< Psalmorum 32 >

1 Ipsi David intellectus. Beati quorum remissæ sunt iniquitates, et quorum tecta sunt peccata.
Zabbuli ya Dawudi. Alina omukisa oyo asonyiyiddwa ebyonoono bye ekibi ne kiggyibwawo.
2 Beatus vir cui non imputavit Dominus peccatum, nec est in spiritu ejus dolus.
Alina omukisa omuntu oyo Mukama gw’atakyabalira kibi kye, ne mu mutima gwe nga temuli bukuusa.
3 Quoniam tacui, inveteraverunt ossa mea, dum clamarem tota die.
Bwe nasirikiranga ekibi kyange, ne nkogga, kubanga nasindanga olunaku lwonna.
4 Quoniam die ac nocte gravata est super me manus tua, conversus sum in ærumna mea, dum configitur spina.
Wambonerezanga emisana n’ekiro, amaanyi ne ganzigwamu ng’amazzi bwe gakalira mu kyeya.
5 Delictum meum cognitum tibi feci, et injustitiam meam non abscondi. Dixi: Confitebor adversum me injustitiam meam Domino; et tu remisisti impietatem peccati mei.
Awo ne nkwatulira ekibi kyange, ne sibikkirira kwonoona kwange. Ne njogera nti, “Leka neenenyeze Mukama ebibi byange.” Bw’otyo n’onsonyiwa, n’onziggyako omusango gw’ebibi byange.
6 Pro hac orabit ad te omnis sanctus in tempore opportuno. Verumtamen in diluvio aquarum multarum, ad eum non approximabunt.
Noolwekyo abaweereza bo bonna abeesigwa bakwegayirire ng’okyalabika; oluvannyuma ebizibu bwe birijja, ng’amazzi ag’amaanyi amangi tebiribatuukako.
7 Tu es refugium meum a tribulatione quæ circumdedit me; exsultatio mea, erue me a circumdantibus me.
Oli kifo kyange mwe nneekweka, ononkuumanga ne situukwako kabi era ononneetooloozanga ennyimba ez’obulokozi.
8 Intellectum tibi dabo, et instruam te in via hac qua gradieris; firmabo super te oculos meos.
Nnaakulagiranga era ne nkuyigiriza ekkubo mw’onootambuliranga; nnaakuwanga amagezi nga bwe nkulabirira.
9 Nolite fieri sicut equus et mulus, quibus non est intellectus. In camo et freno maxillas eorum constringe, qui non approximant ad te.
Temubeeranga ng’embalaasi oba ennyumbu ezitategeera, ze bateekwa okussa ekyuma mu kamwa ekisibwa ku lukoba, ziryoke zifugibwe zijje gy’oli.
10 Multa flagella peccatoris; sperantem autem in Domino misericordia circumdabit.
Ababi balaba ennaku nnyingi; naye abeesiga Mukama bakuumirwa mu kwagala kwe okutaggwaawo.
11 Lætamini in Domino, et exsultate, justi; et gloriamini, omnes recti corde.
Musanyukire mu Mukama era mujaguze mmwe abatuukirivu, era muyimbire waggulu n’essanyu mmwe abalina omutima omulongoofu.

< Psalmorum 32 >