< Ii Paralipomenon 27 >
1 Viginti quinque annorum erat Joatham cum regnare cœpisset, et sedecim annis regnavit in Jerusalem: nomen matris ejus Jerusa filia Sadoc.
Yosamu yali wa myaka amakumi abiri mu etaano, bwe yalya obwakabaka, n’afugira mu Yerusaalemi emyaka kkumi na mukaaga. Nnyina ye yali Yerusa muwala wa Zadooki.
2 Fecitque quod rectum erat coram Domino, juxta omnia quæ fecerat Ozias pater suus, excepto quod non est ingressus templum Domini: et adhuc populus delinquebat.
Newaakubadde ng’abantu beeyongera okukola ebitali bya butuukirivu, Yosamu yakola ebirungi mu maaso ga Mukama, nga kitaawe Uzziya bwe yakola; naye obutafaanana nga kitaawe bwe yakola, teyayingira mu yeekaalu ya Mukama.
3 Ipse ædificavit portam domus Domini excelsam, et in muro Ophel multa construxit.
N’addaabiriza Omulyango ogw’Ekyengulu ogwa yeekaalu ya Mukama, ate era n’akola omulimu munene ogw’okuddaabiriza bbugwe wa Oferi.
4 Urbes quoque ædificavit in montibus Juda, et in saltibus castella et turres.
N’azimba n’ebibuga mu nsozi za Yuda, ate mu bibira n’azimbamu ebigo n’asimbamu n’eminaala.
5 Ipse pugnavit contra regem filiorum Ammon, et vicit eos, dederuntque ei filii Ammon in tempore illo centum talenta argenti, et decem millia coros tritici, ac totidem coros hordei: hæc ei præbuerunt filii Ammon in anno secundo et tertio.
Yosamu n’alwana ne kabaka w’Abamoni n’amuwangula, era omwaka ogwo Abamoni ne bamuwa ttani ssatu eza ffeeza ne desimoolo nnya, n’ebigero by’eŋŋaano obukadde bubiri mu emitwalo amakumi abiri, n’ebigero bya sayiri obukadde bubiri mu emitwalo amakumi abiri. Abamoni ne bamuleeteranga ebintu byebimu mu bigero byebimu mu mwaka ogwokubiri ne mu mwaka ogwokusatu.
6 Corroboratusque est Joatham, eo quod direxisset vias suas coram Domino Deo suo.
Yosamu n’aba n’obuyinza bungi kubanga yatambuliranga mu makubo ga Mukama Katonda we.
7 Reliqua autem sermonum Joatham, et omnes pugnæ ejus et opera, scripta sunt in libro regum Israël et Juda.
Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Yosamu, entalo ze yalwana, ne bye yakola, byawandiikibwa mu kitabo kya Bassekabaka ba Isirayiri ne Yuda.
8 Viginti quinque annorum erat cum regnare cœpisset, et sedecim annis regnavit in Jerusalem.
Yosamu yali wa myaka amakumi abiri mu etaano bwe yalya obwakabaka, era n’afugira emyaka kkumi na mukaaga mu Yerusaalemi.
9 Dormivitque Joatham cum patribus suis, et sepelierunt eum in civitate David: et regnavit Achaz filius ejus pro eo.
Ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, n’aziikibwa mu Kibuga kya Dawudi; Akazi mutabani we n’amusikira.