e Girubowa, abaali bagatutte mu bubba mu kifo ekigazi eky’abantu bonna e Besusani.
13 et asportavit inde ossa Saul, et ossa Ionathae filii eius: et colligentes ossa eorum, qui affixi fuerant,
Dawudi n’aggyayo amagumba ga Sawulo n’aga mutabani we Yonasaani, n’agakuŋŋaanya n’amagumba g’abo abattibwa ne baanikibwa.
14 sepelierunt ea cum ossibus Saul et Ionathae filii eius in Terra Beniamin, in latere, in sepulchro Cis patris eius: feceruntque omnia, quae praeceperat rex, et repropitiatus est Deus terrae post haec.
Ne baziika amagumba ga Sawulo n’aga mutabani we Yonasaani mu ntaana ya Kiisi kitaawe wa Sawulo, e Zeera mu nsi ya Benyamini, ne bakola byonna kabaka bye yalagira. Oluvannyuma Katonda n’addamu okusaba kw’ensi.
15 Factum est autem rursum praelium Philisthinorum adversum Israel, et descendit David, et servi eius cum eo, et pugnabant contra Philisthiim. Deficiente autem David,
Ne waba nate olutalo wakati w’Abafirisuuti n’Abayisirayiri. Dawudi n’aserengeta n’abasajja be okulwana n’Abafirisuuti, n’akoowa nnyo.
16 Iesbibenob, qui fuit de genere arapha, cuius ferrum hastae trecentas uncias appendebat, et accinctus erat ense novo, nisus est percutere David.
Awo Isubibenobu omu ku bazzukulu b’agasajja agawanvu yalina effumu ng’obuzito bw’omutwe gw’alyo kilo ssatu n’ekitundu ng’alina n’ekitala ekiggya, n’ayogera nti agenda okutta Dawudi.
17 Praesidioque ei fuit Abisai filius Sarviae, et percussum Philisthaeum interfecit. Tunc iuraverunt viri David, dicentes: Iam non egredieris nobiscum in bellum, ne extinguas lucernam Israel.
Naye Abisaayi mutabani wa Zeruyiya n’adduukirira Dawudi, n’alumba Omufirisuuti, n’amutta. Awo abasajja ba Dawudi ne bamulayirira nti, “Tokyatabaala naffe ettaala ya Isirayiri ereme okuzikira.”
18 Secundum quoque bellum fuit in Gob contra Philisthaeos: tunc percussit Sobochai de Husati, Saph de stirpe arapha de genere gigantum.
Bwe waayitawo ebbanga ne wabaawo olutalo olulala n’Abafirisuuti e Gobu. Sibbekayi Omukusasi n’atta Safu omu ku bazzukulu b’agasajja gali agawanvu.
19 Tertium quoque fuit bellum in Gob contra Philisthaeos, in quo percussit Adeodatus filius Saltus polymitarius Bethlehemites Goliath Gethaeum, cuius hastile hastae erat quasi liciatorium texentium.
Ne wabaawo nate olutalo olulala n’Abafirisuuti e Gobu, Erukanani mutabani wa Yayiri Omubesirekemu n’atta muganda wa Goliyaasi Omugitti eyalina olunyago lw’effumu olwali ng’omuti ogulukirwako engoye.
20 Quartum bellum fuit in Geth: in quo vir fuit excelsus, qui senos in manibus pedibusque habebat digitos, id est viginti quattuor, et erat de origine arapha.
Ne waba olutalo olulala e Gaasi, ne wabaayo omusajja omuwanvu ennyo eyalina engalo mukaaga ku buli mukono n’ebigere mukaaga ku buli kigere, byonna awamu abiri mu bina. Era naye yali muzzukulu w’agasajja gali agawanvu ennyo.
21 Et blasphemavit Israel: percussit autem eum Ionathan filius Samaa fratris David.
Bwe yasoomooza Isirayiri, Yonasaani mutabani wa Simeeya, muganda wa Dawudi, n’amutta.
22 Hi quattuor nati sunt de arapha in Geth, et ceciderunt in manu David, et servorum eius.
Abo abana baali bazzukulu b’agasajja gali agawanvu ennyo mu Gaasi, era bonna ne bagwa mu mukono gwa Dawudi ne basajja be.

< Ii Samuelis 21 >