< Job 11 >

1 Respondens autem Sophar Naamathites, dixit:
Awo Zofali Omunaamasi n’ayogera nti,
2 Numquid qui multa loquitur, non et audiet? aut vir verbosus justificabitur?
“Ebigambo ebyo byonna bisigale nga tebiddiddwamu? Omwogezi ono anaabalibwa ng’ataliiko musango?
3 Tibi soli tacebunt homines? et cum ceteros irriseris, a nullo confutaberis?
Okwogera kwo okutaliimu kunaatusirisa? Oduule bw’otyo wabulewo akunenya?
4 Dixisti enim: Purus est sermo meus, et mundus sum in conspectu tuo.
Ogamba Katonda nti, ‘Ebirowoozo byange tebirina nsobi, era ndi mutukuvu mu maaso go.’
5 Atque utinam Deus loqueretur tecum, et aperiret labia sua tibi,
Naye, singa Katonda ayogera, singa abikkula akamwa ke n’akuddamu,
6 ut ostenderet tibi secreta sapientiæ, et quod multiplex esset lex ejus: et intelligeres quod multo minora exigaris ab eo quam meretur iniquitas tua!
n’akubikkulira ebyama by’amagezi; kubanga amagezi amatuufu ddala galiko enjuuyi bbiri. Manya kino: Katonda n’okwerabira yeerabira ebimu ku bibi byo.
7 Forsitan vestigia Dei comprehendes, et usque ad perfectum Omnipotentem reperies?
“Osobola okupima ebyama bya Katonda? Oyinza okunoonyereza ku Ayinzabyonna n’omumalayo?
8 Excelsior cælo est, et quid facies? profundior inferno, et unde cognosces? (Sheol h7585)
Bigulumivu okusinga eggulu, kiki ky’osobola okukola? Bikka okusinga obuziba bw’emagombe, kiki ky’osobola okumanya? (Sheol h7585)
9 Longior terra mensura ejus, et latior mari.
Obuwanvu bwabyo businga ensi era bugazi okusinga ennyanja.
10 Si subverterit omnia, vel in unum coarctaverit, quis contradicet ei?
“Singa ajja n’akusibira mu kkomera era n’atuuza olukiiko, ani ayinza okumuwakanya?
11 Ipse enim novit hominum vanitatem; et videns iniquitatem, nonne considerat?
Mazima ddala amanya abantu abalimba. Bw’alaba ebibi, tabifaako?
12 Vir vanus in superbiam erigitur, et tamquam pullum onagri se liberum natum putat.
Naye omuntu omusirusiru, talifuna magezi, ng’omwana gw’endogoyi ogw’omu nsi bwe gutayinza kuzaalibwa nga gusobola okufugibwa.
13 Tu autem firmasti cor tuum, et expandisti ad eum manus tuas.
“Naye bw’owaayo omutima gwo gy’ali, n’ogolola emikono gyo gy’ali,
14 Si iniquitatem quæ est in manu tua abstuleris a te, et non manserit in tabernaculo tuo injustitia,
singa oggyawo ekibi ekiri mu mukono gwo, n’otokkiriza kibi kubeera mu weema yo,
15 tunc levare poteris faciem tuam absque macula; et eris stabilis, et non timebis.
olwo onoositula omutwe n’obwenyi bwo nga tokwatibwa nsonyi, era oyimirire ng’oli munywevu awatali kutya.
16 Miseriæ quoque oblivisceris, et quasi aquarum quæ præterierunt recordaberis.
Mazima ddala ojja kwerabira emitawaana gyo, olijjukira bujjukizi ng’amazzi agaayita edda.
17 Et quasi meridianus fulgor consurget tibi ad vesperam; et cum te consumptum putaveris, orieris ut lucifer.
Obulamu bujja kwaka okusinga omusana ogw’omu ttuntu, n’ekizikiza kijja kufuuka ng’obudde obw’oku nkya.
18 Et habebis fiduciam, proposita tibi spe: et defossus securus dormies.
Olibeera munywevu, kubanga olibeera n’essuubi; olitunuulira ebikwetooloodde n’owummulira mu mirembe.
19 Requiesces, et non erit qui te exterreat; et deprecabuntur faciem tuam plurimi.
Oligalamira nga tewali n’omu akutiisa, era bangi abalikunoonyaako omukisa.
20 Oculi autem impiorum deficient, et effugium peribit ab eis: et spes illorum abominatio animæ.
Naye amaaso g’abakozi b’ebibi galiremererwa, era tebalisobola kuwona, essuubi lyabwe libeere ng’omukka ogw’enkomerero.”

< Job 11 >