< Psalmorum 1 >
1 Beatus vir, qui non abiit in consilio impiorum, et in via peccatorum non stetit, et in cathedra pestilentiæ non sedit:
Alina omukisa omuntu atatambulira mu kuteesa kw’ababi, era atayimirira mu kibiina ky’ababi, newaakubadde okutuula n’abo abanyooma ebya Katonda.
2 Sed in lege Domini voluntas eius, et in lege eius meditabitur die ac nocte.
Naye asanyukira okugondera amateeka ga Mukama, era mu mateeka ago mw’alowooleza emisana n’ekiro.
3 Et erit tamquam lignum, quod plantatum est secus decursus aquarum, quod fructum suum dabit in tempore suo: Et folium eius non defluet: et omnia quæcumque faciet, prosperabuntur.
Afaanana ng’omuti ogwasimbibwa ku mabbali g’omugga, ogubala ebibala byagwo mu ntuuko zaabyo, n’ebikoola byagwo tebiwotoka. Na buli ky’akola kivaamu birungi byereere.
4 Non sic impii, non sic: sed tamquam pulvis, quem proiicit ventus a facie terræ.
Naye abakola ebibi tebakola bwe batyo. Bali ng’ebisusunku ebifuumuuliddwa.
5 Ideo non resurgent impii in iudicio: neque peccatores in concilio iustorum.
Noolwekyo abakola ebibi tebaligumira lunaku lwa kusalirako musango; newaakubadde aboonoonyi okuyimirira mu kibiina ky’abatuukirivu.
6 Quoniam novit Dominus viam iustorum: et iter impiorum peribit.
Kubanga Mukama alabirira ekkubo ly’abatuukirivu, naye ekkubo ly’abakola ebibi liribula.